TOP

Paasita apasudde omukazi omufumbo

By STEVEN MUSOKE

Added 28th October 2019

ABAASOOSE mu kwanjula kw’omuyimbi w’ennyimba z’eddiini Angel Kisaakye ne Paasita Henry Zaake baasoose kwekanga okwerinda okw’amaanyi okwabaddewo.

Angel1 703x422

Angel Kisaakye Paasita Zaake nga basanyufu oluvannyuma lw’okugattibwa.

Bya STEVEN MUSOKE NE PAUL WAISWA

ABAASOOSE mu kwanjula kw’omuyimbi w’ennyimba z’eddiini Angel Kisaakye ne Paasita Henry Zaake baasoose kwekanga okwerinda okw’amaanyi okwabaddewo.

Ate bwe gwatuuse ku mbaga nga Paasita Zaake eyatandikawo ekkanisa ya World Processor’ ey’e Namasuba ng’agattibwa ne kabiite we, abaagoberedde omukolo ne beewunya engeri gye baapanze ne gusooka gulabika ng’ogutaabeerewo kyokka ku ssaawa envannyuma abagenyi ne baweerezebwa obubaka ku masimu nga babalaga okugatta gye kunaabeera ne gye banaabasembereza ebyassava.

Okussaawo ebyokwerinda ebiri ggulugulu n’okubuzaabuza ku mukolo gye gulina okubeera kwabadde kwetangira eyali bba wa Angel Kisaakye okuleeta akacankalano osanga ekyandivuddeko emikolo gyombi okuyiika.

 ngeri ngel isaakye gyali muyimbi yayimbidde aasita aake ku mbaga nga basembeza abagenyi baabwe Engeri Angel Kisaakye gyali muyimbi, yayimbidde Paasita Zaake ku mbaga nga basembeza abagenyi baabwe.

 

Emikolo gy’okwanjula kwa Kisaakye gyaliwo wiiki eyaggwa ku Lwomukaaga e Kireka wakati mu kwerinda okw’amaanyi ng’abateesiteesi batya nti eyali bba wa Kisaakye ng’ono aweereza ku leediyo emu mu kibuga, Alex Kasozi eyakazibwako Kapyata ayinza okuteekawo embeera esaza mu ssanyu lwabwe.

Okwanjula kwali kwa bagenyi bayite bokka era abakubi b’ebifaananyi baali babale ate ate ng’abo bokka abaweereddwa olukusa. Bannamawulire baabagobera ku miryango.

Ku Lwomukaaga oluwedde Angel Kisaakye ne Paasita Henry Zaake lwe baagattiddwa ku Global Gospel Healing Ministries. Baagattiddwa paasita Charles Kaloli amanyiddwa nga Komando wa Yesu. Oluvannyuma abagenyi baabasemberezza ku wooteeri ya Nanjing eri e Nakasero wakati mu kusanyusibwa abayimbi b’ennyimba z’eddiini nga n’omugole yennyini yayimbye era n’asala ne ddansi ne bba Paasita Zaake.

Abayimbi abalala abaayimbye kwabaddeko Gladys Mirembe, Catherine "Simon' Mirembe, Joy Tendo n’abalala.

Kigambibwa nti Angel ne Paasita Zaake bamaze emyaka etaano nga bali bonna era okugwa mu mukwano yali agenze kumusabira nga Angel tekyakwatagana ne Alex Kasozi.

 ngel isaakye ne aasita aake nga beeraga amapenzi ku kwanjula kwabwe Angel Kisaakye ne Paasita Zaake nga beeraga amapenzi ku kwanjula kwabwe.

 

Kigambibwa nti Zaake nga tannasisinkana Angel, yalina omukyala eyategeerekeseeko erya Beatrice gw’alinamu abaana bana.

Omukwano gwa Angel ne Alex bwe gwajjamu amakuuli, omukyala yadduka mu kkanisa ya Christian Life Center eya Paasita Jackson Ssenyonga mwe baali basabira ne yeegatta ku ya Paasita Zaake eya World Processors Church ng’eno gye baatandika okulabaganira.

Okwasooka okubeera okusabira obufumbo bwa Alex ne Angel ate kwalalambala, Paasita Zaake n’atengula Angel omutima.

Ng’oggyeeko obutakkaanya Alex bwe yafunanga ne Angel ku bintu bye yamusabanga okumukolera n’ebirala, kigambibwa nti n’embuto omukyala ze yafunanga nga zivaamu era zino zaawera essatu. 

 ngel isaakye ne lex asozi ku mukolo gwabwe Angel Kisaakye ne Alex Kasozi ku mukolo gwabwe.

 

Omusajja eyasooka ku Angel ayogedde ebyaliwo

ALEX Kasozi Kisaakye agamba nti yali mu bufumbo ne Angel okumala emyaka 6 naye emyaka 4 baagimala nga bali ku bugubi.

Agamba nti Angel yasooka kumusaba kumuzimbira nnyumba era n’akituukiriza.

Ennyumba olwagiyingira ate n’amusaba okukyala mu bakadde era baagenda wa Nnalongo Dinah Nangobi mu Disitulikiti y’e Kaliro.

‘Nnali ndowooza nti agenda kukkakkana, naye waayita akaseera katono n’ansaba okumugulira emmotoka ng’akooye okulinnya takisi.

Wabula nnali nkyanoonya ssente embeera n’eyongera okubiggya. Twagezaako okubuulirirwa bapaasita ab’enjawulo kyokka byonna ne bigwa butaka. Kye saamanya nti ate gye twaddukira we wali eyapasula mukyala wange,’’ Kasozi Kisaakye agamba nti awulira obusungu bwe yategeezezza.

Kasozi agamba nti yagezaako n’okuddukira ewa maama wa Angel e Namasuba kyokka byonna ne bigwa butaka. Baayawukana tebalina mwana n’omu.                                                                                                                                                     

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Visionagmndijjo2 220x290

Abalina emigabo mu kkampuni ya...

Abalina emigabo mu kkampuni ya Vision Group basiimye enkulaakulana etuukiddwaako omwaka guno.

Muteesa14 220x290

Mutesa yaggulawo enkolagana ya...

Okufuuka Pulezidenti, Ssekabaka Mutesa yalondebwa Palamenti, n’amyukibwa Sir. William Wilberforce Nadiope Kajumbula...

Gira 220x290

Ssentebe bamukutte lubona ng'asinda...

Ssentebe wa LCI akwatidwa lubona ng'anyumya akaboozi k'ekikulu ne muk'omutuuze.

Muteesa1 220x290

OKUJJUKIRA SSEKABAKA MUTESA II;...

Essimu gye yankubira lwe yakisa omukono nkyagijjukira

Sisiri 220x290

Siisiri w’abakazi bamukubyemu ttooci...

ABAKUGU bazudde ng’abakazi okuyimba siisiri mu buliri kijja lwa butonde. Bagamba nti kiva ku bwagazi omukazi bw’afuna...