TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Bayizi bannange abanjeeya bankyaya okumira eddagala

Bayizi bannange abanjeeya bankyaya okumira eddagala

By Musasi wa Bukedde

Added 6th November 2019

Okutegeera nti nnina obulwadde, nali mu P4 ku myaka munaana kubanga nasooka kukiwulirira mu bantu mu kitundu gye twali tubeera oluvannyuma ne mbuuza abasawo ku ddwaaliro.

Asiimwe2 703x422

Asiimwe

Bya REGINAH NALUNGA
 
EKIBONEREZO kya bazadde bange okunzaala nga balina akawuka akaleeta mukenenya natandika okukirowoozaako nga nkyali muto ddala.
 
Hajarah Asiimwe 20 , akola ng’omubaka mu kitongole kya Elizabeth Glaser Pediatric Aids foundation(EGPAF) anyumya by’ayiseemu.
 
Agamba ssinga mukwano gwe teyamuyamba okudda ku ddagala ,teyandibadde mulamu leero.
 
Annyonnyola bwati; Maama bwe yategeera nti ndi mulwadde, yansuula kiro ku
mulyango gwa jjajja e Kabaale - Kirijimwe ye ne yeeyongerayo n’okutuusa leero siddangamu kumulaba.
 
Natandika okubeera mu maka ga bajjajja(abazaala taata) okuva mu kiseera maama we yansuulirawo.
 
Nalumbibwanga endwadde naye nga tewali amanyi kwe kiva. Lumu abaawaka baafuna
ekirowoozo okuntwala ew’omusawo omukugu ankebere omusaayi azuule ekituufu ekindwaza buli kadde.
 
Wano jjajja we yategeerera nti nazaalibwa n’akawuka akaleeta siriimu.
 
Ku myaka ebiri natandika empeke za Septrin, mu 2005 ne nzira ku ARV. Jjajja yafangayo okulaba nti antwala mu ddwaaliro lya Kabaale Referral Hospital okufuna
obujjanjabi.
 
Okutegeera nti nnina obulwadde, nali mu P4 ku myaka munaana kubanga nasooka kukiwulirira mu bantu mu kitundu gye twali tubeera oluvannyuma ne mbuuza abasawo ku ddwaaliro.
 
Lumu twali mu kibiina nga tusoma essomo lya ssaayansi, muyizi munnange bwe tuva ku kyalo kye kimu n’awa eky’okulabirako nti nnina siriimu.
 
Kyannyiga era wano we natandikira okukitwala nti ddala bulabe omuntu okuba ne siriimu.
 
Olw’obusungu, ekiruyi ky’okundaalaalasa nga bwendi omulwadde namukuba nga
mmwesasuza.
 
Ne bwe nagenda mu siniya era nasangayo abaana abaali bamanyi kyendi nabo ne bongera okusaasaanya olugambo.
 
Ebiseera byange byonna eby’okusoma nabimalako mu kuboolebwa nga bamanyi n’okumpita omulambo ogutambula, kino kyanviirako okukyawa okusoma.
 
Tewali muntu yali ayagala kukolagana nange ku ssomero n’awaka.
 
Embeera eno, yanviirako okukyawa eddagala nga nnindirira olunaku lwe nfa.
 
Okuva ku ddagala kyankosa nnyo, era lumu nali mu kigezo kya S4 ekya UNEB ne nzirika kubanga nali simmira bulungi ddagala mu butuufu bw’alyo.
 
Eddagala naliggyanga mu ddwaaliro naye nga ndikweka mu kisenge kyange, kyokka buli lwe naddangayo okunkebera nga nsangibwa omubiri gulimu akawuka ka maanyi.
 
Natuuka ekiseera nga bwe ηηenda mu ddwaaliro saagala basawo kumbuulirira kubanga tebaalina bulwadde nga tebamanyi buzibu obuli mu kumira empeke
zino buli lunaku.
 
Natuuka n’okubagamba bandeke nfe tewali kye bataasa kuba ndi mulambo ogutambula.
 
