TOP

Ayokezza mutoowe gw’ateebereza okumwagalira omusajja

By Musasi Wa

Added 6th May 2012

OMUKAZI ow’obuggya ayokezza mutoowe olweje lw’amazzi mu mugongo bw’amuteeberezza okumwagalira omusajja.

Bya Faith Nakanwagi

OMUKAZI ow’obuggya ayokezza mutoowe olweje lw’amazzi mu mugongo bw’amuteeberezza okumwagalira omusajja.

Nnaalongo Muwajjuma omutuuze w’e Bweyogerere - Kakajjo, y’avudde mu mbeera n’ayokya Hadijja Nankya gw’agamba nti aludde nga yeeseseza ku bba ate nga yamulootako lumu nga bali mu mukwano.

Bano basangiddwa ku Poliisi e Bweyogerere mu ofiisi y’akulira ensonga z’amaka n’abaana, Cissy Namukasa.

Hadijah: Ofiisa, baaba anjokezza omugongo gwonna naye annanze bwemage kubanga omusajja gw’ansibako simwagalangako.

Muwajjuma: Hadijah mmaze ebbanga nga mmulondoola era ne mmulabula alekeere awo okweseseza ku baze naye kyamulema okukola.

Hadijah: Baaba bwe yatandika okumpaayiriza ne mmuviira awaka era ne ng’enda ewa baaba waffe omulenzi.

Muwajjuma: Waliwo lwe nakyala mu kyalo ne bantegeeza nti Hadijja yajja n’ayoza engoye za baze, ate nfuna n’ebirooto ebiragira ddala nti ayagala baze.

Hadijah: Baaba ampaayiriza kubanga bba yankubira essimu ng’ende mmwoleze engoye ne ng’aana. Nneewuunyizza baaba okunkuba, yasoose kungwa mu bulago n’annuma oluvannyuma n’anjiira amazzi ge yaggye ku ssigiri.

Ofiisa: Muwajjuma tugenda kukusiba kubanga n’ekikolwa kye wakoze kya butemu ate naawe Hadijah oba obadde oyagala bba wa munno muveeko ofune owuwo kubanga abasajja bangi ate ekirala okyasoma, sooka omalirize emisomo gyo olyoke otandike eby’abasajja.

 

Hadijah gwe bookezza (mu katono bw’afaanana)

Ayokezza mutoowe gw’ateebereza okumwagalira omusajja

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Dham 220x290

Embeera y’omubaka Dhamuzungu yeetaga...

Omubaka Dhamuzungu asimattuse okufiira mu kabenje k’e mmotoka, embeera ye yeetaga kusabira.

Aidslogo 220x290

Najeemera ebiragiro by’abasawo...

Asiah Tusingwire mulwadde wamukenenya. Yejjusa lwaki teyagoberera basawo kye baamugamba eky’okumira eddagala okusobola...

Muddo1 220x290

Okulunda kugatteko okulima omuddo...

Asiimwe ye nnannyini ffaamu ya Itungo Farm esan­gibwa ku kyalo Kyoga mu Wakiso ng’etudde ku yiika ssatu n’ekitundu...

Lusuku1 220x290

Endabirira y’olusuku mu biseera...

OLUVANNYUMA lw’okukozesebwa ebbanga eriwerako nga sirina kye nganyuddwaamu nabivaako ne mpangisa ekibanja ne nnima...

Nucafe 220x290

Abalimi b’emmwaanyi babakuutidde...

KAWEEFUBE w’okutumbula okulima emmwaanyi mu ggwanga aba aBi bakwatagangye n’ekibiina ekigatta abalimi b’emmwaanyi...