TOP
  • Home
  • Aga wiiki
  • Obutaba na bwannannyini ku ttaka kitusibye mu bwavu - Abakyala

Obutaba na bwannannyini ku ttaka kitusibye mu bwavu - Abakyala

By Musasi wa Bukedde

Added 31st October 2019

Abakyala b'omu byalo balaze ebisinze okubasiba mu bwavu ne beekokkola eky'obutaba na bwannannyini ku ttaka kuba wadde balikozesa abamaliriza tebafunyeemu

Teopistanakiwalangaalinabamukubaanabe1webuse 703x422

Teopista Nakiwala n'abamu ku baana be b'anoonyeza ssente z'okusoma

Bya Paul Kakande

Uganda emu ku nsi ezaakuzizza olunaku lw’omukyala ow’omu kyalo mu nsi yonna olubeerawo nga October 24. Uganda ekyalina okusoomoozebwa kwa maanyi okukulaakulanya abantu baayo olw’engeri abakyala gye batwalibwamu bw’ogeraageranya n’abaami.

Abakyala naddala mu byalo be basinga okukola emirimu gy’ebyobulimi omuli okulima n’okulabirira ennimiro naye ekyewuunyisa abasinga ku bano tebasasulwa maanyi gaabwe ge bateeka mu bulimi nga buno so nga nagwo mulimu era byonna bye bakola abaami be babifunamu.

Bino byogeddwa minisita omubeezi ow’ekikula ky’abantu, Peace Mutuuzo n’ategeeza nti, ssinga abakyala b’omu byalo byonna basasulwa bandibadde basobola okukola ensimbi ezisoba mu buwumbi 15 era ssente ezo zandibadde ziyamba mu kukyusa obulamu bw’abakazi mu Uganda.

 eopista akiwala mu nnimiro yebijanjaalo bye Teopista Nakiwala mu nnimiro y'ebijanjaalo bye

 

Ebizibu abakyala b’omu byalo bye basanga

  1. Okusosolebwa wadde bakola emirimu gye gimu n’abasajja. Okugeza omukyala gye bamuzaala tabaayo na ttaka kyokka ne bw’afumbirwa era gy’alaze taweebwa ttaka, kyokka osanga omusajja bw’aba yawasa mukazi we ne bakola ne bagula ettaka nga liriko n’amaanyi g’omukazi ate go tegabalibwa.
  2. Obutaba na buyinza kusalawo mu maka so ng’ebintu bingi ebikolebwa awaka omukyala y’abiddukanya.
  3. Abakyala naddala abawala batulugunyizibwa, bangi bakakibwa omukwano nga tebanneetuuka naye ensonga abantu ne bazizibira nga tezituuse mu bannamateeka era bangi abakola ebikolobero ng’ebyo tebatwalibwa mu mbuga.
  4. Mu byalo omwana omuwala talowoozebwako ng’agwanidde okusomesebwa era kino kireeseewo omuwaatwa wakati w’abakazi n’abasajja.
  5. Ebyobulamu  bikyali bizibu naddala ku bakyala ab’embuto abatambula eng’endo empanvu okugenda okunywa eddagala n’okuzaala.
  6. Olw’okuba abakyala tebalina byabugagga, bangi bammibwa omukisa ebitongole ebiwozi by’ensimbi so nga bwe beewola basobola bulungi okutandikawo obulimu obutonotono oba okwongera ssente mu byobulimi bye bakola olwo ne bayongera n’okwekulaakulanya.

Teopisita Nakiwala, omutuuze ku kyalo Busaasa mu disitulikiti y’e Kiboga mulimi wa mmere gy’aliisa ab’omu maka ge. Agamba nti, buli sizoni lw’etuuka, afuba okuteekateeka asobole okulaba ng’alima emmere gy’anaaliisa abaana be abana baalina ate n’okufuna ey’okutunda afune ssente z’ayinza okukozesa okwetuusaako ebyetaago ebirala ng’obujjanjabi n’okusomesa abaana.

Ng’oggyeeko obulimi nkuba ne bbulooka mu biseera by’omusana kubanga sizoni y’omusana ebeera mpanvu.

“Newankubadde buli lunaku nkeera mu nnimiro kyokka amakungula bwe gatuuka nfuna kitono era buli kaseera mbeera mu mabanja ate n’emmere emala awaka tetusobola kugifuna kubanga bye tukungula biba bitono okusinziira ku kye tuba tusuubira.

 Nasomako katono ne nfumbirwa era nnina abaana bana wabula bonna beetaaga ssente ez’okusoma ate nga kinkakatako okuzinoonya basome. Newankubadde waliwo Bonna basome, naye era bingi ebyetaagisa okusobola okuteeka omwana mu ssomero.

