TOP

'Sugammami yansiiga siriimu'

By Musasi wa Bukedde

Added 5th November 2019

Suga mmami ono yalina emyaka 53 kyokka nga nze nina 16 wabula nga sirinaamu kutya kwonna era bwatyo yampangisiriza ennyumba mwe twasisinkanira nga mu biseera nga bba azzeeyo ku kyeyo e Iraq

Kigozi1 703x422

Kigozi

Bya PROSSY NABABINGE

“SAALI musiru okukulabirira nga omwana omuto, olowooza be nzaala sibamanyi? My mission is fi nished(ekitegeeza nti ekigendererwa kyange kiwedde)”.

Ggwe bw’osanga obubaka obwo ku ssimu yo, kiki ekikujjira mu birowoozo?

Ekyo ky’owulira kati ate kisingako ku Fred Kigozi 27, ow’e Seguku abangi gwe bamanyi nga Red Angel kye yayitamu oluvannyuma lw’okufuna obubaka buno okuva eri omukyala omukulu gwe yali amaze ebbanga lya myaka 2 nga balabagana.

Leero, Kigozi yeeyita ‘HIV Ghetto Youth Sacrifice’ ekivvuunulwa nti saddaaka y’abavubuka ba ghetto eri siriimu.

Mu kwogera akkaatiriza nga bwe yasalawo embeera y’obulagajjavu bw’abavubuka okwetooloola eggwanga naddala abali mu ghetto eyamutuusa waali kati nga bwerina okukoma ku ye.

 igozi ne mikwano gye lwe yali yeggye ku ddagala
 
Kigozi ne mikwano gye lwe yali yeggye ku ddagala.

 

Ono ebyamutuukako abinyumya bwati.

Obulamu bwange bwonna bubadde bwa kutoba. Ng’omwana aviiriddwaako nnyina eyali amufaako ennyo, n’afuuka omu ku baana b’oku nguudo.

Ku nguudo za Kampala twenyigira mu bikolobero bingi nnyo gamba ng’okubba sso nga n’oluusi nakola nga bbulooka wa bamalaaya.

Natuuka ekiseera ng’embeera eno ngikooye era bwentyo nafuna sugammami eyasalawo okunteekamu ensimbi nsobole okusitula obulamu bwange, n’ampasa.

Ono yalina emyaka 53 kyokka nga nze nina 16 wabula nga sirinaamu kutya kwonna era bwatyo yampangisiriza ennyumba mwe twasisinkanira nga mu biseera nga bba azzeeyo ku kyeyo e Iraq era ng’ebbanga ery’emyaka 2 lye namala naye yasobola okuteeka ssente mu myuziki wange.

Nafuna omukisa ne nkolako n’abayimbi nga Dr. Propa wamu ne Mickie Wine mu kiseera ekitono kye nayimbako okutuuka mu mwaka gwa 2010 bwe natandika okuyimba nzekka.

Kino kye kiseera ebyobulamu bwange we byatandikira okugootaanira olw’okulumbibwanga endadde ezitali zimu.

NKIZUULA NTI NNINA AKAWUKA

Mu bbanga lyonna lye nali n’omukyala ono saamunyegako ku kya kwekebeza olwensonga nti nalinamu okutya nti ayinza okulekera awo okunnyamba.

Buno saamanya nti bulagajjavu bwe nkola obwali bugenda n’okulemesa ebirooto byange eby’okuyimba okutuusa endwadde ezitali zimu bwe zaatandika okulumba obulamu bwange olwo okuyimba ne nkuwummula.

Nga ntandise okunafuwa, nabuuza omukyala ono oba yali amanyi ekinnuma wabula ng’anziramu kimu nga bwatali musawo era nti ηηende mu ddwaaliro.

Nakyesonyiwa okumala akaseera okutuusa olunaku lumu lwe nanywamu ku mwenge olwo ne ndyoka mukubira essimu gye sijjukira byalimu wabula mesegi ezaali zingoba mu bulamu bwe ezaagigoberera nga zino naziraba nkeera.

Nagezaako okuwuliziganya naye wabula nga takyakwata ssimu zange era wano okutya kwange we kweyongerera wakati mu kunafuwa buli lukya.

Mukwano gwange omu yampaliriza ηηende ku musaayi tuzuule ekinnuma wabula nga nze siraba nsonga etwala kwekebeza.

Twagenda ku Joint Clinical Research Centre (JCRC) wabula nga nnina okubuusabuusa nti siriimu tasobola kukwata omwana omuto nga nze nga n’ebbanga lye namala mu ddwaaliro lino nga banzigyeko omusaayi, nali nsuubira nti obulwadde bulala wabula si siriimu.

Nga sinnakwasibwa bivudde mu musaayi, abasawo baasooka ne bambudaabuda wabula nze nga mbalaba ng’abali mu muzannyo okutuusa lwe bampa ebyali bivudde mu musaayi nga biraga bwe nnina akawuka akaleeta mukenenya.

Eyali abiyita eby’okusaaga, nannyogoga ng’omusawo antegeezezza era olwo lwe nakizuula nti mu Kampala muno mulimu abantu abasanyuka nga balwazizza abalala.

