TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Muyizi munnange yansiiga akawuka ku myaka 12

Muyizi munnange yansiiga akawuka ku myaka 12

By Musasi wa Bukedde

Added 4th November 2019

Olw’okuba eyansiiga akawuka yali muvubuka, nakimanya nti wano we waali obuzibu obw'amaanyi kuba tebeesikamu wadde okutiisibwa nga baliko kye baagala.

Amannya1 703x422

Amanya ng'annyonnyola.

 

SIRIIMU bulwadde obuluma era obutta mu bwangu naddala ng’omuntu tafuddeeyo kumira ddala ng’abasawo bwe balagira. Judith Amanya, 29, eyabufunira ku myaka 12, yannyonnyodde. HAFSWA NANKANJA bwe byajja. 

Bwe nnali mu P7 ku St. James Biina P/S, wajjayo omuvubuka Munnakenya, ng’ali wakati w’emyaka 23 ne 25. 

Olw'endabika ye, kyali kizibu okumuteebereza nti alina akawuka ka siriimu. Yatabaala mu bayizi abasinga, era nange ekitimba mwe kyantwalira. 

Yalinga tataliza bakulu n'abato, ng'alwanya abawala bangi.

 Eby’abasajja nali si byendiko era omuvubuka oyo yakozesa akakisa k'okuba nti nnali mubisi okunsuula mu kitimba.

 Lwali Lwakutaano akawungeezi n’ajja we nnali ntudde n’ansaba mmuyambe okwejjukanya omusomesa bye yali yaakasomesa, nange ne mbikkula ekitabo okumuddiramu.

 Yampa switi okunneebaza, mba nsituka n’ampaana nga bwennyirira, n'ansaba tugendeko mu kifo eky'enjawulo tunyumyemu nga bwe tusoma.

 Nali sifunaga ku muntu ampaana bwati yadde okuntwala mu kifo eky'enjawulo, era nakkiririzaawo.

 Yamperekera okudda awaka n'anfalaasira obutabaako gwe ngamba ku bye tukkaanyizzaako kuba nali njakwesubya ebyamagero.

 Nfumba sitoole awaka

Kitange yafuna akabenje n’agongobala mu 2001, mmange n’asigala nga y’andabirira, era tekyambeerera kizibu ku mupanga.

 Namutegeeza nga bwe twalina okusoma puleepu ow’etteeka, era nti twali tufunye n’abasomesa okuva mu masomero amalala okutuyambako.

 Yanziramu nti: “ otera n’odda mangu era tozannyira mu kkubo”.

 Omuvubuka namusanga ku ssomero ng’anninze, n’antwala e Kitintale.

 Yannyingiza mu kasenge n’anywesa ebyokunywa n’okutuusa kati bye sisobola kunnyonnyola kubanga saabitegeera bulungi.

 Mba nnaakanywako emimiro mitono ne ntandika okufuna ekifu ku maaso, ebyaddirira kuwulira ng’ankaka omukwano kyokka nga sirina maanyi geerwanako.

 Nga nzize engulu, nnali mpulira bubi nnyo nga nfunye n'ekisago mu bitundu byange ebyekyama.

 Nnamubuuza ekyali kintuuseko nga tanziramu, ne tugenda ku kalwaliro we bayita ku nnya, ne bampa obujjanjabi obusookerwako.

 Bwe twava mu ddwaaliro n’antwala ewaabwe ng’agamba mbu ewaffe tewali ajja kunnyamba.

 Bazadde bange baagezaako okunoonya ne bannanga ku leediyo n’e ku Eklezia y’e Bbiina kyokka ng’omuvubuka ankwese mu kazigo ke. Bwe naddayo awaka saagenda

ku ssomero nga mpulira omubiri gwonna mugonvu.

 Nzuula nti nnina akawuka

Nga wayise akaseera, yampa 2,000/- n’angamba okugenda e Naggulu nneekebeze.

