TOP

Omugagga BMK awezezza emyaka 60, alojja bw’asimattuse okufa emirundi 3

By Musasi Wa

Added 7th October 2013

OMUGAGGA Bulayimu Muwanga Kibirige abasinga gwe bamanyi nga BMK ajaguzza okuweza emyaka 60 egy’obukulu ku kabaga ke yakoze mu maka ge agasangibwa ku lw’e Busaabala ng’omukolo gwabaddewo ku Lwokusatu.



 

Bya EDWARD KALUMBA
OMUGAGGA Bulayimu Muwanga Kibirige abasinga gwe bamanyi nga BMK ajaguzza okuweza emyaka 60 egy’obukulu ku kabaga ke yakoze mu maka ge agasangibwa ku lw’e Busaabala ng’omukolo gwabaddewo ku Lwokusatu.

Ku mukolo gwe gumu baasabidde ne nnyina, Allah amuyise mu mbeera y’okujjanjabibwa kw’agendako e Bangkok, Thailand obulwadde bw’omugongo. BMK yagambye nti okutuuka w’ali kati ekkubo teribadde lya museetwe.

Hajji Musa Katongole (ku kkono) yamutonedde ente ng’ekirabo ky’amazaalibwa anywemu amata.

BMK Y’ANI?
Hajji Bulayimu Muwanga Kibirige y’omu ku bagagga mu Kampala nga ye nnannyini kkampuni eyitibwa BMK Group of companies erina amatabi mu Zambia ne Tanzania. Ye nnanyini Hotel Africana ng’alina n’ebyobugaga ebirala.

Yazaalibwa October 2, 1953. Kitaawe ye mugenzi Ali Kibirige ate nnyina ye Mariam Naiga Kibirige.

Yakulira Butambala ewa ssengaawe Keevina eyali Omukatoliki ng’ono teyalina mwana yenna.

Yatandiikiriza obusuubuzi obutonotono. Oluvannyuma yeegatta ku kitaawe n’agenda mu maaso n’obusuubuzi bwa kasooli n’ebirime ebirala.

Agamba: “1970 gwansanga nfunye obumanyirivu mu mulimu guno era nga ntandise n’okufuna ku busente obw’ekivubuka.

Abamu ku baana ba BMK nga boogera ku kabaga.

Mu 1971, waliwo munnange omu, Abdu Ssozi mu kiseera ekyo eyali yajja edda e Kampala eyampa amagezi okuyingira Kampala. (BMK yawadde Ssozi Hijja olw’okumwebaza).  Namalirira okuva mu kyalo era bakadde bange saabasiibula.

Mu kiseera kino eyali Pulezidenti, Amin we yagobera Abayindi mu mbeera eno omukisa gw’okukola naddala obusuubuzi gwaliwo nnyo.

Natandika okusuubula e Nairobi nga ng’endera mu bbaasi. Ssente nazikola ekyansobozesa n’okugula ekifo e Kansanga.

Mu 1976 ku myaka 23, nazimba ennyumba yange eyasooka. Era naggulawo n’amaduuka abiri mu Nairobi. Nalinnya ennyonyi omulundi gwange ogwasooka mu 1974 okugenda okusuubula.

 BMK ne nnyina, Hajjati Mariam Kibirige (wakati).

Mu 1986 naggulawo kkampuni ya BMK Group of Companies.
Bwe byatambula obulungi, mu 1992 natandika okusuu¬bula mmotoka. Ssente bwe zaawera kwe kugula ekifo n’okuzimba Hotel Africana.

Erinnya naliggya ku kawoo¬teeri mwe nasulanga ne bannange nga tukakkalabya emirimu gyaffe mu kibuga Nairobi”, Hajji Kibirige bw’ayogera ku bulamu bwe.

EBIZIBU BY’AYISEEMU
1. 2013: Emyezi esatu egiyise yalwadde nnyo n’atuuka n’okuzirika. Kyava ku mukka okisijeni (oxygen) okukendeera mu kisenge mwe yali.

2 1995: Yagwa ku kabenje bwe yali avuga mmotoka okuva e Nairobi akaamumenya amagulu ne batuuka n’okumuteekamu ebyuma.

3.1993: Poliisi y’e Nairobi yamukwata n’emuteeka mu kkomera oluvannyuma lwa muganziwe okwetta. Lipoota y’abasawo ye yamwejjeereza bwe baazuula nga yetta bwessi.

BMK (ku ddyo) n’abamu ku bantu be yatandika nabo emirimu gy’obusuubuzi.

4 .1992: Ku kisaawe ky’ennyonyi e Hong Kong baamubbako bulifukeesi omwali ssente zonna ze yali agenze okusuubuza. Ssente ezaamukomyawo kuno banywanyi be baamusondera nsondere.

5 .Baamukwatako ne ku mulembe gwa Obote nga bamuvunaana ogw’obuyeekera.

6 .1973: Yagwa ku kabenje mmotoka mwe yali atambulira n’eggwaawo kyokka n’awona.

BY’AKOZE
Azimbye amasomero agawera, Emizikiti, Kkanisa ne Klezia. Kuno kw’agasse okuweerera abaana abatali bamu.

Yawa Abasiraamu ekifo we baziika ekisangibwa e Nkoowe mu Wakiso. Alina abaana n’abazzukulu wamu n’abakyala babiri.

Wooteri ye Africana ya BMK.

Omugagga BMK awezezza emyaka 60, alojja bw’asimattuse okufa emirundi 3

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omwanangaluaekikajjyo11webuse 220x290

Endabirira y'amannyo g'omwana eneegakuuma...

Okuziyiza amannyo g'omwana okulwala mu bukulu otandika mu buto okugayonja n'okugajjanjaba.

Katereggangalagaapozatundawebuse 220x290

Okutunda apo nkuguzeemu embuzi...

Nasooka kusiika capati e Iganga ne nzija e Kampala okutunda apo mwe nfuna 200,000/- omwezi era nguzeemu embuzi...

Sserunkuuma2webuse 220x290

Ebbumba eryenyinyalwa abasinga...

Bulikye mmumba nkijjuukirirako maama eyambeererawo mu bulamu kyokka n'atabaawo kugabana ku ntuuyo ze.

Kap2 220x290

Agambibwa okusobya ku w’emyaka...

Agambibwa okusobya ku w’emyaka 78 bamulagidde yeewozeeko

Muv1 220x290

Ebizibu ebizze bigwa e Rakai ebitalyerabirwa...

Ebizibu ebizze bigwa e Rakai ebitalyerabirwa Kennedy Kyakuwa