TOP

Mukyala wange yafa anfunidde omukazi gwe mba mpasa - Rev. Kabanda

By Musasi Wa

Added 15th April 2012

YALI ku ndiri ng’alinze kufa oluvannyuma lw’abasawo okumugamba nti kkansa yali amumazeeyo era takyalina ssuubi lya kuwona. Kyokka nga tannalowooza ku gy’alaga Anna Kabanda yasooka kulowooza ku bw’agenda okuleka omwagalwa we, n’abaana omunaana be baali bazadde.

2012 4largeimg215 apr 2012 094435513 703x422

Bya KIZITO MUSOKE

YALI ku ndiri ng’alinze kufa oluvannyuma lw’abasawo okumugamba nti kkansa yali amumazeeyo era takyalina ssuubi lya kuwona. Kyokka nga tannalowooza ku gy’alaga Anna Kabanda yasooka kulowooza ku bw’agenda okuleka omwagalwa we, n’abaana omunaana be baali bazadde.

Wano ku ndiri we yasinziira n’alabira bba omukazi ow’okuwasa anaamuddira mu bigere nga ye amaze okufa. Yamulabira mwana wa mwannyina. Rev. Canon Naphtal Kabanda (55) ow’ekkanisa ya St. Stephen e Mpereerwe bw’akunyumiza gye nvudde w’obulamu bwe nga mukaziwe eyasooka bwe yamukwanira omukazi gw’alina kati onyeenya n’omutwe.

Agamba nti mukyala we eyamufaako yaleka amulaamidde omukyala ow’okuwasa era naye n’atuukiriza eddaame n’amuwasa nga n’okutuusa leero teyejjusa Abinyumya bwati:

‘Bwe namaliriza okusoma natandikirawo nokusomesa era natandikira Bbaale C/U mu Luweero era eno gye nasisinkanira mukyala wange eyasooka, Anna Kabanda nga naye yali musomesa. Oluvannyuma naddayo ne nsoma obusomesa bwa guleedi eyookusatu e Gaba, era ng’eno essira nasinga kuliteeka mu bya kuyimba. Bwe namaliriza bansindika e Kyankowe ne nfuulibwa omukulu w’essomero.

Nakyusibwa oluvannyuma ne ntwalibwa e Kalangaalo Primary school era ebiseera ebyo byali bya ntalo ng’amasomero agasinga maggale era twalina abayizi abasukka mu 1,800 mu ssomero. Wano we nasinziira ne mpita olukiiko lw’essomero ne mbaguza ekirowoozo ky’okutandikawo essomero lya sekendule abaana ababeera bamalirizza pulayimale basobole okusomeramu. Gye nava ne nzira e Mityana Junior.

NFUNA EKIROOTO KY’OKUWEEREZA KATONDA
Mba ndi e Mityana, Omulabirizi Yokana Mukasa we yandabira n’ansaba ampeereze e Mukono nsome obuweereza, kyokka kino nakigaanirawo nga mmanyi nti bannaddiini bafuna omusaala mutono ate nga nze nalina omulimu ogunsasula ssente ezeegasa.

Lumu mu 1988, Omulabirizi Mukasa yanziramu n’antegeeza nti oba nagaana okubeera Omwawule, kale annonze okukulira akakiiko akagenda okusunsula abagenda okusoma Obwawule. Nali ng’aana n’antegeeza nti waaliwo Abaawule abaali bajja okunnyamba okukola omulimu, guno, bwe nawulira kino ne nzikiriza.

Mu mwaka gumu, buli Mulabirizi lwe yansanganga ng’antegeeza nga bwe nagaana okusoma obwa Levirandi. Mukyala wange Anna ye yampa amaanyi bwe yantegeeza nti ng’ende nsome, kuba ye yali w’ali aja kukola okulaba nti tusobola okuyimirirawo ku musaala gwe.

Omulabirizi yantegeeza nga bw’ayagala nsome diguli y’ebyeddiini e Mukono, ne ng’amba nti nze atasomangako haaya! Nakola ebigezo by’abakulu era bigenda okudda nga mbiyise.

Mba naakatandika okusoma, mukyala wange n’alwala kkansa wa nnabaana, era bwe twamutwala mu ddwaaliro e Mulago okumujjanjaba teyasobola kuwona, bwatyo n’agwa ku ndiri n’andekera ezzadde lya baana munaana, be nalina okulabirira, ate nga nange bwe nsoma.

