TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Biibino ebitundu ebirala ebyefudde mmo mu kumira amaato n’ennyonyi

Biibino ebitundu ebirala ebyefudde mmo mu kumira amaato n’ennyonyi

By Musasi wa Bukedde

Added 21st November 2019

NE WANKUBADDE ng’abantu abasinga Bermuda Triangle bamumanyi ng’ekifo ekibuzaawo abasaabaze ababeera mu nnyonyi ne ku mmeeri, ebifo ebirala bingi ebikakasiddwa okumira abantu ebirina okwewalibwa.

Bwakikola 703x422

‘Akazimu’ nga kasituse mu kitundu kye Bermuda weemirira amaato n’ennyonyi.

Bermuda Triangle kisangibwa mu liyanja lya Atlantic wakati w’essaza lya Amerika ery’e Florida n’ebizinga by’e Bahamas ne Puerto Rico. Ekitundu ekyo katukiyite ssebuufu bwa ngo obutasaalimbwamu mbwa.

Lwaki? Emmeeri n’ennyonyi byonna ebiyitawo ka kubeere okumpi n’ekitundu ekyo, bibbira mu mazzi obutaddamu kulabikako. Emu ku nsonga ennyingi ezivaako kino okubaawo g’emazzi mu kitundu ekyo obutazitowa ng’ebitundu ebirala ekigalemesa okuwanirira emmeeri enzito.

Kyokka bannassaayansi abamu kino bakiwakanya nga bagamba nti wadde amaato gonna gawanirirwa mazzi okusigala nga tegabbidde, n’agalimu omuntu omu nga gawewuka nnyo nago bagamira kasita gayita mu kitundu ekyo.

Bannassaayansi bongerako nti kibuyaga omungi mu kitundu ekyo y’asika ennyonyi ne zibulwa amakubo ne zikka ne zibbira.

Abaganda abamu ekyo bakiyita liiso lya nnyanja eryetooloola buli kadde nga bw’otabula sukaali mu kikopo nga bw’oggyamu ekijiiko caayi n’asigala nga yeetooloola bw’omusuulamu ekintu awetooloola wennyini we kitandikira okukka.

Bermuda Triangle yasooka kwogerwako omuvumbuzi Christopher Columbus bwe yali ava mu Bulaaya okuzuula Amerika mu 1492 n’awulira ekitundu ekyo nga si kya bulijjo.

kulabikako mu 1937 n’ennyonyi ya Northwest Flight 2501 mu 1950, bannassaayansi bagamba nti kyava ku mazzi kubimba ne gasukka we gaali gakoma. Nti emyaka nga 10,000 okudda emabega mu kitundu ekyo, amazzi gaali matono olw’omuzira ogwali omungi.

Abantu bwe baagendanga batema emiti n’okukola ebirala ebyonoona obutonde bw’ensi ekyayongera ebbugumu ku nsi, omuzira gwasaanuuka amazzi ne gabimba.

nnyonyi eri okumpi namazzi ngeno neri ewala zonna zisobola okumiribwaEnnyonyi eri okumpi n’amazzi ng’eno n’eri ewala zonna zisobola okumiribwa.

Waliwo ejjinja eddene abantu lye baakolerangako emirimu ng’okubumba, okuwagala ebissi, okwanika ebintu ng’ekyalo kyonna we kikung’aanira era gatandika okusongolerera.

Amaato agayitawo naddala amazito beekanga gakubye olwazi ne lyatika olwo amazzi ne gayingira n’ekyaddiriranga lyato kubbira.

 nnyonyi eri okumpi namazzi ngeno neri ewala zonna zisobola okumiribwa Ennyonyi eri okumpi n’amazzi ng’eno n’eri ewala zonna zisobola okumiribwa.