Nga ntegedde ebinkwatako nneebuuza mu mutima; ηηenda kutambulira ku ARVs okutuusa lwe ndifa?

Mu bye nali nneeraliikirira nti siridde kyaggulo kati nalina okugattako nti sirina kwerabira kumira ddagala okutuusa lwe ndifa!, ηηenda kufa?, Nkyasobola okufuna omukazi ow’okuwasa?

 igozi nga bwafaanana Kigozi nga bwe yafaanana ng'avudde ku ddagala.

 

Mikwano gyange gigenda kundaba gitya?

Natya ate nti ne maama yali yafa akawuka kano mu 2005 ate nga nalaba abantu bwe baamuyisa era mu kulaba okwange, nakimanya nti sikyaweza myaka 2 ku nsi.

Wadde abasawo bambudaabuda, saafunirawo maanyi era natuula ku geeti ya JCRC nga bwe ndaba emmotoka eziyita ku kkubo ekintu ekyandeetera ebirowoozo by’okwagala okwesuula mu mmotoka wabula oluvannyuma naguma.

Omuwendo gwa Bannyuganda abakozesa kondomu gukendedde

 

AKUBIRIZZA ABAVUBUKA

Navaayo ne njogera mu lwatu ntaase abalala nga nange bwe nnyambibwa. Nasalawo ntambulire mu bavubuka ab’emyaka gyange kubanga ntegeera okukemebwa kwe bayitamu era mu kiseera kino amakanda ngasimbye mu kubuulira baana ba ghetto, abo abali mu masomero era nga ne mu masinzizo ηηendayo.

Bwe ntuukayo ngabana nabo ebyantuukako era nnina essuubi nti bajja kubeera ba njawulo ku nze.

Eri abaana n’abavubuka abatalina kawuka kano, mbajjukiza nti abantu abasinga balwadde ate nga tosobola kubakebeza maaso nga n’ekyennaku kwe kubeera nti abamu ku bano tebafaayo kusiiga balala.

Noolwekyo mbakuutira okubeera abeegendereza n’obulamu bwabwe.

Eri abalina akawuka musaanidde okumanya nti ARV mwe muli obulamu bwammwe era nti alwala akawuuka si y’afa ate siriimu si bwe bulwadde bwokka obutta.

Kale mbakuutira obutagaayalirira ddagala kubanga nange eyali afudde kati obulamu bwange bwaterera era nga n’akawuka kano tokyayinza kukalaba mu mubiri gwange ne bwekeberebwa nga kino kivudde kukumira ddagala lyange bulungi. 

 igozi wakati ne bavubuka banne Kigozi (wakati) ne bavubuka banne.

 

Katono nfe nga nvudde ku ddagala

NGA nva ku JCRC bampa eddagala lya wiiki 2 kyokka bwe lyaggwaawo ate ne ndivaako ekintu kye saamanya nti kyali kinteeka mu katyabaga anti teri kintu kibi ku kawuka kano nga kutandika ddagala ate n’olivaako olwokuba nti kuno kubeera nga kutandika lutalo ate n’obivaako ate nga b’otanudde bo basigala bakyalumba.

Akawuka kadda n’amaanyi agatagambika era natuuka emimwa ne giyiwa, amaaso ne galeeta langi gye sitegeera, ebirowoozo by’okufa nga bye binzijula wabula ngeri gye waali watayise bbanga ddene, naddayo ku JCRC ne mbabuulira amazima nti eddagala nalitya ne ndivaako.

Bambeerera baakisa naye ne bankozesa endagaano ey’obutaddamu kuva ku ddagala.

Neebuulirira era ne nziraamu okumira eddagala. Nakkiriza nti ndi mulwadde wabula era ne nzikiriza nti ekyamazima sijja kufa kati. Nga nzizeemu okumira eddagala natandika okudda engulu era eyali tatambula naddamu okutambula mpola mpola.

Embeera yange yagenda erongooka buli kiseera okutuusa omwaka oguwedde bwenasalawo okuva mu kwekweka ne njatula kyendi nsobole okufuna emirembe ku mutima.

 

"Maama yafa talina gwagambye nti tuli balwadde"

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Col2 220x290

Bebe Cool awadde abavubuka b'e...

Bebe Cool awadde abavubuka b'e Gomba obukadde 53 ez'okweggya mu bwavu

Set1 220x290

Rema yagambye nti buli mukazi yenna...

Rema yagambye nti buli mukazi yenna yetaaga kubeera n'omusajja gw'ayita omwami we ebyaddala

Ssematimba1 220x290

Peter Ssematimba atudde ebigezo...

Omubaka wa Busiro South Paasita Peter Sematimba atandise okukola ebigezo bye ebya S6 ku ssomero lya Minister JC...

Zab1 220x290

Muzaata alabudde abasajja abakandaaliriza...

Muzaata alabudde abasajja abakandaaliriza abakazi; Tujja kubabaggyako tubawe abeesobola

Nam1 220x290

Laba engeri Rema gye yafaananye...

Laba engeri Rema gye yafaananye nga Malaika ng'ayanjula Hamza