TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Mutesa yaggulawo enkolagana ya Uganda n'amawanga amalala

Mutesa yaggulawo enkolagana ya Uganda n'amawanga amalala

By Vivien Nakitende

Added 21st November 2019

Okufuuka Pulezidenti, Ssekabaka Mutesa yalondebwa Palamenti, n’amyukibwa Sir. William Wilberforce Nadiope Kajumbula eyali Kyabazinga wa Busoga.

Muteesa14 703x422

Muteesa ne Empula Sselasie

Bya AMBASADA WILLIAM SOLOMON KABOGA MATOVU
 
NDI muwi w’amagezi owa Ssaabasajja Ronald Muwenda Mutebi II, nasomera St. Mary’s Kisubi, King’s College Budo ne Boston University. Nakuguka mu nkolagana n’amawanga amalala (International Relations and Diplomacy).
 
Mbadde mubaka w’eggwanga okuva mu 1964. Mpeerezza mu nsi nnyingi nga; Ghana (1966-1967), Ethiopia (1971-1972), China (1972-1977), Buyindi (1977-1979), Russia (1967-1970), Bungereza (1988-1990), Congo/Zaire (1986-1988) n’endala, nga nkolera Minisitule y’ensonga Ezeebweru.
 
Bwe nakomawo kuno, ne mpeereza ku kitebe kya minisitule eno, nga nkulira ekitongole ekyaniriza abagenyi nga ‘Chief of Protocol’ ne nkulira n’ebya paasipooti.
 
Ssekabaka Mutesa II saabeerako naye, naye namumanya okuva mu buto kuba bazadde bange baali baami.
 uteesa ku namulondo Muteesa ku Nnamulondo.

 

 
Yafuuka Pulezidenti eyasooka owa Uganda nga 9/10/1963, bwe gwawera omwaka mulamba nga Uganda yeefuze, yadda mu kifo kya Sir. Walter Coutts, ebiseera ebyo eyali Gavana Genero ng’akiikirira Nnaabakyala wa Bungereza eyasooka okuba ‘Head of State’ wa Uganda eyeefuze.
 
Okufuuka Pulezidenti, Ssekabaka Mutesa yalondebwa Palamenti, n’amyukibwa Sir. William Wilberforce Nadiope Kajumbula eyali Kyabazinga wa Busoga.
 
Nasooka okulaba Ssekabaka Mutesa mu 1948 nga nkyali muto, bwe yali azze e Mityana okulambula ku bantu be ab’e Ssingo n’okubalaga Nnaabagereka Damalie gwe yali yaakawasa. Nali nsoma kibiina ekyokubiri e Namukozi.
 
Kitange Semu Kaboga, yali muwandiisi omukulu ku ssaza e Mityana ewa Mukwenda, nga mukamaawe ye mugenzi Erisa Nkoyoyo eyali Mukwenda, olwo nali nsoma ne mutabani we omugenzi Mpalanyi eyafuuka Ssaabalabirizi.
 
Omulundi ogwokubiri okulaba ku Ssekabaka Mutesa, gwali mwaka 1951 ng’azze ku Ggombolola e Kalagala Bulemeezi, Ssaabasajja yali ava kusamba mupiira e Koko ng’ava mu Lubiri lwe e Bamunanika, nalingenze kuwummmula wa taata omuto Andereya Lubega, eyali oweggombolola mu kiseera ekyo.
 
Naddamu okumulaba nga nsoma mu St. Mary’s College Kisubi mu 1953 ku mpaka z’amaato eza Regatta ezaali ku mwalo e Kasenyi, ye yennyini mwe yavugira eryato, ate ne mmulaba ne ku mpaka z’emipiira gy’amasomero ez’akamalirizo ku mazaalibwa ge e Nakivubo mu mwaka gwe gumu.
 
Kye nzijukira obulungi, nga buli lwe tulaba ku Kabaka nga buli omu yeeyala wansi, ffenna abakulu n’abato.
 
      AMBASADA WILLIAM SOLOMON KABOGA MATOVU ANYUMYA.

