TOP

Emyaka ena nga tutegeka mbaga kyokka awasizza amu mulala

By Musasi Wa

Added 10th June 2012

MUK’OMUGAGGA w’e Kajjansi, Collin Kironde attottodde engeri gye bamaze emyaka musanvu ne bba ng’ena ku gyo bagimaze bategeka mbaga yaabwe kyokka omusajja n’amuleka mu nju empeta n’agikuba omulala. Gloria Kasirye agamba:

2012 6largeimg210 jun 2012 105349960 703x422

Bya Meddie Musisi

MUK’OMUGAGGA w’e Kajjansi, Collin Kironde attottodde engeri gye bamaze emyaka musanvu ne bba ng’ena ku gyo bagimaze bategeka mbaga yaabwe kyokka omusajja n’amuleka mu nju empeta n’agikuba omulala. Gloria Kasirye agamba: 

Tukoze ne Kironde obugagga bwonna bw’aleeseemu omukazi omulala nga mu bintu bye tukoledde awamu emyaka omusanvu mwe muli n’ekifo ekisanyukirwamu ekya Fly Zone e Kajjansi. 

Twaddaabiriza amaka gaffe e Kajjansi kyokka mbadde ndi awo ne mpulira nti yawasizza omukazi omulala era ateekateeka kumuleeta mu maka.  

Tubadde mu bwavu nga tubonaabona ne tukola okutuusa lwe tutuuse okulya ku lyengende ng’ekifo kyaffe ekya Fly Zone kikola.

Mu bbanga lya mwaka gumu oguyise, omwami oyo yatandiikiriza mpola okukyuka n’ekyavaamu kung’amba nga bwe yali takyayagala kundabako mu Fly Zone kuba yali ayagala kukipangisa.

Bwe nalaba ng’okukola kwange mu kifo kino kutandise okututabula, kwe kusalawo ntuule awaka kyokka kyambuuseeko bwe nafunye amawulire nti baze ali Mbarara bamwanjula.  

Tutegeka embaga

Nga tupakasa, twakkiriziganya n’omwami  tutegeke okwanjula n’embaga yaffe mu 2008, kyokka ne twongerayo nti tubikole omwaka oguddakao nga tetwetegese bulungi. Okuva olwo tubadde tukyatetenkanya wabula ekyanzigye enviiri ku mutwe kwe kuwulira nti ayanjuddwa n’akola n’embaga omugole n’amukuba empeta nga nze andese awo. 

Ebiseera we yakoledde embaga yamaze wiiki nnamba nga talinnyeeko waka ndowooza ng’ali ku hanemuuni era olwaweddeko yakomyewo awaka wabula nga yeebwalabwala. 

Okumanya abasajja bazibu, omwami oyo olwayingidde n’ajja wendi mbu anneetondera ng’afukamidde wansi yeekaabya nti sitaani yamukemye era n’embaga bagimukase bukasi. Nasoose ne nsiriikirira kwe kusalawo okumusonyiwa.

Yatandiikirizza mpola okusala ebiyungu n’ekyavuddemu eno kufuulawo kkubo anti ayitawo buyisi kulaba ku baana ate ng’azze ngalo nsa. 

SISOBOLA KUVA MU MAKA GE NKOLEREDDE

Embeera yeeyongedde okwonooneka kwe kusalawo ng’ende ku poliisi e Katwe ne muggulako ogw’obutawa baana buyambi.

Ebyo byonna nabadde nsazeewo okubigumira, naye wiiki ewedde kyampitiriddeko bwe nazze awaka ne nsangawo abaserikale abantegeezezza nti omwami yabadde ansengudde mu maka ago ng’anfunidde e Mutundwe gye nnina okubeera.

Bwe namukubidde essimu yantegeezezza nti ennyumba eyo yabadde agitunze kyokka bwe nagenze okunoonyereza, nakizudde nti ali ku kakodyo kaakusitula mugole we amuggye gye baapangisa e Naalya amuleete mu maka gange ge nkoleredde.

Yapakidde ebintu byange byonna n’abitwala mu kazigo e Mutundwe kyokka nange nga nnyambibwako poliisi ya CPS, nabiggyeeyo ne mbizza mu maka gange kubanga nkimannyi bulungi nti wadde siri mukazi wa mpeta, naye nnina abaana era be balina okubeera bannannyini nnyumba eyo kuba sirina we ng’enda kubakuliza.

Mu kiseera kino omwami oyo mmuwulira nga yeewera nti essaawa yonna akomawo n’amaanyi mangi asobole okunzigyawo, naye bambi alimba kuba eno enju ya baana bange era ndi mwetegefu okugifiiramu. 

Nze simulinaako mutawaana n’omugole we naye afune w’amuteeka si wange we nkoleredde.

 

 

Emyaka ena nga tutegeka mbaga kyokka awasizza amu mulala

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Muka Kasiwukirayejjeeredde ogw’okutta...

SARAH Nabikolo nnamwandu w’omugenzi Kasiwukira kyaddaaki afunye ku kaseko kkooti ejulirwamu bw’ezzeemu okwetegereza...

bagambaOmusika atunze ebiggya ku...

Wano we nnakulira kyokka kyansusseeko bwe natuuse awaka nga Mugomba atunze n’ebiggya n’abitundiramu

Kasubi1 220x290

Balemesezza poliisi okutaasa omubbi...

POLIISI y’ebidduka yeegasse ku poliisi ya bulijjo e Kasubi okutaasa agambibwa okuba omubbi wa bodaboda kyokka abantu...

Drssempangieyasingaanidwamumakagenanyonyolawebuse 220x290

Abaana Abakaramoja basomesebwe...

Ssempangi awabudde gavumenti ku baana b’e Karamoja abasibira ku nguudo n’ategeeza nga bwe batundibwa abazadde okujja...

Chozenbeckyclearwebuse 220x290

Abayimbi beesunga kusanyusa badigize...

Abayimbi ab'amannya bali mu kuwawula maloboozi olw'okwesunga okuyimba mu Kyepukulu ekiwagiddwa Vision Group ne...