TOP

Ennyama ngula kisambi nsasule gye saalya mu buto- Pasita Sserwadda

By Musasi Wa

Added 8th April 2012

Omusumba w’abalokole owa Victory mu Ndeeba, Joseph Sserwadda awuniikirizza ab’e Jinja bw’abategeezezza nga bw’atasobola kusekerera balwala nvunza kubanga naye zaamuluma.

2012 4largeimg208 apr 2012 081814327 703x422

Bya Tonny Nsoona

Omusumba w’abalokole owa Victory mu Ndeeba,  Joseph Sserwadda awuniikirizza ab’e Jinja bw’abategeezezza nga bw’atasobola kusekerera balwala nvunza kubanga naye zaamuluma.

Bino  yabyogedde mu bujulizi bwe mu lukung’aana  lw’enjiri  olwatuumiddwa ‘Operation  Phillip’, olumaze wiiki bbiri nga lubumbujjira mu kisaawe kya Mainstreet e Jinja.

Dr. Sserwadda yategeezezza nga ye bw’atasobola  kuvuma  yadde okuyeeyereza Abasoga  nti baalwala envunza, kubanga  kumpi    buli  omu yazirwala mu buto, nga ye engatto  baazimugulira atuuse mu siniya esooka.

Enjiri ya  Dr. Sserwadda  abantu  yabakutte  omubabiro, bwe yagasseeko nti yasula akukunadde nga lumonde mu kikata, lwe baamutwala mu kibuga okumugulira  engatto  ew’Omuyindi, wabula katono  akaabireyo  ekigere  ekimu  bwe kyapimibwa nga kya sayizi 5 ate ekirala nga kya sayizi 6.

Agamba nti kino kyava  ku kubeera  nti  yali muzannyi wa mupiira nga buli  lwe baabanga bagenda okuzannya  ng’ebigere  ebya  ddyo babinyogootola n’okubisika.

Yategeezezza nti omupiira katono  gumulemese  okwambala engatto anti kyali kimwetaagisa okugula  emigogo 2, afunemu gumu, nga kitaawe  tasobola kukikkiriza.

Wabula eyamununula ye Muyindi eyali omukujjukujju, eyasalawo engatto bagule  zimupimiddwaako  mu 1967, ng’ayingira siniya esooka e Kalungu. Kyokka kati agamba nti ebigere byatereera.

“Ennaku zino buli lwe nsanga engatto ennungi ngigula kubanga  nava wala nnyo.  Ekirala ewaffe,  ennyama  twagiryangamu  emirundi  2  mu mwaka, ng’eriibwa ku Ssekukkulu ne Paasika, oluusi n’Olusooka omwaka,” Dr. Sserwadda bw’anyumya.

Yayongeddeko nti: ‘’Nneewuunya  abantu b’ennaku zino, abagamba  nti ennyama erwaza, abamu  bagiridde mu bukulu nga beesobola olwo egenda  kubalwaza etya?” bwe yabuuzizza.  Dr. Sserwadda agamba  nti  ennaku  zino  okwesasuza ebiseera ebyayita,  buli  lw’asanga ennyama  ennungi  agula kisambi oba  lubiriizi kubanga by’ayiseemu bingi ddala, takyetaaga kwerumya.

Yakubirizza  Abakristaayo okunyweerera mu Bulokole  nga bwe bayamba n’abantu abali mu bwetaavu wadde olumu babeera tebalina kimala nti  kubanga   lumu Mukama Katonda  agenda kubaanukula  balye ku bibala byabwe.

Yawadde ekyokulabirako  eky’Abazungu  abaali  bakyalidde Bp. Makumbi, gwe baasanga taliiyo kyokka ne bagenda mu lukung’aana lw’enjiri, agamba  nti  wadde teyalina  nsimbi  yakozesa bye yalina  ebitono  n’ababeezaawo ennaku essatu  ne baddayo  ewaabwe. “Mu kugenda ku kisaawe ky’ennyonyi, omu ku Bazungu bano, yanziza ku bbali, n’ampa bbaasa nga bw’ang’amba nti  ensimbi ze baalisaasaanyizza mu wooteeri okumala ennaku 3, basazeewo  okuzimpa kubanga nze nabalabirira.

Ensimbi zino zaali doola 2,000 era naziwa munywanyi wange n’agenda nazo ebweru  n’anguliramu mmotoka ey’ebbeeyi mu kiseera ekyo. Kyokka okuzituusa awaka e Bugolobi gye twabeeranga lwali lutalo anti ku mulembe gwa Idi Amin, nga kimenya mateeka okubeera ne doola,” Sserwadda bwe yategeezezza abaabadde mu lukung’aana.

Ennyama ngula kisambi nsasule gye saalya mu buto- Pasita Sserwadda

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lab2 220x290

Engeri gy’olina okwewala okuferebwa...

Engeri gy’olina okwewala okuferebwa ku ttaka n’okufi irwa ebyobugagga byo

Hab1 220x290

Taata n’omwana bafudde lumu;Omu...

Taata n’omwana bafudde lumu;Omu bamuziise mu ntaana ya People power omulala mu ya NRM

Kab1 220x290

Dokita eyabuze akwasizza omusawo...

Dokita eyabuze akwasizza omusawo

Broronnie1 220x290

Bro. `Ronnie Mabakai alagudde bannabyabufuzi:...

OMUSUMBA Ronnie Mabakai owa ETM Church esangibwa ku Salama Road e Makindye ne Holy City e Bwerenga azzeemu okulagula...

Komerera4webuse 220x290

Abaana bazannye okufa kwa Yesu...

Abaana bazannya olugendo lw'okufa kwa Yesu ne beewuunyisa abantu e Masajja