 

 

EZIMU KU NNYONYI
N’AMAATO EBIZZE BIBULA
 Ennyonyi y’ekika kya Avro
Tudor IV passenger aircraft
eya kkampuni ya Star Tiger
yabulirawo nga January 30, 1948
n’abaaliko bonna tebaddamu
kulabika.
 Emmeeri ya SS Marine
Sulphur Queen eyabulirawo mu
February 4, 1963.
 Omugagga Donald Crowhurst
eyali yeevuga mu lyato
ery’ebbeeyi ennyo n’abulirawo
mu June 29, 1969.
 Omugagga eyali yeevuga mu
nnyonyi, Chuck Wakely naye
yabulirawo mu 1964.
EBIFO EBIRALA EBIKAKASIDDWA
OKUBUZA EMMEERI N’ENNYONYI
 Bennington Triangle:
Kisangibwa mu ssaza ly’e
Vermont mu Amerika. Okuva
mu 1945, abantu bamiriddwa
mu bisozisozi byayo nga bazannya
emizannyo gy’omu muzira.
Batuula ku bugaali n’abalala
okwambala obupiira bwe bavugira
mu muzira ne bagenda mu
nsozi okukkakkana nga bagudde
mu biwonvu ne babulirayo ne
batandika okuwanuuza nti nawo
waliwo amaanyi g’empewo
agamira abantu.
 Bridgewater Triangle:
Kino kiri mu ssaza ly’e Massachusetts
mu Amerika. Kifo
ekiwezaako obwagaagavu bwa
mayiro 200 mu buvanjuba
bw’essaza eryo ku liyanja lya
Atlantic. Abayita mu kifo ekyo
boogera nnyo nga bwe balabikirwa
emizimu egyeyoleka
mu bantu ababula nga waakabakubako
eriiso, agasota agaagejja,
omuliro ogwekoleeza nga bwe
guzikira, kibunoomu atakoma,
obunyonyi obuyimba ng’enyonza
ate nga tobulabako n’ebirala.
 Dragon’s Triangle
Kisangibwa mu liyanja lya Japan.
Ekitundu kino ekisangibwa mu
buvanjuba bw’eggwanga eryo,
nakyo kibuza amaato agayitawo
wadde ng’amaanyi agali
wano googerwako ng’agasinga
okuva ku nkula y’enjazi ezaayalirirwa
ku ntobo y’ennyanja
eno ezivaamu omuliro oguleeta
ebbugumu amaato agayitawo ne
gaabika ne gabbira.
 Falkirk Triangle:
Kisangibwa Scotland etwale lya
Bungereza mu Bulaaya. Ku lutindo
lw’e Bonny bridge, abagoba
b’emmotoka abasiiba bayitawo
bawadde poliisi lipoota eziwera
nga bwe balaba obusajja obwa
kiragala obwetawula ku lutindo
olwo. Obusajja obwo buwakanyizibwa
abantu bangi nti ku nsi
tebuliiko wadde nga bannassaayansi
abamu balumiriza nti obusajja
obwo obuyitibwa ‘aliens’ bujja
ku nsi okukoppa tekinologiya
bukole owaabwo era nti olumu
waliwo ekirowoozo nti buyinza
okulumba ensi bugiwambe.
 Michigan Triangle:
Kiri mu nnyanja Michigan mu
Amerika amaato gye gamiriddwa
n’ennyonyi okwefaananyirizaako
Bermuda. Ssaayansi wa wano
eyavaako omugoba w’eryato,
Captain George R. Donner okubulawo
n’eryato lye obutaddamu

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mknmu21 220x290

Ababadde batwala omulambo batuuyanye...

Abatuuze ku kyalo Nassuuti mu munisipaaali y’e Mukono baasitaanye okufuna ebiwandiiko ebitambuza omulambo gwa munnaabwe...

1bc8d9398e5f4a07a3307fdfeb1d90ad 220x290

Kasujja omukulu w'ekika ky'Engeye...

OMUTAKA Hajj Mohamood Minge Kibirige Kasujja abadde akulira ekika ky’engeye obulwadde bwa sukaali ne puleesa bimugye...

Mkncov11 220x290

Ab’e Mukono batandise ekifo aw’okukuumira...

Ab’e Mukono batandise ekifo aw’okukuumira abateeberezebwa okuba ne Coronavirus

414009d1dd2349e0bd6b4678886a42d21 220x290

Kabaka awaddeyo obukadde 100 okuyamba...

KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II addukiridde Bannayuganda n’obuyambi obw’enjawulo obubalirirwa obukadde 100 ng’ensimbi...

Lop2 220x290

Omusumba Bp. Silvester Kisitu asabye...

Omusumba Bp. Silvester Kisitu asabye Bannayuganda okubeera abaweereza abalungi