TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Engeri Omuyimbi Stecia Mayanja gyazze attunka ne laavu

Engeri Omuyimbi Stecia Mayanja gyazze attunka ne laavu

By Josephat Sseguya

Added 11th November 2019

‘ABAMPITA malaaya muyinza n’okuba mubeera mu kikolwa ekyo nga nze sibeerangamukko. Saagalangako basajja babiri mulundi gumu, nsooka ne nfuna omu bwemuta nenfuna omulala, awo siba malaaya!’

Mayanja1 703x422

Stecia Mayanja

Bya JOSEPHAT SSEGUYA

Nga tweteekerateekera okwanjula kw'omuyimbi Rema Namakula wiiki eno ng'ayanjula Dr. Hamza Ssebunnya e Nabbingo mu Bataka, tukuleetedde abayimbi abalala abazze batawaana n'omukwano. Rema naye yayayawukanye ne muyimbi munne Eddy Kenzo Musuuza gw'alinamu n'omwana.

Leero tukuleetedde Stecia Mayanja.

‘ABAMPITA malaaya muyinza n’okuba mubeera mu kikolwa ekyo nga nze sibeerangamukko. Saagalangako basajja babiri mulundi gumu, nsooka ne nfuna omu bwemuta nenfuna omulala, awo siba malaaya!’

 Bw’atyo Stecia Mayanja bwe yayogera mu muzannyo ogumu ku Bat Valley Theater n’awagirwa abantu bangi.

 Ne bw’otunuulira olugendo lwe olw’omukwano, Stecia y’omu ku bayimbi abaganziddwa abasajja ab’enjawulo nga balemagana ng’afuna omulala nga bwe kiragiddwa wammanga;

 Meddie;

Yali mukwasi wa nnyimba mu situdio ya Afande Records eyali eya Gen. Mega Dee kati eyagenda mu Amerika. Ye muganziwe eyasooka eyamuzaalamu n’omwana abangi gwe baali balowooza nti wa Charles Sekyewa. Baayagalana mu myaka gya 2000 nga gitandika.

 tecia ne sekyewa nga bakyali bonna Stecia ne Ssekyewa nga bakyali bonna.

 

 Charles Sekyewa;

Besanga mu Eagles Production gye baasooka okukolera nga ba ‘back up musicians’ abatabula amaloboozi mu nnyimba z’abayimbi abanene mu budde obwo abaali mu bbandi eyo. Beerandiza bokka nga n’ennaku yaabwe be bagimanyi.

 Olw’okufuna ebingi ebibagatta baatandika n’ebya laavu era olw’obutamanyika bwa Meddie oli eyasooka okuzaala mu Stecia omwana, bangi baalowooza nti omwana oyo yali wa Sekyewa. Stecia yaakazaala mu basajja babiri, Kitaka ne Meddie.

Sekyewa anyize Stecia Mayanja e Kasokoso abadigize ne babakuba olube...

 Alina n’abaana abalala b’alabirira wadde nga si y’abazaala. Abasanga mu Kampala n’abatwala nga tebalina mwasirizi kw’agatta abaana b’engandaze.

 Omukwano gwe ne Sekyewa gwatambula bulungi naye nga teguliimu ssente ekyawa omusuubuzi w’emmotoka, Fred Kitaka Busuulwa omukisa okuyingirawo.

 
 tecia nganekanekanye ku kwanjula kwe Stecia ng'anekanekanye ku kwanjula kwe ne Kitaka.

 

 Fred Kitaka;

Yayingizaawo maanyi era ku mukolo gw’okwanjula ogwaliwo mu 2009, yamuwa n’emmotoka wadde nga waliwo abalowooza nti yali tanava mu kidaala gye yayanjulira Kitaka ng’emmotoka yazzeeyo dda mu kibanda kya Kitaka. Kitaka musuubuzi wa mmotoka e Nakulabye mu Kampala.

Stecia yali wa bisiraani - Kitaka

 Baatambula bulungi okutuusa Stecia lwe yava mu bufumbo buno ng’agamba nti bumuwanvuyeeko olwa Kitaka okuganza buli wamu.

 tecia lwe yayanjula bbas ubiru Stecia lwe yayanjula lwe yayanjula Kitaka.

Wano we yava n’okukuba oluyimba lwa Tosala gwa kawala ng’ategeeza nti abamunenya okulekawo Kitaka basooke bawulirize embooziye.

 Ekisesa, ate Kitaka ono yenyini, Stecia gwe yasooka okuyimbamu oluyimba lwa Kabalagala ng’amutenda okumubalagala naye ku luno yali amukaayiridde.

 mmotoka gye baamuwa ku kwanjula kwe Emmotoka gye baamuwa ku kwanjula kwe.

 

 

 Meddie Bwete;

Yafuna omukisa mu basajja ab’amannya gano kubanga ono Meddie yali musajja atava ku lusegere lw’abayimbi ate nga ku Bat valley Theater w’asiiba ng’oyinza n’okumuyita munnakatemba. Ono yali amunazaako nnaku ya Kitaka era tebaawangaala.