MUKYALA WANGE ANDEKERA EKIRAAMO
Omukyala bwe yalaba ng’obulwadde bumunywezezza era ng’akakasizza nti tagenda kuwona, yampita n’antegeeza nti waliwo omuwala gwe yandyagadde adde mu bufumbo bwe, ye ng’avudde mu nsi.

Omuwala ono yali mwana wa mwannyina, ng’amuyita ssenga. Bwe namubuuza engeri gye kinaasoboka, yantegeeza kimu nti ggwe kkiriza ebisigadde obindekere.

Nakkiriza era naye n’atandika okubikolako. Ng’ali ku ndiri yasobola okusisinkana muwala we ono Damalie Mbabazi n’amutegeeza awamu n’abeekika kye nga bw’amwagala anfumbirwe adde mu bigere bye ye ng’afudde.

Waayita akaseera katono n’afa era bwe twali twabya olumbe omuwala ono eyali asoma obusomesa mu mwaka gwe ogwokubiri ku Shimon TTC, baamuteekako ng’omusika, era ne bamunkwasa nange ne mmuwasa.

Ku baana omunaana mukyala wange be yali azadde, Mukama yatuyamba ne tugattako basatu abalala, era ng’abaana baffe bonna mukyala wange abakuzizza bulungi nnyo.

BANGOBA MU NJU E MITYANA
Mukyala wange bw’amala okufa, ab’essomero lya Mityana Junior bangoba mu nnyumba, nga baagala kugiwa omukulu w’essomero omulala.

Ekiseera kino kyali kizibu nnyo gye ndi, kuba nali nkyasoma bunnaddiini, sirina maka waakuteeka baana ate nga n’abadde n’omulimu afudde, nalowooza eky’okukola ne kimbula.

Eyali akulira ettendekero ly’e Mukono, Omulabirizi Maali bwe yawulira ebintuuseeko, n’asalawo okumpa enju ya bwereere mwe mba mbeera n’abaana bange okutuusa lwe ndimaliriza emisomo.

Eyali akulira essomero lya Bishop’s West Primary School, Elijah Lubwama yang’amba mmuwe abaana bonna basomere bwereere, ate muganda wange James Walakira n’abagulira ebitabo, nze ne mba nga nsigalidde ekintu kimu kya kugula yunifoomu na kubaliisa.

Bwe namaliriza emisomo ne mpereeza mu bifo ebyenjawulo omuli Ndeeba mu Bugerere, ku Bulabirizi bw’e Mukono, Bulabirizi bwa Central Buganda Diocese, West Buganda Diocese, e Masuliita era nga kati ndi mu Busabadinkoni bw’e Mpereerwe ku kkanisa ya St. Stephen.

ABAANA BANGE
Mukama ampadde ezzadde lya baana abawerako okuli: Herbert Yawe akola ku laadiyo Star, Jennifer Kabanda munnakatemba wa Afri Talent, Henry Kabanda (Henriko) owa Bukedde F.M , Jjuliet Bukirwa ali mu Canada, Jerome Makumbi akola ku yunivasite ya UCU e Mukono, Anitah Nantume (musuubuzi), Sarah Namukwaya amanyiddwa nga G-snake (muyimbi), Simon
Semitego, Richard Mukwaya, Rachael Nabbanja, Michael Aligaweesa ne Ndyemanya

Mukyala wange yafa anfunidde omukazi gwe mba mpasa - Rev. Kabanda

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mathiaskatamba 220x290

Katamba alondeddwa ku bwassentebe...

Katamba alondeddwa ku bwassentebe bwa Uganda Bankers Association

Multi10 220x290

Aba Multiplex bazzeemu okukola...

Aba Multiplex bazzeemu okukola lisiiti ne zinyooka

Ken1 220x290

Sipiika alagidde ministry ya Foreign...

Sipiika alagidde ministry ya Foreign affairs okuyamba Kenzo akomewo eka

Jud1 220x290

Jude Color Solution ekakasiddwa...

Jude Color Solution ekakasiddwa okufulumya masks

Images 220x290

Biibino ebibuuzo ebikyebuuzibwa...

Abantu abakwatibwa bajjanjabibwa kumala bbanga ki okuwona? Kisinziira engeri obulwadde buno gye bubeera bukukosezzaamu....