 

AWANGANGUSIBWA
November 30, 1953, Abazungu bwe baawangangusa Ssekabaka Mutesa, e Kisubi gye nali nsoma abaana twagwamu ekiyongobero, Abaddugavu abaali ku ssomero ffenna ne twesaasaabaga, era eyali akulira abayizi eyayitibwanga Nsubuga yasalawo tukungubage nga tetwambala ngatto, n’abaana abaali batandise okumera ebirevu nabo ne babikuza, essomero lyabakkiriza okukikola okulaga okunyolwa kwabwe.
 
Twalina etterekero ly’ebitabo nga ddene, nga mubaamu amawulire ag’enjawulo, twagasomanga okumanya ebifa ku Kabaka waffe n’eggwanga lyaffe, ate e Kisubi gye baakubiranga olupapula lw’amawulire olwa Munno, kale nga tumanya mangu amawulire.
 
Empapula z’amawulire ezaaliwo kwaliko; Uganda Argus, Munno, Matalisi, Uganda Eyogera, Uganda Empya, Pilot, Gambuuze nga zonna tuzigoberera.
 
Mu kiseera ekyo, we baatandikira Leediyo Uganda nga gavumenti egezaako okulaga nti, Kabaka talidda. Ago nga ge mawulire agaaweebwanga abantu ku mukutu omutongole ogwo entakera. Kyokka Olukiiko olukulu olwa Buganda lwagumyanga abantu nti, Kabaka alikomawo.
 
Waaliwo abatono ku baami abakulu nga nabo bagamba nti Kabaka talidda kubanga Omuzungu bw’akukwatako kizibu okudda, kyokka ng’abasinga obungi bagumidde ku kya Kabaka kudda.
 
Obwakabaka bwawawaabira gavumenti ya Bungereza, nga bagamba nti baayita mu katundu (section) kakyamu okukwata Kabaka , looya Omuddugavu Apollo Kironde y’omu ku bapuliida ba Buganda abaaliko n’abalala okwali ne looya Omuzungu eyayitibwanga Dingle Foot.
alt=''

 

 
NNAABAKYALA WA BUNGEREZA AKYALA MU 1954
Oluvannyuma lwa Bungereza okuwa􀀃􀁋􀁋angusa Ssekabaka Mutesa mu 1953, Nnaabakyala wa Bungereza Elizabeth II, yakyala ku bugenyi obutongole mu Uganda okuggulawo ebbibiro ly’amasannyalaze (erya; Owen Falls Dam) e Jinja, kyali kyategekebwa dda nga y’alina okuliggulawo. Abaganda baagaana okumwaniriza era ne mu Buganda yakoma Ntebe.
 
Bwe yagenda e Jinja okuggulawo ebbibiro ly’amasannyalaze, yasisinkana Kyabazinga n’abakulembeze mu kitundu ekyo era yagenda e Katungulu mu kkuumiro ly’ebisolo erya Mweya National Park, gye yasisinkana Omugabe wa Ankole , Omukama wa Toro n’Omukama wa Bunyoro.
 
Abakulu ba Buganda abasatu okwali; Katikkiro Paul Kavuma, Omulamuzi Matayo Mugwanya n’omuwanika Latima Mpagi, baamulabira mu maka g’Obwapulezidenti e Ntebe. Mu kukyala kwa Nnaabakyala kwonna, gavumenti ya Bungereza yaleeta amagye okuva e Kenya, okunyweza ebyokwerinda bya wano, nga batya nti Abaganda bayinza okumukolako obulabe.
 
Oluvannyuma lw’enteeseganya wakati w’ababaka ba Buganda ezeetabwamu ne Ssekabaka Mutesa e Bungereza, Buganda ne Bungereza baakola endagaano empya eya 1955. Okusinziira ku ndagaano eyo, Ssaabasajja yakomawo mu nsi ye nga 17/10/1955.
 
Waaliwo okujaganya wonna mu Buganda nga kirangiriddwa nti Kabaka akomawo, era yalindirirwa enkumi n’enkumi z’abantu okuva e Ntebe okutuuka e Namirembe ku kkanisa gye yasookera okwetaba mu kusaba kw’okwebaza.
 