Okusoomoozebwa kwe mpitamu

  1. Enkyukakyuka y’obudde enkosa era sizoni ezimu nfiirwa kubanga tusimba ebintu naye enkuba n’etetonnya mu budde ne bifa ate lw’etonnye n’ebyonoona.
  2. Nze sirina ttaka era nneeyazika bweyazisi lwakuba be tweyazikako ate bwe tumala okubalongooseza tulimawo sizoni emu nga batugobawo.
  3. Engeri ebyokulima gyebiri bya sizoni ebiseera ebisinga ntambulira ku mabanja olwo ne nsasula nga nkungudde.
  4. Bwe kituuka ku byobulamu ate ebyo bizibu era kye kyankomya n’okuzaala kuba nzaalira ku kiso ate nga ssente nnyingi. Eddwaaliro erituli okumpi ly’e Bukomero naye okuva e Busaasa okutuukayo n’okudda kikutwalako 6,000/-, wano mu kyalo ssente ezo nyingi era abasinga zibazibuwalira ne basalawo kugenda mu bamulerwa wadde tukimanyi nti kizibu.
kuva ku kkono ydia anyoto akulira akabondo kabakyala ba  minisita webyobusuubuzi namakolero  melia nn yambadde nasembayo ku ddyo ye nampala wa avumenti mu aalamenti era omubajka omukyala owa iboga uth ankabirwa entamu nga bagenda okukwasa abawala be iboga ebyalaaniOkuva ku kkono, Lydia Wanyoto akulira akabondo k'abakyala ba NRM, minisita w'ebyobusuubuzi n'amakolero Amelia Ann Kyambadde, n'asembayo ku ddyo ye, nampala wa Gavumenti mu Paalamenti era omubajka omukyala owa Kiboga, Ruth Nankabirwa Sentamu nga bagenda okukwasa abawala b'e Kiboga ebyalaani.

 

Gavumenti ne by’ekoze

Gavumenti etaddewo ensawo y’abakyala eya ‘UWEP’ mwe baggya ssente ze bakozesa ate ne bazizzaayo ku magoba amatono.

Okuyita mu nteekateeka za Gavumenti ez’ebyobulimi nga NAADs ne Operation Wealth Creation gavumenti eyongedde amaanyi mu bulimi n’obulunzi ate ng’abakyala bye basinga okubeeramu mu byalo. Baweebwa ebisolo omuli; embuzi, ente n’enkoko ssaako ensigo ku bwereere.

Mu Uganda kati abakazi 64 ku 100 basomyeko nga kino kituukiddwaako okuyita mu UPE ne USE.

Ebikoleddwa abakulembeze bassekinnoomu okuyamba abakyala b’omu byalo

Ruth Nankabirwa, omubaka omukyala owa disitulikiti y’e Kiboga: Ng’omukyala ndaba bakyala bannange nga bayita mu kusoomoozebwa okw’enjawulo mu bulamu bw’ensi newankubadde nga gavumenti ekoze okulaba ng’ekyusa embeera y’abakyala mu byalo naye wakyaliwo okusoomoozebwa ate nga kino kiva ku basajja era ssinga buli musajja yeenyigiramu okukyusa embeera y’omukyala ate twandibadde tuli bulungi naye abasinga balaba ng’abagenda okubawaganyaza.

Y’ensonga lwaki ku byobulamu abakyala be nkiikirira nabateerawo ambyulensi ku ddwaaliro lya Bukomero Health Center IV nga bwe nddeta n’enadala.

Kuno ngattako pulogulamu y’okusakira abantu bange naddala abakyala, abavubuka n’abakadde era ng’ebibala byayo birabise.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sud1 220x290

Abaliko obulemu babagabudde ebya...

Abaliko obulemu babagabudde ebya ssava bya Ssekukkulu

Sub1 220x290

Allan Okello awangudde eky'obuzannyi...

Allan Okello awangudde eky'obuzannyi bw'omwaka n'aweebwa Subaru empya ttuku

Tysonfury 220x290

Tyson Fury si waakuzannya Anthony...

Fury agenda kudding'ana ne Deontay Wilder mu February w'omwaka ogujja.

Parma 220x290

ManU etunuulidde musaayimuto wa...

ManU ekyayigga bazannyi banaagizza ku maapu sizoni ejja. Mu kiseera kino eri mu kyamukaaga ku bubonero 24.

2018wolvesceleb32 220x290

Arsenal esabye Wolves olukusa eyogere...

Nuno Espirito yatendekako Valencia eya Spain, FC Porto ne Rio Ave ez'e Portugal nga tanneegatta ku Wolves.