TOP
  • Home
  • Emboozi
  • MV TEMPLAR; Okujjukira omwaka mulamba kakyanga eryato lino libbira obulamu ne butokomoka

MV TEMPLAR; Okujjukira omwaka mulamba kakyanga eryato lino libbira obulamu ne butokomoka

By Musasi wa Bukedde

Added 25th November 2019

KU Ssande eno, lwe gwaweze omwaka okuva akabenje ddekabusa lwe kaagwa ku nnyanja Nalubaale abantu abasoba mu 30 ne bafiira mu mazzi, famire z’abagenzi ekyatuukawo bagamba bakiraba ng’ekyagguddewo eggulo.

Templar1 703x422

Eryato lya MV Templar nga lisimbye we lyalekebwa oluvannyuma lw'okunnyulua abantu abaalifiirako.

Bya BASASI BAFFE
 
KU Ssande eno, lwe gwaweze omwaka okuva akabenje ddekabusa lwe kaagwa ku nnyanja Nalubaale abantu abasoba mu 30 ne bafiira mu mazzi, famire z’abagenzi ekyatuukawo bagamba bakiraba ng’ekyagguddewo eggulo.

Era bangi bakyali mu maziga n’okukukkuluma kungi. Ddyo eryato lino MV Templar eribalirirwamu obutitimbe bwa ssente n’okutuusa kati likyali ku mwalo era lyongera okukuumira entiisa mu mitima gy’abatuuze n’abalambuzi. 
 
Lwali Lwamukaaga nga November 24, 2018, emiranga, ebiwoobe, okupakuka kw’abavubi nga badduka okutaasa abantu mu mazzi ne bisaanikira okusindogoma

kw’endongo ku Mutima Beach okuliraana omwalo gw’e Buzindeere mu ggombolola y’e Mpatta mu disitulikiti y’e Mukono.
 
Abadigize naddala abagagga b’omu Kampala abaali bagenda okulya obulamu ku K-Palm Beach eyali ey’omugagga Templar Bisase era eyali nnannyini lyato MV Templar kwe baali batambulira abasinga tebaasobola kuva mu mazzi.

 

 rian huck eyali omwolesi wemisono naye yafa Brian Chuck eyali omwolesi w'emisono naye yafa.

 

 
 
Abantu 32 okuli Chuck Brian, Michael Kaddu, Sheila Mbonimpa, abooluganda Sheila Nankunda Kainamura ne Peace Busingye Kainamura, omuvubi John Owetch

eyali agenze okutaasa, Yoweri Musumba, Templar Bisase n’omukyala Sheila Bisase, George Kisitu, Isaac Kayondo baafa.
 

Abalala kwaliko; Arnold Mbuule, John Nyanzi, Richard Musisi, Brian Ndori, Moses Muyanga eyali amanyiddwa ennyo nga Muyenga era eyali nnannyini kkampuni entegesi y’emikolo eya Elite Events, Moses Kijjambu, Ritah Namala, Justine Namayanja, George William Ssenyondo, Paul Ssemakula Mayanja, Fred Mawanda,

Dinah Kanyunyuzi, Esther Namutebi, Fred Mawanda, Paul Nsobya, Tonny Kawuki ne Winnie Kobusingye.

 

 awanda naye yafa Fred Mawanda naye yafa.

  
Famire zaabwe, abasinga bakyagaanyi okubaabiza ennyimbe ate abalala tebaagala wadde okulowooza ku kyatuukawo kye bagamba nti kibongera nnaku ne bwe baba bannyonnyola embeera gye baayitamu essaawa eno, amaziga gabayunguka.

  mugenzi heila bonimpa aliko ka circle ngali ne banne ku lyato lyennyini eryabatta Omugenzi Sheila Mbonimpa (aliko ka circle) ng'ali ne banne ku lyato lyennyini eryabatta.

  
EMMAALI YA KADDU EKYALEEBUUKANYA ABAFFAMIRE

Okuva Michael Kaddu lwe yafa, abaffamire tebatereeranga, emmaali gye yaleka ekyabaleebuukanya era emisango giri mu kkooti. Ssenga wa Kaddu, Janet 
Nabatta ne kitaawe omuto, Ceaser Nsonga baali baagala emmaali edde mu mikono gya ffamire basobole okulabirira bamulekwa ba Kaddu kyokka omwana wa kojja
wa Kaddu gwe yali akola naye, Eva Lubega n’abasimbira ekkuuli.
 