Ekiseera ekyo nali nkyasoma e Kisubi, era namulabira ku kiyitirirwa ekinene ennyo ekyali kizimbiddwa okumpi n’essomero lyaffe ku luguudo lw’e Ntebe. Amasomero amakulu agasinga obungi, gaatwalibwa mu kisaawe e Nakivubo okumwaniriza.
 
Mu mwaka gwe gumu ogwo, nalina kkwaaya gye nkulembera ku ssomero e Kisubi, twatwalibwa okumuyimbira ku mikolo gy’okumwaniriza ku Lubaga Social Center.
 
Mu April wa 1957 nga nsoma ku King’s College Budo, nawerekera kitange Semu Kaboga e Mmengo bwe yali agenzeeyo okweyanza obwami bw’eggombolola ya Ssaabaddu e Busammuzi Buvuma mu maaso ga Ssaabasajja.
 
OKULUMBA KABAKA MU 1966
Emitawaana egyagwawo mu 1966, gyasanga n’akomawo dda okuva mu Amerika mu 1964, nga nneegasse ku Minisitule y’ensonga ezeebweru.
 
Ekitongole ekyo kyatondebwawo nga Uganda egenda okwefuga mu 1962, era mu March wa 1962, Ssaabaminisita eyasooka Benedicto Kiwanuka, yali amaze okulonda abantu babiri abaali bagenda okubeera ababaka; e Bungereza ne mu Kibiina ky’Amawanga Amagatte (United Nations). Abo ye Andrew Adimola e Bungereza ne Apollo Kironde mu UN.
 
Benedicto Kiwanuka yavaako n’asikirwa Obote nga Ssaabaminisita, era yafuuka minisita omujjuvu ow’Ensonga Ezeebweru ku meefuga nga 09/10/1962, Apollo Kironde yamulekayo e New York, kyokka Adimola yamusikiza Timothy Bazarabusa.
 
Ekitongole ekyo ekipya, kyalonderwamu boofiisa abaava mu bitongole ebirala nga bakulu mu myaka ate nga bakugu mu bintu eby’enjawulo.
 
Mwalimu; Emmanuel Ndawula, Henry Kanyike ne Gerald Nsubuga. Abalala baakyusibwa okuva mu minisitule endala ne baleetebwa mu kitongole ekyo, mwalimu; Zed Bigirwenkya (eyafuuka omuwandiisi w’enkalakkalira), oyo yasikira Omuzungu Richard Posnett eyasooka okukikulira.
 
Yeegattibwako Sam Baingana nga Under Secretary, Matia Lubega, Eddie Wapenyi, Mark Ofwono n’abalala nga mwe mwali abamu abaweerezebwa ebweru, ku bitebe bya Bungereza mu nsi ez’enjawulo okweyongera okukuguka. Sam Odaka ne Vincent Rwomwaro be baali baminisita ababeezi mu kitongole ekyo.

 

 
ENKOLAGANA YA SSEKABAKA MUTESA NE MINISITULE Y’ENSONGA EZEEBWERU
Sir. Edward Mutesa bwe yafuuka Pulezidenti wa Uganda, yafuna enkolagana ey’enjawulo ne minisitule y’Ensonga Ezeebweru.
 
Ababaka abapya bonna nga bamweyanjulira ate nga y’atuma ababaka ba Uganda ebweru, kuba baagendanga mu linnya lye, nga y’alina okuteeka omukono ku biwandiiko ebibatuma.
 
Emikolo egikwatagana n’obuvunaanyizibwa obwo gyabanga gya njawulo mu nteekateeka n’ennyaniriza, era ebyo ye nga Pulezidenti byali bimukakatako nnyo. Yabikolanga bulungi era byamusanyusanga.
 
Ennyambala ye yatuukagananga bulungi n’emikolo era n’abo abaali mu kitongole ekyo baamwegombanga era ne bagezaako okukoppa ennyambala ye.
 
Entambula, ennyimirira, eneeyisa, enjogera n’obuntubulamu, byamwagaza nnyo abo bonna be yakolagana nabo. Mu abo mwalimu ab’enjawulo naye be yayagala ennyo nga; James Ngobi eyali ava e Busoga, Eddie Wapenyi eyali Omugisu, naye yakulira mu Buganda. Abo bombi yali ku mbaga zaabwe nga bawasa mu 1964.
 
