TOP

‘Emyaka ebiri mu kkomera gikyusizza obulamu bwange’

By Musasi Wa

Added 27th May 2012

OMU ku bavubuka abeejjerezeddwa mu by’e Bugerere, abantu bwe beekalakaasa olwa Kattikiro okugaanibwa okugenda e Bugerere emyaka ebiri n’emyezi omusanvu by’amaze mu kkomera na kati anoonya w’atandikira wakyamubuze.

2012 5largeimg227 may 2012 111715920 703x422

Bya ROGERS KIBIRIGE

OMU ku bavubuka abeejjerezeddwa mu by’e Bugerere, abantu bwe beekalakaasa olwa Kattikiro okugaanibwa okugenda e Bugerere emyaka ebiri n’emyezi omusanvu by’amaze mu kkomera na kati anoonya w’atandikira wakyamubuze. 

PAUL KIKULWE (34) ow’e Ssumbwe era nga ye yali omwami w’omuluka gw’e Nakabugo ne Ssumbwe e Wakiso, olutabaalo alunyumya bw’ati: 

Nagenze okuva e Luzira nga nfuuse mulema era kati ntambulira ku muggo. Nafuna obukosefu mu mugongo ne nsannyalala okuva mu kiwato okutuuka ku bigere, sisobola kunywa caayi oba mmere eyokya olw’amannyo okunnyenyera. 

Pikipiki zange bbiri nasanze zaatalagga ate ng’eyali mu Ndeeba baagala za paakingi ze sirina kuba n’omulimu sikyalina. 

Nagenze okutuuka awaka nabbubi ye yannyanirizza ate kyo ekibanja nga baliraanwa baakiwambako ekitundu era kati tuli mu nkaayana za ttaka. 

Okusibwa kwange mu kkomera e Luzira kwali kupange era nga kyakolebwa bannabyabufuzi abeeyambisa omukisa gw’ebikwekweto ebyali bikolebwa ebitongole ebikuumaddembe oluvannyuma lw’okwekalakaasa okwali mu Buganda.

NKWATIBWA

Nga wayise ennaku nnya okwekalakaasa nga kuwedde, nali mu bannange e Bulaga ku lw’e Mityana ssaawa nga 2:00 ez’ekiro ne wajja abaamagye n’abapoliisi ne bampita nga bansaba mbayabe.

Bannyingiza mmotoka ya buyonjo ne bantwala ku poliisi ya Bulenga Support. Bannyongerayo ku poliisi e Nateete mu kifo kya poliisi y’e Wakiso etwala Bulenga.

E Nateete gye bantegeereza nti bankutte lwa kwetaba mu kwekalakaasa. Nababuuza nti, ‘Nze omuntu eyali akola emirimu gyange kwolwo nga n’ebyokwekalakaasa nawulira biwulire kiki ekyali kinkwasa?

BATUTWALA E MAKINDYE

Baatwongerayo ku poliisi y’e Katwe gye twaggyibwa okutwalibwa e Makindye ng’eno twamala ennaku nga tebatuwa mmere. Twatwalibwa mu kkooti y’omulamuzi gwe nzijukirako erya Namagembe e Makindye ne batusomera ogw’obutujju era n’atusindika ku limanda mu kkomera e Luzira gye nkulungudde emyaka esatu.

TUTUUKA E LUZIRA

Nga tutuuse e Luzira, twasanga ng’endya ya bizibu olw’abasibe abangi. Obuugi tubunywa ku ssaawa 1:00 ate akawunga leero bwe mukafuna ku ssaawa 2:00 olunaku oluddako mukafuna ssaawa 8:00.

Baasookanga kutuwa ssupu wa bijanjaalo ng’owuutamu lumu ate nga byo ebijanjaalo tebiweza na lubatu naye we tuviiriddeyo ng’ebyendya bitandase okulongooka. 

Engeri ensimbi gye zitakkirizibwa Luzira, ebintu bye bikozesebwa okugeza akatundu ka sabbuuni kagula toosi y’akawunga emu.

Ate bwe gutuuka ku nneeyisa, eri wajjudde empisa ensiwuufu engeri gye lirimu abantu ab’enjawulo nga muno mulimu ababba ebintu bya bannaabwe abalwana n’ebirala. Ku ky’okusinza, buli ddiini eweebwa omwagaanya okutendereza Omutonzi.

MUKA KIKULWE ALOMBOJJA

Mukyala wa Kikulwe, Lydia Nassimbwa agamba: Bannange ntobye n’ensi omwami w’atabeereddeewo nga nnina okulabirira abaana baffe n’okulambula omusibe mu kkomera e Luzira. 

Baze we baamusibira nali nkola ku ssomero lya St. Martin day and boarding P/S erisangibwa e Kisaasi ate nga nsoma ku yunivaasite e Kyambogo mu mwaka ogusooka.

Najjula ebirowoozo kata okusoma nkuveeko nsobole okulabirira abaana naye bakama bange bang’umya ne bakkiriza n’abaana bange okusomera obwereere okutuusa lwe navaayo ne nfuna omulimu ku Lubiri Nabagereka P/s gye nkola kati. 

Mu maka gaffe natya okubeerayo nga ng’amba nti nange osanga abaakutte baze banannona. Abaana baatandika okummanja kitaabwe okutuusa lwe nabatwala mu kkomera e Luzira ne bamulabako era buli lwe mbadde ng’endayo nga ng’enda nabo. 

Nasooka ne mba n’essuubi nti osanga baze yali waakuteebwa mangu kyokka ng’enda okulaba ng’ebbanga ligenderera byonna ne mbikwasa Mukama ang’umizza okutuusa lwe bamuyimbudde ne tudda mu maka gaffe.


‘Emyaka ebiri mu kkomera gikyusizza obulamu bwange’

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mazzi2 220x290

Enkuba egoyezza Bannakampala n'emiraano...

Enkuba egoyezza Bannakampala n'emiraano

Educationpanel703422 220x290

Batadde Gav't ku nninga ku by'okusuubiza...

AKAKIIKO ka palamenti akalondoola ebisuubizo bya gavumenti kagitadde ku nninga olw’okulemererwa okutuukiriza ekisuubizo...

Mulagospecialisedwomenandneonatalhospital3 220x290

Eddwaliro ly'e Mulago eppya liseera...

ABABAKA ba palamenti balaze okutya olw’eddwaliro ly’e Mulago eppya erya gavumenti erijjanjaba abakazi okuba nga...

Gamba 220x290

Ababaka beeyongezza ensimbi mu...

ABABAKA ba palamenti bazzeemu okweyongeza ensako. Okusinziira ku biwandiiko ebikwata ku bajeti egenda okusomwa...

Kujjukiralubiri1 220x290

Buganda ejjukidde emyaka 53 bukya...

Buganda ejjukidde emyaka 53 bukya Lubiri e Mmengo lulumbibwa Obote