 Yakiyimbirira nnyo ne mmubuuza lwaki ye tagenze nga tampa nsonga, okutuusa lwe nasalawo okugenda.

 Eyagenda atya okunzuula nti ndi lubuto, navaayo bakantemye nti nnina akawuka ka siriimu! Ekizibu kino saakigambako muntu mulala yenna.

 Nga nzizeeyo ku ssomero, nnamubuuza gye yaggya ettima ery’ekika kino, kyokka mu kifo ky'okwetonda n’anziramu nti: “Jude, kati nga bw’okitegedde, ogenda kunnyambako akawuka okantuusize ku besisobodde kutuukako.”

 Okuva olwo ku ssomero teyadda ne Kitintale ne basengukawo.

 Ebigambo ebyo byandeetera ettima ne nsalawo nti engeri abasajja gye batalina kisa, nange sigenda kukibakwatirwa, era nti ngenda kusiiga buli gwe naasisinkana.

 Wabula nga nzikakkanye, nakimanya nti bwe nkola kino omusajja oyo tajja kusiiga basajja banne wabula, ajja kusiiga abakyala n’abawala bassaalumanya. Nasaba

Katonda ankuume nga sirina muntu yenna gwensiize bulwadde.

 Ntandika eddagala:

Kkansala Julian, omu ku baatubudaabuda e Naggulu nga batuggyako omusaayi, yali yatugamba okuddayo okunona eddagala, era baatuwa ebikerenda ebinene. Saasooka

kulimira kubanga baali baatugamba mbu omulwadde wa siriimu amira eddagala afiira mu myezi esatu.

 Ekirala, awaka twalinawo ente nga baziwa eddagala ery’efanaanyiirizaako lino era olwaliraba ne ndisuula. Nali saagala nnyo byakulya naye, natandika okuwankawankira ku buli kimu nga ngamba nti kandye ebyange nga sinnafa.

 Nafunamu engeri y'okwekubagiza n'entondo, ng'abaawaka bwe baambuuza mbagamba nti ebitabo bimpitiriddeko.

 Oluvannyuma lw'okulowooza nti ngenda kufa mu bwangu ddala, nalaba nga fiizi zoonoonekera bwereere, okusoma ne nkukyawa, abaawaka ne mbategeeza nga bwe sikyayagala kusoma wadde nga nnali mugezi ebitagambika.

 Oluvannyuma baatukyusiza eddagala era ne batusomesa n’obulungi obuli mu kulimirira mu budde.

 Natandika okulimira naye nga ndikweka.

 Eddagala n'okubudaabudibwa byankola bulungi ne nzirawo okulabika obulungi.

 Omusajja omulala yankwata ng’awakana bwe sirina siriimu

Oluvannyuma lw’emyaka egiwerako, ate omusajja omulala yankwata.

 Nakanyanga kumugamba nga bwe nnina akawuka ng’awakana. Olunaku luno ndwejjusa kubanga omuntu ono yandeeta enkwabulo mu bitundu byange ebyekyama, ateekwa okuba nga yeereetera okusiigibwa akawuka.

 Nsalawo okwatula:

Kino kyampaliriza okuvaayo mu lwatu ntegeeze ensi nti nnina akawuka, ntaase abalala. Mikwano gyange abasinga baali basajja, ne kinnyamba okubaggyamu endowooza y’okunkwana ne tusigaza omukwano ogwabulijjo.

 Abamu banneesalako nga tebaagala kubayita mikwano gya mulwadde, abalala ne bankwatirwa ekisa naye nga bakyalimu endowooza nti nsulirira kufa.

 Kyantwalira ebbanga okubakakasa nti sisobola kubasiiga kawuka wadde bakolaganye nange n’okubategeeza nti siri wa kufa mu bwangu kuba ndi ku ddagala.

 Ntandika okukola:

Olw’okuba eyansiiga akawuka yali muvubuka, nakimanya nti wano we waali obuzibu obw'amaanyi kuba tebeesikamu wadde okutiisibwa nga baliko kye baagala.

