TOP

Baze yamala kubuulira mu kkanisa n’asaba n’ekisonyiwo n’afa

By Musasi Wa

Added 8th February 2015

OLUUSI nsisimuka oluusi ndoota, taata ankuutira ekitabo kya Bayibuli, Engero za Sulemaani essuula ey’ekkumi. (Engero 10:1) Ekitundu ekyo mu Bayibuli kigamba nti: “Omwana omugezi asanyusa kitaawe, naye omusirusiru anakuwaza nnyina”

2015 2largeimg208 feb 2015 144102333 703x422

Bya HASIFAH NAAVA

OLUUSI nsisimuka oluusi ndoota, taata ankuutira ekitabo kya Bayibuli, Engero za Sulemaani essuula ey’ekkumi. (Engero 10:1) Ekitundu ekyo mu Bayibuli kigamba nti: “Omwana omugezi asanyusa kitaawe, naye omusirusiru anakuwaza nnyina” 

Ebyo nno byali bigambo kitange omugenzi, Rev. Canon. John Musoke Ssaalongo bye yatukuutiranga mu bulamu bwe. Bwatyo Jesca Namande, 39, nga mutuuze w’e Bbira Bulenga bw’atandika okunyumya ku kitaawe omugenzi Can. Musoke.

Taata yatuzaala abaana 17 okuli Fred Kafeero, Fred Wantaate, Esther Nabweteme, Edward Kibunga, Na¬mande Jesca, Daniel Lugobwa, Milly Bayigga Nabawanuka, Joyce Nakiyaga, Grace Kigongo Namulinde, Nakato Sarah, Babirye Rebecca, Kizza Richard Nagenda Lugobwa, Racheal Nakamya, Kibunga Christopher, Nawova Getrude ne Nankya Deborah.

Taata yali musomesa omutendeke ng’okusingira ddala yali mu masomero g’omu disitulikiti y’e Mukono. Obu¬somesa teyabukomya mu kibiina mwok¬ka wabula yabutuusa ne ku kituuti kuba yaweerezaako mu kkanisa omuli Kijjo, Gonve, Kyabakadde ng’omubuulizi.

Mu 1986 yafuulibwa omwawule era n’aweerezebwa mu kkanisa ya Kasoga C.O.U. Eno yaggyibwayo mu August 1990 n’aweereza mu kkanisa ya St. John’s Kiggundu e Nyenga gye yamala emyaka musanvu era eno gye yafiira ku myaka 63. 

ENFA YE

Ku lunaku lw’afa nga January 12, 1997, yakeera kunywa caayi nga mulamu bulungi. Olwamalamu caayi ne tugenda mu kkanisa ya St. John’s Kigguddu C.O.U. Kw’olwo ku kkanisa waaliyo omukolo gw’okuyingiza n’okusiibula abawereza era akeetalo kaali ka maanyi.

Nnamwandu Nnaalongo Naluyima agamba: Ku Ssande eyo baze yava awaka okugenda ku kkanisa nga si mul¬wadde okuggyako yalina puleesa eyali atera okumusumbuwa naye nga tamugaana mirimu gye era tamuku¬bangako wansi.

Ku kkanisa waaliwo omukolo gw’okuyingiza n’okusiibula Abaku¬lisitaayo abaweereza era obusumba bwonna bwali bukuhhaanidde ku kkanisa e Nyenga.
Mu kubuulira kwe kw’olwo yeesi¬gama nnyo ku ky’abantu okwagalana n’okusonyiwagana. Era bwe yali amaliriza, yeetondera buli muntu gwe yasobya n’asaba Abakulisitaayo bamuddemu nti bamusonyiye nabo kye baakola ne bamuddamu nti, ‘tukusonyiye’.

Ng’okubuulira kuwedde, yakwasa abaweereza mu kkanisa satifikeeti oluvannyuma n’awa Abakulistaayo omukisa. Ng’afuundikira okusaba yatan¬dika oluyimba: “Katonda onsembeze okumpi naawe………..”

Oluyimba olwalumalayo n’asaba essaala esembayo n’agamba nti, “Bannange ebyange bikomye awo n’agwa wansi. Twayanguwa ne bamuyoolayoola okumutuusa mu ddwaaliro e Nyenga. Okutuuka eyo abasawo ne batutegeeza nti afudde.