Mu makkati ga 1964, Uganda yaggulawo ebitebe ebipya ng’eyongereza ku bibiri ebyaliwo okwali ekya; Bungereza ne United Nations era ebbaluwa ezaatuma ababaka abo, Sir Edward Mutesa yaziteekako emikono era n’abasiibula.
 
Kwaliko; USA yasindikayo Dr Solomon Asea, USSR (Yekosofati Engur), Ghana (Alloysious Obone), India (George Kamba), Arab Republic of Egypt (Paul Muwanga), Federal Republic of Germany (Leonard Basudde).
 
AKAZIGIZIGI MU BUGANDA
Obulumbaganyi obwakolebwa ku Kabaka n’abantu ne battibwa bangi, ebikolwa ebyo byonna byateekawo embeera enzibu ennyo mu Buganda. Abantu beegugunga, enguudo ne ziggalibwa.
 
Mu mbeera eyo, gavumenti ya Obote yalangirira ebiseera eby’akabenje, n’eteekawo ne kafuyu ng’abantu tebakkirizibwa kutambula kiro, era abantu bangi battibwa n’abamu ne basibwa. Abaserikale ba Special Force baatalaaga Obuganda, nga balumba abaami b’amasaza n’amagombolola, abamu battibwa abalala ne baggalirwa e Luzira. Kitange Semu Kaboga eyali owaggombolola e Buyamba Kooki mu kiseera ekyo, nali simanyi nti akyaliyo mulamu.
 
Era waalingawo abagamba nti Kabaka yattirwa mu Lubiri. Oluvannyuma lw’emyezi nga ebiri, Ssaabasajja Kabaka yaddamu okulabwako e Bungereza ng’ava mu nnyonyi mu July ng’atolose okuva e Uganda, ne kinnyonyolwa nti, yayitira Burundi okugenda e Bungereza.
 
Olwo abantu gwe mulundi ogwasooka okumulabako ne bafuna ku ssanyu nti gyali mulamu ne bafuna essuubi ne batandika okulwana okumuzza akomewo ku Bwakabaka bwe.
 
Ebyo okubaawo byansanga ndi mubaka wa Uganda e Ghana, era ku nkomerero ya 1966, nakwatagana ne mukwano gwe Mark Gilbey eyabeeranga e Ghana ne Bungereza ne nkakasa nti Kabaka wange mmuwagira.
 
Nalina essuubi okumusisinkana mu September wa 1967, nayitira Bungereza ekiseera ekyo okugenda e Russia, naye Mark Gilbey eyali antuusaayo yansaba mpitire e Tangier (Morroco), n’agaana nga kiyinza okunviiramu obuzibu era saasobola kumusisinkana.
 
Abaganda abaali bakola ku Kitebe kyaffe ekya Uganda e Bungereza baafuna obuzibu bwa maanyi naddala Gerald Nagenda Nsubuga, omu ku baali balabirira abaana b’ehhoma abaali e Bungereza.
 
Ambassador Dr. Solomon Asea eyaddira Timothy Bazarabusa mu bigere, yawa ebiragiro boofiisa b’Ensonga Ezeebweru bonna obutabaako na ngeri yonna gye bakolagana ne Kabaka wadde abantu be.
 
Omuntu omu eyawakanya kino mu lwatu yali Roy Nsereko eyali akola mu kitongole kya Coffee, eyabuuza nti, “ ssinga abeera muntu wange”, n’amuddamu nti bw’ajja mugobe, n’akiwakanya nti tekisoboka.

 Olutalo lwa 1966 mu Lubiri

ENTIKKO y’obukuubagano wakati wa Ssaabaminisita Obote, kabineeti ye, omuduumizi w’amagye ne Pulezidenti Sir Edward Mutesa yaliwo mu February 1966, nga February 22, 1966.
 
Obote yakwata baminisita be bataano nga bali mu Kabineeti e Ntebe n’abasiba, abo baali; Ibingira, Kirya, Ngobi, Lumu ne Magezi, abaali bakulembedde okulwanyisa Obote mu UPC ne mu gavumenti, era baali bamaze okumuggyamu obwesige nga bayita mu palamenti.
 