Nabatta ne Nsonga baasooka kugenda ku LC mu Kikuubo ne basaba baweebwe obuyinza ku mmaali eri mu dduuka ku Vinco Arcade ne sitoowa eziri ku kizimbe ekimanyiddwa nga Kabaale byonna ne babiteekako ekkufulu.
 

 mugenzi addu Omugenzi Kaddu

 Kyokka n’akataayi tekaasala, Lubega n’alumba ng’agamba nti, Kaddu mu maduuka yalimu nga mukozi eyali omwesigwa gwe baali batuma wano na wali nga bamwesiga ne ssente ennyingi.

 
Ono yalaga n’entebe eyali mu dduuka gye yagamba nti Kaddu kye kyobugagga kyokka kye yalina mu dduuka.

 
Kino, kyawaliriza abaffamire okuddukira mu kkooti ekola ku nsonga z’amaka e Makindye okwekubira enduulu era emisango gikyagenda mu maaso.

 
Betty Namirembe nnyina wa Kaddu omuto gwe twasanze mu maka ga Kaddu ku kyalo Wamala mu Munisipaali y’e Nansana yagambye nti, embeera ya famire yayonooneka okuva Kaddu lwe yafa.

 
Yagambye nti, abaana ba Kaddu baabagabana abasatu Eva Lubega eyeddiza emmaali n’abatwala ate omulala, yagenda ne nnyina.

 
Nnamwandu Annette Nalugo, yava mu maka n’agenda n’omwana we ng’alaba entalo za famire tajja kuzisobola.

 
Amaka ga Kaddu aga kalina kati kitaawe Isaac Sserunkuuma y’agabeeramu ne Namirembe kyokka nabo eby’emmaali Namirembe yagambye nti, babiwuliza
kuva mu balooya abatambuza omusango.

 
Namirembe yagasseeko nti, famire ya Kaddu etegese okusaba ku Ssande nga November 24, kyokka tekunnakakasibwa watuufu we kugenda kubeera kubanga

abamu baabadde baagala kubeere Bukuya gye yaziikibwa ate ng’abalala baagala kubeere mu maka ge.

 
Olumbe lwa Kaddu nalwo terunnayabizibwa.

 
Ebirala ku Kaddu

 
Ab'oluganda lwa Paul Kaddu eyafiiridde mu mazzi bawanjagidde abadde abanja



 

alt=''



 FAMIRE YA KISITU ETEGESE OKUSABA

Nnamwandu Betty Nankumba yagambye nti, okufa kwa Kisitu bakulaba ng’okwabaddewo eggulo era buli kiseera baba bamujjukira.


Ku Ssande eno, bategese Mmisa ku kyalo Kasasa mu ggombolola y’e Bukulula mu disitulikiti y’e Kalungu.

 NNYINA WA ESTHER NAMUTEBI AKYALI MU MAZIGA

Namutebi yali muwala wa Jane Nakalema omu ku basuubuzi ab’amaanyi mu Kikuubo ku kizimbe White House.


Nakalema agamba nti, kimubeeredde kizibu okwerabira omwana we era buli lw’amujjukira amaziga gamuyunguka.

Nakalema mutuuze w’e Kabojja e Nakawuka era eno, yagambye nti, gye bategese okusaba ku Ssande.


Nnamwandu y’addukanya emmaali ya Musumba


IMELDA Musumba, nnamwandu w’omugenzi Yoweri Musumba bizinensi z’omugenzi kati yaazitambuza. Saul Nyakana Kalwanga omu ku baffamire ya Musumba yagambye nti, tebali mu mbeera mbi wadde nga ekiyongobero ky’okufiirwa omuntu eyali empagi yaabwe kibaawo olumu ne banakuwala.

Yagasseeko nti, omugenzi yaleka abaana 13 era bonna nnamwandu abalabiridde 
bulungi, basoma n’ebyetaago byonna babifuna nga bwe babyetaaga.