 

OKUSOOMOZEBWA KWE YANDEKERA

Abamu ku baana baali bakyasoma, omukulu w’essomero erya Nyenga S.S, Henry Mukoza Lugona n’abakkiriza basome okutuusa lwe baamalako. Nze ne bakulu baabwe nga tubanoonyeza bikozesebwa ku ssomero.
Enkola y’obuweereza mu kkanisa eri nti ekifo ky’obuweereza w’ofiira gye bakuziika era ne ku Canon bwe kyali. Yaziikibwa Nyenga.

Olwokuba omugenzi yali mukwano nnyo gw’abantu, baasigala naffe. Olukiiko olwali lufuga eggombolola ya Nyenga nga lukulirwa omugenzi Samuel Kita, lwasalawo okutuwa poloti e Ny-enga gye twazimbamu ennyumba mwe mbeera kati.

Abakrisitaayo n’Obulabirizi bw’e Mukono bwasigala wamu naffe era ku nnyumba baatudduukirira mu ngeri yonna gye basobola.
Emikwano egyo gikyaliwo era tukyatambula bumu era bonna mbeebaza olw’okusigala nga batwagala.

ABAANA BYE BAMUJJUKIRAKO

Rebecca Babirye: Taata yatwagalanga nnyo. Oluusi yatunaazanga nga tukyali bato oba okutuyambako ku mirimu. Bwe yabanga alina obudde ng’atuwerekerako ku luzzi ne tukima ffenna amazzi.

Teyalina ssente zimala kyokka yafaayo nnyo okutuweerera. Waliwo lwe yannyiiza, bangoba fiizi ku ssomero n’ahhamba nti tewali ssente kyokka ate nze nali nzirabawo awaka. Wano yanziramu nti teyalina buyinza kuzitoolako era bwe yazisitula n’azitwaala mu bakama be, ku Bussabadinkoni e Nakibizzi obwaali bukulirwa Ven. Can. Tubwomwe.

Daniel Lugobwa: Taata yali musuffu. Ng’alina ehhombo ye; ‘Buli ky’okola kikole mangu’ osobole okumalako. Yakyogeranga ne tutakissaako mwoyo naye nze nkitegedde kati nga nkuze nti yatulaganga nti ensi eno teyeetaaga bantu banafu, kuba oba togenda kumalako nayo.

Sarah Nakato: Yatujulizanga nnyo mu Bayibuli ekitabo ‘Engero za Sulemaani’ naddala essuula ey’ekkumi olunyiriri olusooka. “Omwana ow’amagezi..., ” era ehhombo ye yannyamba nnyo okugi¬tambulirako. Ekinkola obubi natwala omulimu gwe ogw’obusomesa naye ne bwe nfuna ssente zitya sisobola kweya¬galako naye.
Nakamya Racheal: Taata yagenda okufa nga ndi mu P1 era omukwano gwe yandaga tegwali nga gwa bannange. Mmanyi nti bakulu bange bakola ebyo byennyini bye yabakuutira era bye yali ayagala tukole.

Fredrick Wantaate: Ng’omusika we, taata yasiibanga akinkuutira nti, ‘Njagala nnyo oyige enkola gye ntambu¬zaamu ebintu byange. Saagala kintu na kimu kife nga nfudde’. Yankuutira nk-watagane ne bakulu bange tutambuze emirimu gye ng’egyokusomesa abaali bakyasoma. Mukama kino akinnyambye nkituukirizza.

 

Baze yamala kubuulira mu kkanisa n’asaba n’ekisonyiwo n’afa

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Reb2 220x290

Eyassa ekiti mu ssanduuke

Eyassa ekiti mu ssanduuke

Lip2 220x290

K- Palm beach abaagwa mu nnyanja...

K- Palm beach abaagwa mu nnyanja gye baali balaga okucakala

Kap1 220x290

Ssemaka abaana bonna 4 aviiriddemu...

Ssemaka abaana bonna 4 aviiriddemu awo

Dem2 220x290

Abaali aba Global Trust baagala...

Abaali aba Global Trust baagala kuliyirirwa bukadde bwa doola 80

Mab1 220x290

Musisi asiibudde mu sitayiro

Musisi asiibudde mu sitayiro