Ekyewuunyisa ne Kitaka eyali akaaba nga Stecia bwe yali omuzibu wadde yamusigalamu, ate naye yafunayo amunazaako ennaku ya Stecia. Ye muwala gwe bayita Rema Namagembe eyali amubudaabuda.

Kitaka agobye Stecia mu nju n''awasizaamu omulala

 Yamweyitiranga Remmy era yakyala ne mu bakaddebe e Kiweesi - Mityana mu 2014.

 Ate no okumanya Kitaka naye talina mukisa gw’abakazi nga gw’akwatako y’agenda, Namagembe bwe yagenda yazzaawo Mariam Kisaakye ono eyazina ng’apaapaaza akabina mu luyimba lwa Kapaapaala olwa David Lutalo. Oyo naye ate yamulekawo kati ali Bungereza. Yaganzaako Sarah Nakanyike n’abalala naye ng’ebintu bimutambulira kibaliga.

 
 
 tecia ne itaka ano baali mu mkiiko zemikolo gyabwe Stecia ne Abbas. Wano baali mu nkiiko z'emikolo gyabwe ku Hotel Africana.

 

 

 Abbas Mubiru;

Mu March wa 2015, Stecia Mayanja yalayira nga bw’asazeewo okufuna omusajja ow’obulamu bwe ekyobufumbo akite amanye nti kiwedde. Yafuna Abbas Mubiru emikolo ne giteekebwateekebwa ku Hotel Afrikana n’embaga n’ebeera e Lugogo Main Exhibition Hall oluvannyuma lw’ensasagge. Omukolo guno gwe gwasinga okubaamu katemba mu mikolo gya Stecia.

 

 Byajja bitya;

Ng’amaze okutegeka ebintu byonna n’essente ezisoba mu bukadde 100 zimuli ku kabina, waliwo abaali bamubanja na ddala mu kkampuni ye eya STEMA Uganda eyali etwala abantu ebweru. Yasasula ng’akozesa ssente ezo ate ne zimulema okuzzaawo ensasagge n’etuuka ng’embaga ebulayo ennaku bbiri. 

Abbas yali talina nnusu n’emu kubanga yali yeyiyiza wali e Lubowa ku lw’e Ntebe. Wano we waava Stecia okufuna puleesa n’azirikira ewa maamawe, e Nateete-Wakalika ne maamawe n’alangira Abbas obunanfusi, obufere n’ategeeza ng’embaga bw’etajja kubaawo okuggyako ng’engonge takyagyeddira.

 Ekyali kimuluma ye Abbas okugaana okwesondamu yadde ekuba ennyonyi akole omukolo wabula n’agulekera muwalawe omu bw’ati.

 Maama Fiina, Gen. Katumba Wamala n’abalala baasonda ssente mu kiro kimu bwagenda okukya ng’embaga gy’eri.

 

 Eky’ennaku, abaagalana bano baayawukana mu mwaka gumu n’ekitundu na kati Abbas aba Golden band, Stecia mwe yali ayimbira nga Eagles Production egudde be baamuyiiyiza visa n’omulimu by’akola ebweru.

Ekigendererwa? Baali tebaagala addemu kubba ekyali kisudde erinnya ly’omuyimbi oyo ennyo ne bbandi yaabwe. Ate tojjukira bwe yasika wano owa mobile money 190,000/- ze yaweereza Stecia ate nga mu nsawo teziriimu!

Stecia agenze Mecca okusabira bba Mubiru ave mu bufere

 Shaban;

Ensonda mu bbandi ya Kream Production Reloaded eya Hajji Haruna Stecia Mayanja gye yadda ziraga nti eyo gye yasanga Shabban gw’ali naye kati. Abo nabo bayimbi bombi nga bwe kyali ku Sekyewa era katubasabire bawangaale.

 

Poliisi eyise Stecia annyonnyole ku by''abantu b''atwala ku kyeyo

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Whatsappimage20191213at212901copy 220x290

Balaze waaka ku mpaka z'emisono...

Balaze waaka ku mukolo gw'okwolesa emisono ogwategekeddwa Abraynz ku Serena Hotel mu Kampala

Steelandtubebyjmutebi2 220x290

'Abakozi mukomye okwemulugunya'...

FAAZA Raymond Kalanzi ow’e kiggo ky’e Kiwamirembe alabudde abakozi abasiiba ku mirimu yonna gye bali nga beemulugunya...

Fanda1 220x290

Eyasuulawo mukyala we emyaka 25...

SSEMAKA eyasuulawo mukyala we ng’afunye omulala akomyewo oluvannyuma lw’emyaka 25 n’amukuba empeta.

Bba 220x290

Kkamera ziraze eyabbye emmotoka...

KKAMERA za poliisi zikutte omusajja omulala ng’abba emmotoka eyabadde esimbiddwa okumpi n’eddwaaliro ly’e Mulago....

Tamalemirundi 220x290

Tamale Mirundi agobye abamulambula...

Mikwano gya Tamale Mirundi betwayogeddeko nabo baategeezezza nti obulwadde Tamale bwamwetamizza abantu era mu bamu...