TOP
  • Home
  • Bukedde Ku Ssande
  • Phillip Kaggwa ayamba abantu okunoonya ababeezi ku Bukedde Tv naye bamunoonyezza ne bamufuna-Bamututte

Phillip Kaggwa ayamba abantu okunoonya ababeezi ku Bukedde Tv naye bamunoonyezza ne bamufuna-Bamututte

By Musasi Wa

Added 23rd August 2015

ABATUUZE b’e Kiwenda mu ggombolola y''e Busukuma mu Disituliki y''e Wakiso beeyiye mu maka ga Steven Nakabaale Kikabi okulaba Philip Kaggwa akola pulogulaamu y''Abanoonya ku Bukedde TV ng''ayanjulwa mwana munne, Doreen Nantongo omusuubuzi ku Majestic.

2015 8largeimg223 aug 2015 122555080 703x422

Bya MOSES LEMISA

ABATUUZE b’e Kiwenda mu ggombolola y'e Busukuma mu Disituliki y'e Wakiso beeyiye mu maka ga Steven Nakabaale Kikabi okulaba Philip Kaggwa akola pulogulaamu y'Abanoonya ku Bukedde TV ng'ayanjulwa mwana munne, Doreen Nantongo omusuubuzi ku Majestic.

Tereera nkulase: Kaggwa ng’akuba mukyala we ekifaananyi ku mukolo gwabwe.

Abazadde baasiimye Kaggwa olw'okubuusa abawala b’akolamu ng'abanoonyeza ababeezi n’atwala muwala waabwe. Abako abaasobye mu 50 be baawerekeddeko Kaggwa. Nantongo yakakasizza abagenyi nti Kaggwa amwagala kuba mwesimbu.

Kaggwa yakwasizza omuko, Hamzah Ssegawa enkoko n’ekkanzu olwo Ssegawa n’amutegeeza nga bw’amuwadde mwan¬nyina mu butongole.

Hajjat Hadijah Nabukenya owa Bukedde TV ng’abuuza ku bagole

Kaggwa abazadde yabatwalidde ebirabo okwabadde entebe, ente, dikooda n'ebirala bingi. Ku baawerekedde Kaggwa kwabaddeko bakozi banne mu lupapula lwa Bukedde, Bukedde TV ne Bukedde FaMa Embuutikizi.

Taata w’omuwala mu ntebe Kaggwa gye yamutonedde

Abalala kwabaddeko Rev. Canon Wilberforce Naphtali Kabanda ow’e Mper¬erwe, omubaka Latif Ssebaggala, Maama Lususu, Haji Musa Ssen¬nabulya akulira abatemi b'ennyama mu Kam¬pala n'alabala. Omukolo gwabaddewo ku Ssande ewedde

 

Phillip Kaggwa ayamba abantu okunoonya ababeezi ku Bukedde Tv naye bamunoonyeza ne bamufuna

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

No Matching Document

Emboozi endala

Ras22 220x290

Bakitunzi ba Rashford bamutaddeko...

Rashord, 21, yava mu akademi ya ManU okwegatta ku ManU kyokka waliwo ebigambibwa nti Barcelona emuperereza.

Barnabasnawangwe703422 220x290

Makerere University esabye Gav't...

YUNIVASITE y’e Makerere esabye gavumenti egyongere obuwumbi 47 ziyambe mu kukola ku by’okusasula emisaala gy’abakozi...

29243df2f7bc3e5c325b36c37a17a53dc8cb3ab9 220x290

Eyali Pulezidenti yeekubye essasi...

EYALI Pulezidenti wa Peru, Alan García 69, yeekubye essasi ne yetta poliisi bw’ebadde egenda okumukwata ng’emuvunaana...

Pros 220x290

Gavt. ereeta etteeka ku mobile...

GAVANA wa Bbanka Enkulu mu Uganda, Emanuel Tumusiime Mutebile agambye nti, Gavumenti egenda kuleeta etteeka ku...

Cardinal 220x290

Kalidinaali Wamala ayogedde ku...

KALIDINAALI Emmanuel Wamala ayogedde ku mbeera y’obulamu bwe n’ategeeza nti, talina kimuluma kyonna okuggyako obukadde....