Oluvannyuma lw’okwekyawa, nalowooza ku ky’okwetta enfunda ssatu. Nasooka kumira mpeke za pilton 10 kyokka saafa.
 
Oluvannyuma lw’okukizuula nti bw’ommira eddagala lyonna mu bungi litta, lumu nammira empeke za ARV 20 kyokka ne bigaana.
 
Ekyasembayo nadduka awaka ne ηηenda mu mikwano gyange nga ndowooza nti kinannyamba okufa amangu, kyokka nabo bantabukira okusinga n’awaka gye
nali nziruse.
 
Eno banyunga ku muvubuka Brian Ayimbisibwe, nga baagala ambuulirire nsobole okumira eddagala.
 
Ekirungi Ayimbisibwe yali ammanyi okuva mu kitongole kya Elizabeth Glaser Pediatric Aids Foundation, ekiyamba abaana abalina akawuka.
 
Ayimbisibwe naye yali mulwadde nga nze, naye nga bw’omutunuulirira oyinza okuwakana nti mulwadde.
 

 

Oluvannyuma lw’okulaba fayiro ye ne nkakasa nti amira bulungi eddagala, naddamu amaanyi era ye muntu yekka eyasobola okumbuulirira okuddamu okumira eddagala.
 
Yaddamu n’annyunga ku kitongole kino, abannyamba okudda ku biragiro by’abasawo n’okumpa obuyambi.
 
Ekiseera kyatuuka ne bampa  obuvunaanyizibwa obw’okubudaabuda abaana n’abavubuka mu kitongole ekyo.
 
Eno gye nafunira n’ekirowoozo eky’okwesimbawo ku bwa Miss Y+ (young positive) Beauty Pagent Western 2018 era Mukama n’annyamba ne nziwagula.
 
Kino kyannyongera amaanyi okumira eddagala lyange era mu bbanga lya myezi ena nagenda okudda mu ddwaaliro ng’abasawo beewuunya engeri obulamu bwange gye bwali bukyuse.
 
Ku myaka 19, gwe mulundi ogwasooka okukeberebwa ng’obutafFaali bwange(CD4) buli waggulu ddala.
 
Nga Miss Y+ nayongera okufuna obuyambi mu bitongole ebitali bimu. Nafuna obuvumu okwogera ku mikuttu egitali gimu ku kiki kyendi. Kino kyaggulawo emikutu
okusobola okwogera ne bavubuka bannange.
 
Njagala kwenyigira mu kampeyini y’okulwanyisa omuze gw’abavubuka n’abaana okwenyigira mu bikolwa by’okwegatta olw’okwagala okufuna ssente.
 
Njagala n’okwesimbawo ku kifo ky’obwa Miss Uganda omwaka ogujja nsobole okusaasaanya enjiri y’okulwanyisa siriimu.
 
Nkubiriza abavubuka abalina akawuka ka siriimu, obutaggwaamu
ssuubi, bekkiririzeemu, bagoberere ebirooto byabwe era bamire bulungi eddagala lyabwe.
 
Ssinga Ayimbisibwe teyannyamba kunzizaamu ssuubi kuddamu kumira ddagala, nandibadde siriiwo leero, kye nva nange nfaayo okuyamba abalala.”

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Col2 220x290

Bebe Cool awadde abavubuka b'e...

Bebe Cool awadde abavubuka b'e Gomba obukadde 53 ez'okweggya mu bwavu

Set1 220x290

Rema yagambye nti buli mukazi yenna...

Rema yagambye nti buli mukazi yenna yetaaga kubeera n'omusajja gw'ayita omwami we ebyaddala

Ssematimba1 220x290

Peter Ssematimba atudde ebigezo...

Omubaka wa Busiro South Paasita Peter Sematimba atandise okukola ebigezo bye ebya S6 ku ssomero lya Minister JC...

Zab1 220x290

Muzaata alabudde abasajja abakandaaliriza...

Muzaata alabudde abasajja abakandaaliriza abakazi; Tujja kubabaggyako tubawe abeesobola

Nam1 220x290

Laba engeri Rema gye yafaananye...

Laba engeri Rema gye yafaananye nga Malaika ng'ayanjula Hamza