TOP

Ekijjulo kya Paasika kawoomera kiikino

By Musasi Wa

Added 1st April 2012

EBULA ennaku musanvu zokka tutuuke ku lunaku lw’Amazuukira ga Mukama waffe Yesu Kristu.

2012 4largeimg201 apr 2012 100840207 703x422

Bya FAITH NAKANWAGI

EBULA ennaku musanvu zokka tutuuke ku lunaku lw’Amazuukira ga Mukama waffe Yesu Kristu. Olunaku luno abantu bangi abakkiririza mu Kristu balwesunga nnyo era bangi basinga kulowooza ku kiki kye bayinza okufumbira ab’omu maka gaabwe ne basobola okuyita mu lunaku luno nga basanyufu.

Mukyala Christine Nankya asangibwa e Kireka ku kidda e Namboole nga ye nnannyini Nassanga Restaurant, (erya Nassanga lya jjajjaawe) agamba nti ekijjulo kya Pasika olina kukitandika ku makya era nga kiba kirungi abantu bo n’obafumbira ekyenkya nga kya katogo k’amatooke akalimu ennyama.

Ennyama eno eneegenda mu matooke olina okugifumbako ekiro esobole okuggya obulungi era amatooke bwe gaba gayidde bulungi, giyiweemu oluvannyuma teekamu ebirungo omuli obutungulu, ennyaanya, kaloti, Green pepper, Royco n’akanzaali akatonotono.

Ennyama gy’otadde mu minwe bw’eba nsava, ebirungo bino tobisiika na butto. Oluvannyuma gabula ab’omu maka go ng’obaweereddeko ne caayi. Ng’abantu bavudde ku Kkanisa, sooka obaweeyo akatunda akakamule obulungi nga bw’oteekateeka ekijjulo kyaffe.

Bafumbireyo ku luwombo Wabula Mukyala Nankya agamba nti ku mulundi guno, ab’omu maka go bafumbireyo ku luwombo ng’ekintu eky’enjawulo ekitali kya bulijjo n’olunaku lusobole okubabeerera olw’enjawulo.’ Oluwombo luno ng’onoolufumba olina okugobererera bino:

Funa olulagala oluto nga temuli kituli oluyisseeko ku mulirong’okozesa essanja oluvannyuma luggyeemu omuzing’oonyo n’obwegendereza.

Bw’omala, funayo akagoye akayonjo oyise ku lulagala luno okusobola okuggyamu akasu k’omukka.
Olulagala luno luteeke mu kibbo era salako akatundu oketeeke wakati waalwo okwewala okuyulika.

Bwe luba lwa kinyeebwa, muno ssaamu katungulu kokka ne ka green pepper wabula otuzzi tupime nga tutono oluvannyuma lusibeeko waggulu akaaayi luleme kuyiika.

Oluwombo bwe luba lwa nnyama oba nkoko, sekula katunguluccumu, ng’ali wamu n’akatungulu aka bulijjo, ennyaanya, akanzaali, Royco, kkaloti ne green pepper wabula byonna okola bya kigero toyitiriza. Kyokka teweerabira kusooka kukalirira kanyama k’onossa mu luwombo kasobole okuwoomera abali.

Bw’omala, funa entamu mw’onoolufumbira osseemu emizing’oonyo osseeko n’olulagala lusobozese empombo zino obutayingiramu mazzi. Empombo zino zifumbire ekiseera kya ssaawa bbiri zisobole okuggya obulungi.

Ekijjulo kya Paasika kawoomera kiikino

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Liv1 220x290

Ssente za Pulezidenti zitabudde...

Ssente za Pulezidenti zitabudde aba taxi b’e Kamwokya.

Jip1 220x290

Ekyabadde mu kutuuza Bisopu w'Abasodokisi...

Ekyabadde mu kutuuza Bisopu w'Abasodokisi e Gulu

Mot2 220x290

Muganda wa Ssemwanga naye bamukutte...

Muganda wa Ssemwanga naye bamukutte ku by’okufera ssente

Pak2 220x290

Mike Mutebi ne Misagga bandibonerezebwa...

Mike Mutebi ne Misagga bandibonerezebwa

Web2 220x290

Ne mu kusoomoozebwa tewava ku Katonda...

Ne mu kusoomoozebwa tewava ku Katonda