TOP
  • Home
  • Emboozi
  • "Maama yafa talina gwagambye nti tuli balwadde"

"Maama yafa talina gwagambye nti tuli balwadde"

By Musasi wa Bukedde

Added 4th November 2019

Okuva ku myaka musanvu maama ng’ampa amakerenda ga ARV’s buli lunaku. Essaawa y’okugamira bwe yatuuka nga tugamira ffenna.

Akumu1 703x422

Akumu ng'annyonnyola.

 

DEBORAH Leticia Akumu 23, yazaalibwa n’akawuka akaleeta siriimu. Y’omu ku Bannayuganda abato abeenyigidde mu kaweefube w’okuzza essuubi mu bato n’abakulu abali mu mbeera eno. REGINAH NALUNGA akutuusaako obulamu bwe;

Okuva ku myaka musanvu maama ng’ampa amakerenda ga ARV’s buli lunaku. Essaawa y’okugamira bwe yatuuka nga tugamira ffenna.

Buli luvannyuma lw’ekiseera twagendanga e Mulago, naye ng’omuto bw’abeera nga nze olutuuka nzira mu kuzannya ne bannange, nga maama bw’akola ku by’eddwaaliro.

Buli lwe twagendanga mu ddwaaliro nga mbeera musanyufu olw’ebyokulya n’okuzannya.

Mu Famire twazaalibwa abaana bassatu naye bakulu bange balamu.

Mu 2005, maama yanafuwa n’afa, jjajja ne maama omuto ne basigala nga bandabirira.

Oluvannyuma lwa wiiki nga maama afudde, ab’e Mulago bajja awaka okutulambulako nga bwe yali enkola yaabwe, nga tabamanyi nti maama yafa dda.

Nasanyuka nnyo kubanga nze nnali mbamanyi, wabula maama yali yeesigaliza ekyama nti tuli balwadde ba siriimu era mu famire tewali yali amanyi nti nange obulwadde mbulina.

Ab’ekibinja okuva e Mulago baayita maama omuto ne jjajja mu ddwaaliro, ne babayitiramu ku ngeri gye balina okundabirira.

Okuva olwo baatandiika okumbeererawo, ng’ebyokulya babimpeera mu budde, n’okufaayo okulaba nti mmira eddagala mu budde. Baategeezaako n’omukulu w’essomero ne metulooni basoboole okunfaako mu ngeri ey’enjawulo.

Nalinanga okumira eddagala ku ssaawa 1:00 ey’okumakya ne ku 1: 00 ey’akawungeezi, era bwe naryerabiranga nga metulooni andentera amazzi mu kibiina ne ndimira.

Obudde bw’okuddayo mu ddwaaliro bwe bwatuukanga nga jjajja ankima ku ssomero.

Embeera ennungi gye nnayisibwangamu yawaliriza bayizi bannange okubuuza lwaki nze mpisibwa mu ngeri ey’enjawulo ng’ate ffenna tuli bayizi.

 kumu asooka mu maaso ku kkono ne banne nga bayimba ku mukenenya Akumu asooka (mu maaso ku kkono) ne banne nga bayimba ku mukenenya.

 

OMUYIZI ABOTOLA EKYAMA KYANGE

Ku myaka 10, natandika okumanya lwaki mmira ARV’s kubanga mu ddwaaliro batugambanga nti: “tumira eddagala kubanga tulina akawuka akaleeta siriimu”.

Lumu nali ngenze awaka okufuna obujjanjabi obwa buli mwezi, nagenda okudda nga wali wo omuyizi asaasaanyizza olugambo nga bwe yandaba nga mmira ARV’s ery'abalwadde ba siriimu. Sigenda kukyerabira kubanga kyakyusa nnyo embeera zange ez’obulamu.

Nakomawo nga tewali muyizi ayagala kukolagana nange, ne batandika okumboola nga balowooza ngenda kubasiiga obulwadde. Baatuuka n’okusooka okukuutanga we nnali naabidde, si kulwa ng’ambasiiga siriimu!

Abasomesa abamu baatuuka n’okungamba nti ggwe owa siriimu tunakukubako tutya?