 Eno y’emu ku nsonga lwaki nnasalawo okunoonya omulimu we ntuukira ku bavubuka abawerako nsobole okubasomesa akabi akali mu kwegadanga.

 Omulimu gwe nnafuna gwa bwakondakita bwa takisi era gwe nkyakola ku siteegi ya Luzira - Bugoloobi.

 Abavubuka bangi nsobodde okubamatiza okugenda okwekebeza akawuka ka siriimu era asangibwa nga mulamu nnyongera okumukakasa nti siriimu gy’ali.

 Olw’ensonga nti nange mbabaddemu nga bandaba n'obulwadde, nkola ng’ekyokulabirako era buli kye mbagamba bakikkiriza ne basobola okwekuuma nga bakozesa kondomu.

 Olumu nziyigga gye bazigabira obwereere ne nzibaleetera nga bwe mbagamba nti ‘bannange, ekiggya omanyi... mwekuume mukenenya, omuntu gw’oteekakasa kozesa akapiira kano’. Olw’okuba ndi muvubuka munnaabwe, obupiira babuddukira n’essanyu, n’olumu babuneesabira.

 Okuwabula:

Abazadde muleme kwefaako mwekka, mufeeyo ne kubulamu bw’abaana bammwe. Tokwatibwa nsonyi kunnyonnyola mwanawo ebikwata ku siriimu n’engeri gy’akwatamu kubanga teri mulala ajja kukikola.

 Omwana wo bw’anafuna obulwadde ggwe ojja okuleppuka, n’olwekyo mubuulirire oleme kwejjusa. 

  • Abaana naddala abawala abasoma n’abatasoma, mwewale abantu abajja babeesekerezaako kuba teri alumirirwa nga talina kigendererwa. Oli ayinza okukuwa lifuti gy’ojja okusasulira obulamu bwo bwonna.

 Ate mukimanye nti abalina akawuka tebalina kisa, mpologoma ezibalindiridde okubagajambula. Saagala mudde mu kwejjusa nga kwendimu.

 Abavubuka mumanye nti siriimu asobola okukwata omuntu yenna, ekiseera kyonna era ku myaka gyonna. Kitwale nti ggwe wekka omulamu mpozzi n’oyo akkiriza okwekebezaemirundi esatu ate n’okikakasa. 

 Amaaso tegabalimba kulaba anyirira n’ogamba mbu tooyambale kapiira kubanga amaaso tegakebera siriimu, so nga n’abanyirira bayinza obutaba balamu.

 Bakitaffe ne bannyinaffe temugezako kugenda na muntu gwe muteekakasa nga temwambadde. Mwekebezenga kubanga kibayambako okwekuuma, kyokka bw’ozuulibwamu akawuka totandika kusiiga balala kubanga ekibi tekiggyaawo kibi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lab1 220x290

GAVANA alabudde abayuza n'okuwandiika...

GAVANA alabudde abayuza n'okuwandiika ku ssente

Lop1 220x290

Minisita ayagala KCCA esse obukwakulizo...

Minisita ayagala KCCA esse obukwakulizo obupya ku baagala okuzimba ebizimbe mu Kampala

Funayo 220x290

Attottodde engeri omuzigu gye yatemye...

OMUKAZI Florence Nannyombi ‘omutujju’ gwe yasikambuddeko omwana we Amos Sekanza ow’emyaka omusanvu n’amutemako...

Gata1 220x290

Omusajja atemyeko abantu 4 emitwe...

OMUSAJJA bwe yatemyeko obulago abantu bana, baasoose kumuyita mulalu. Azzeeyo ku kyalo n’atemako emitwe abalala...

Magogoweb 220x290

Magogo amazeeko ekibonerezo ky'okutunda...

Pulezidenti wa FUFA, Moses Magogo asuubirwa okukomawo mu ofiisi oluvannyuma lw'ekkoligo ly'emyezi ebiri nga teyeenyigira...