Bwe yamala okukwata baminisita¸yazzaako eyali omuduumizi w’amagye Brigadier Opolot gwe yasibira mu maka ge.
 
Mu kiseera kye kimu yakwata basajja ba Kabaka ab’amaanyi; James Lutaaya Mukwenda, Olutalo lwa Michael Matovu Pookino ne Ssebanaakitta eyali Ssekiboobo.
 
Olwo ebyo nga biwedde, n’alumba Ssekabaka Mutesa nga May 24, 1966 Lubiri lwe e Mmengo.
 
Ku Ssande May 23, nakeera kugenda Kavumba okuliraana Wakiso okunona emmere, bwe nali nkomawo, nayitira ku luguudo lwa Kabakanjagala akawungeezi.
 
Nneeekanga okusanga, ebimotoka by’amagye nga bisimbye okumpi n’Olubiri. Bwe natuuka e Ntebe gye nasulanga, ziba ziwera ssaawa nga mwenda ez’ettumbi, ne tutandika okuwulira ebibwatuka. Olwo Olubiri baali balulumbye.
 
Enkeera nagenda ku ofiisi z’Ensonga Ezeebweru, era nasanga abantu bangi bajagaladde, awo we twafunira obukakafu nti Olubiri lwali lulumbiddwa.
 
Bangi ku ffe twali banyiivu nnyo, naye nga tetulina bwe tukiraga kuba ofiisi za Obote zaali awo kumpi naffe, nga n’enkiiko ze zaali zigenda mu maaso.
 
Eky’ennaku, mukwano gwange gwe nakolaganga naye , Labani Oyaka eyali ava e Lango, ye yali mu kujaganya, era nga sisobola kumulaga nnaku yange ku byali bigenda mu maaso.
 
Eyo mu ttuntu ng’emmundu zisiriseemu, Oyaka yangamba nti; “Mutesa awedde,” ne mpulira ng’ennaku enzita, yayagala okunsika mu mukono olw’essanyu lye yalina, kyokka ne sigumuwa.
 
Nga waayise akaseera, Obote yayita ababaka ba Uganda mu nsi z’ebweru okubabuulira lwaki Olubiri lwali lulumbiddwa, bye yabagamba ebisinga byali bya bulimba , yabategekera akabaga n’abagabula n’okunywa, era ebifaananyi bya Ssekabaka Mutesa ku kabaga ako ne biwanulwayo mu maka g’Obwapulezidenti ne byonoonebwa.
 
Omubaka wa Uganda e Bungereza Timothy Bazarabusa, yali ava ku kabaga ako nga yeevuga n’ayingirira bbaasi eyali esimbye bwe yali addayo ku Kampalamukadde gye yasulanga.
 
Olwokuba waaliwo Kafuyu, yalabwa nkeera ng’afiiridde mu mmotoka ng’alabika yali atamidde. Abaganda ne bawanuuza nti, okufa kwe kwava ku kwetaba ku mikolo egivvoola Kabaka.
 
Nga bwe yabinyumirizza Vivien Nakitende.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Whatsappimage20191213at212901copy 220x290

Balaze waaka ku mpaka z'emisono...

Balaze waaka ku mukolo gw'okwolesa emisono ogwategekeddwa Abraynz ku Serena Hotel mu Kampala

Steelandtubebyjmutebi2 220x290

'Abakozi mukomye okwemulugunya'...

FAAZA Raymond Kalanzi ow’e kiggo ky’e Kiwamirembe alabudde abakozi abasiiba ku mirimu yonna gye bali nga beemulugunya...

Fanda1 220x290

Eyasuulawo mukyala we emyaka 25...

SSEMAKA eyasuulawo mukyala we ng’afunye omulala akomyewo oluvannyuma lw’emyaka 25 n’amukuba empeta.

Bba 220x290

Kkamera ziraze eyabbye emmotoka...

KKAMERA za poliisi zikutte omusajja omulala ng’abba emmotoka eyabadde esimbiddwa okumpi n’eddwaaliro ly’e Mulago....

Tamalemirundi 220x290

Tamale Mirundi agobye abamulambula...

Mikwano gya Tamale Mirundi betwayogeddeko nabo baategeezezza nti obulwadde Tamale bwamwetamizza abantu era mu bamu...