Yayongeddeko nti, balina okusaba kwe bategese okwebaza Katonda olw’obulamu bwa Musumba nga November 29 mu maka g’omugenzi e Bwebajja. 

Ate ye Paul Ssembatya Mulundannume ng’ono musuubuzi mu kibuga Kampala yategezezza nti baateekawo olukiiko olukumaakuma ffamire ya Yoweri Musumba
era nga ye ssentebe waalwo. Luliko n’abasuubuzi abalala okuli Peter Ssentale.

 
“Tugezaako okulaba nga buli kimu kitambula bulungi ng’omugenzi bwe yali ng’akyaliwo. Ng’omusubuuzi obeerako ne b’obanja n’abakubanja naye zonna ensonga

za Musumba zino tuzikute bulungi nga tewannabaawo buzibu bwe twafunye, ”Ssembatya bwe yategeezezza.
 

Ebirala ku mugenzi Musumba

 

‘Abantu abaafiira mu lyato batuluma’

DAMALIE Bisase ne gye buli eno akyali mu nnaku olw’okuviibwako mwannyina omu bwati bwe bazaalibwa, Templa Bisase Jr mu kabenje k’eryato k’agamba nti buli lw’akalowooza akaaba.
 

 amalie isase mwannyina wa emplar ngamwogerakko Damalie Bisase mwannyina wa Templar ng'amwogerakko.

 Ono ng’ayogerako ne Bukedde yategeezezza nga bw’atuulawo n’alowooza ne ku famire z’abantu abaafiira ku lyato lino.


“Embeera y’okufiirwa mwannyinnaze ne mukyalawe yampisizza ddala bubi. Ate buli omu eyafiirwa omuntu yamuyisa mu ngeri ndala. Omutima gwange gugenda

eri abantu abo bonna abaafi irwa abantu baabwe ku lyato kubanga obulumi buno bujja kututwala ebbanga okutuva ku bwongo,” Damalie Bisase bw’anyumya. 

 emplar ne ukyala we bombi baafiira ku lyato lyabwe Templar ne Mukyala we bombi baafiira ku lyato lyabwe.

 

EMBEERA Y’ABAANA

Ku ludda lw’abaana, tekibadde kyangu okubamatiza n’ebibuuzo enkumu bye babuuza ng’ate toyagala kubiggyayo.

 
Ng’era bazadde baabwe bwe baali babalabirira naffe tufuba nnyo 
okulaba nga tubibakolera okugeza nga bwe beetaaga okugenda ku ppate nga tuzibakolera.
 
Abaana basoma bulungi era balabirirwa mu ngeri ennungi.

 
Famire ya Templar Bisase n’eya mukyala we bonna bakwatira wamu okulaba nga bakuza bulungi abaana bano. 

 

OKUTANGAAZA:

Damalie agamba nti “Njagala okutereeza ku nsonga y’amawulire agawandiikibwa ng’enjega yaakagwawo bwe baagamba nti nze ne Faridah tetukwatagana nti tukaayanira ebintu by’omugenzi okuli enju n’emmotoka, ekyo si kituufu. Tukolagana bulungi.”

 

 

 

 maka ga ba isase ge baaleka Amaka Amaka ga ba Bisase ge baaleka.

 

 ryato lya ba isase erabbira Eryato lya ba Bisase erabbira.

 

 

 



 Engeri gye twawandiika ku Lyato lya MV Templar

Aba Iso kyebaazudde ku lyato eryatta abantu

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kat18 220x290

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde...

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde abamu ‘essanyu’

Lwe11 220x290

Obugubi abasajja bwe bayitamu olw’okusiiba...

Obugubi abasajja bwe bayitamu olw’okusiiba awaka

Lv1 220x290

Engeri gy’okozesa ekiseera kino...

Engeri gy’okozesa ekiseera kino okunyweza laavu yammwe

Kab19 220x290

Bakubye owa LDU mu kafiyu

Bakubye owa LDU mu kafiyu

Mknmu21 220x290

Ababadde batwala omulambo batuuyanye...

Abatuuze ku kyalo Nassuuti mu munisipaaali y’e Mukono baasitaanye okufuna ebiwandiiko ebitambuza omulambo gwa munnaabwe...