Embeera eno yandeetera okwekyawa ne njagala n’okuva ku ssomero. Wabula bwe nagendanga e Mulago mu kibiina kya (Makerere University John Hopkins University Research collaboration (MUJHU) mu nkungaana nga nziramu amaanyi.

Ekibiina kino kiyamba okutumbula embeera z’abaana n’abakyala abalina akawuka ka siriimu. Nga bayambibwako Stephen Louis Foundation, baatuyamba okwezuula, okutuwa obuvumu n’okumanya kye tuli nga twekubirizza okumira eddagala yonna gye tubeera. Eno gye naggyanga amaanyi okugumikiiriza ebizibu ng’okuboolebwa, okugeyebwa n’okuvumwa, okutuusa lwe nnamalako siniya.

Mu kiseera kino nkola nga abudaabuda abantu mu MUJHU, era omulwanirizi w’eddembe ly’abavubuka, abaana n’abakyala abalina akawuka ka siriimu.

Nsobodde okukyusa obulamu bw’abavubuka bannange nga mbakkirizisa kye bali okuyita mu kubabuulirira, okubasomesa, okuyimba n’okwenyigira mu bintu ebitugatta.

Omwaka guno, nnasiimiddwa ne awaadi okuva mu kitongole kya UNESCO (United Nations Educational, Scientific and Cultural Organisation), ng’omuvubuka asinze okukyusa obulamu bw’abalala.

Kino kyannyongedde amaanyi okutuuka ku kirooto kyange, nga sinnafumbirwa era ntunuulidde okukyusa obulamu bw’abantu abalala.

Wadde nze ndi mulwadde, nafuna omubeezi atalina kawuka. Ono naye annyambye nnyo era olumu bwe mbeera sisobodde kunona ddagala mu ddwaaliro, y’alindeetera.

Yateeka akade mu ssaawa ye nga buli budde bw’okumira eddagala lwe butuuka anzijukiza. Kino kinnyambye nnyo obutalumbibwa ndwadde kubanga buli kad e mbeera mulamu.

OBUBAKA

Balwadde bannange, mukimanye nti awatali ARV’s tetulina bulamu, n’olwekyo mumire eddagala lyammwe mu budde. Nsiima Gavumenti okuyita mu munisitule y’ebyobulamu okulaba nti ARV’s n’ebyetaago byaffe bibaawo, wadde nga tebimala.

Nsaba ne Gavumenti okussaawo obuweerezza mu malwaliro gaayo okusobozesa abavubuka okwenyigira mu bikolwa by’okwegadanga ate ne basigala nga balamu.

Gavumenti era erowooze ku ky’okutuusa obujjanjabi mu bitundu by’omu byalo kubanga nayo waliyo abalwadde naye tebaliiko buyambi.

Nsaba ebitongole ebirala okukwasizaako Gavumenti mu byensimbi, obujjanjabi n’obuyambi obw’enjawulo kubanga kituyamba okwongezaayo obulamu bwaffe ku nsi.

Nkubiriza abantu ssekinoomu, ebitongole n’abantu mu bitundu okuwagira abalina akawuka mu kifo ky’okubaboola.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Col2 220x290

Bebe Cool awadde abavubuka b'e...

Bebe Cool awadde abavubuka b'e Gomba obukadde 53 ez'okweggya mu bwavu

Set1 220x290

Rema yagambye nti buli mukazi yenna...

Rema yagambye nti buli mukazi yenna yetaaga kubeera n'omusajja gw'ayita omwami we ebyaddala

Ssematimba1 220x290

Peter Ssematimba atudde ebigezo...

Omubaka wa Busiro South Paasita Peter Sematimba atandise okukola ebigezo bye ebya S6 ku ssomero lya Minister JC...

Zab1 220x290

Muzaata alabudde abasajja abakandaaliriza...

Muzaata alabudde abasajja abakandaaliriza abakazi; Tujja kubabaggyako tubawe abeesobola

Nam1 220x290

Laba engeri Rema gye yafaananye...

Laba engeri Rema gye yafaananye nga Malaika ng'ayanjula Hamza