TOP
  • Home
  • Bukedde Ku Ssande
  • Eyakazaala abalongo emirundi 5 omusajja amudduseeko nebimusobera ne kumizigo tebamwetaaga

Eyakazaala abalongo emirundi 5 omusajja amudduseeko nebimusobera ne kumizigo tebamwetaaga

By Musasi Wa

Added 15th February 2015

OKUZAALA kujaagaana, nga gw’ozaalidde, abaana abaagala. Tunuulira Sumayiya Nakanwagi, eyaakazaala abalongo emirundi etaano. Bba yamuddukako ng’amuyita wa bisiraani olw’okuzaala abalongo abataggwa ate ne ku mayumba kw’asula abundabunda bubunzibunzi nga bamugoba olw’abaana.

2015 2largeimg215 feb 2015 110240543 703x422

Bya VIVIEN NAKITENDE

OKUZAALA kujaagaana, nga gw’ozaalidde, abaana abaagala. Tunuulira Sumayiya Nakanwagi, eyaakazaala abalongo emirundi etaano. Bba yamuddukako ng’amuyita wa bisiraani olw’okuzaala abalongo abataggwa ate ne ku mayumba kw’asula abundabunda bubunzibunzi nga bamugoba olw’abaana.

Nakanwagi, nga mutuuze w’e Wakaliga, bukya atandika kuzaala, azaala balongo bokka nga yaakazaala abalongo emirundi etaano. Erya Nnaalongo lyamuvaako dda kuba bw’ozaala abalongo emirundi egisukka ebiri ng’erinnya olifiirwa.

Wadde ng’abantu bangi baagala okuzaala abalongo naye ye Nakanwagi ebizibu by’abafuniddemu bimwerabizza essanyu ly’obweza. Edda baagambanga nti Nnaalongo tanoba era nti oli bw’azaala abalongo ng’obufumbo bunywedde, naye ate obwa Nakanwagi bwafa bufi.

Ennaku gy’ayitamu agirojja bw’ati:

Ng’omuwala yenna bw’akula n’asuubira okufuna omusajja afumbirwe bakole amaka era bafune n’abaana babeere basanyufu nange bwe nali era olwavubuka ne ntandika okukola bizinensi nga ndi musuubuzi wa matooke ge naggyanga e Mbarara ne ngatunda mu Kampala e Busega ne Nateete.

NFUNA OMWAMI
Mu 2002, nafuna baze, Jamir Batte era ne tusalawo okubeera ffenna, ekiseera kyatuuka emirimu gye ne gicankalana olwo nga nze mbeezaawo awaka. Namugulira pikipiki akole bodaboda tusobole okubeera obulungi. Mu 2003, twateesa tuzaale era mu 2004 ne nkubawo abaana abasooka Wasswa ne Nakato. Kino kyasanyusa nnyo baze omukwano gwaffe ne gweyongera.

Mu 2007 naddamu ne nzaala nga ku luno nazaala Wasswa ne Kato, mu 2010 era naddamu okuzaala ne nzaala Wasswa ne Nakato wabula Nakato n’abuuka ng’aweza emyaka ebiri, mu 2012 ne nzaala Wasswa ne Kato ate mu 2014 ne nzaala Babirye ne Kato wabula Kato Mukama n’amutwala ng’azaalibwa.

Nakanwagi yazaala abalongo ba mirundi etaano

Mu 2012 nga ndi lubuto lw’abalongo abookusatu, natandika okufunamu obutakkaanya n’omwami wange nga buli ssente gye nkola gy’atwala wabula ne tubeerawo bwe tutyo. Mu 2013 nga mmaze okuzaala abalongo abookuna nagenda

okusuubula amatooke e Mbarara nga bwe nakolanga ne bankubira essimu nga mmange mulwadde nnyo. Emmotoka nagiweereza baze atunde emmere era eno yagitunda ssente zonna n’azitwala. Kuno yagattako okusiba ebintu by’omu nnyumba byonna ne poloti ze nali nguze yazitunda n’antegeeza nti ababbi baali batulumbye ne batubba ebintu byonna. Baliraanwa be banzibirako nti ye yali abitutte.

Natandika okumubanja ebintu byange ne ssente olwo ne yeecanga n’ayagala n’okunjokera mu nnyumba n’abaana baffe era n’annangira ebintu bingi ng’abaana abalongo bwe babeera n’ebisiraani nga ye takyasobola kubeera nange. Okuva olwo siddangamu kumulaba wadde okumuwuliza.

Abehhanda za baze nabo beegatta ku baze ne bampalana nga bwe bampita ow’ebisiraani olw’okuzaalanga abalongo buli kiseera nti era bo tebakirabangako mu kika kyabwe.

Eky’okundekawo sandikifuddeko naye ate omusajja yanzibako buli kintu ne kapito yamubba ne mba nga sirina we ntandikira.

NFUNA ABALONGO AWALALA
Omwami ng’amaze okugenda nafuna obulwadde obw’amaanyi ne bahhamba bwa kinnansi era nagenda ew’omusawo w’ekinnansi Charles Ssebusolo era eno banzijanjaba. Bantegeeza nti nali nninamu olubuto lwa myezi ebiri nga baze yalunsibirako luleme kukula nti era lwali lugenda kuvundira munda nga nali nneetaaga kwegatta n’omusajja aluzuukuse. Omusawo ono yantegeeza nti ye yekka asobola okukola kino.

Olw’okuba nali mu kusoberwa nga ndaba hhenda kufa nakkiriza era yankozesa olubuto ne lukula kyokka n’antegeeza nti lwali lwa baze.

Nagenda okubala emyezi nga ndaba ky’ekiseera omusawo ono we yanzijanjabira era nalwo nazaala balongo Babirye ne Kato wabula Kato n’abuuka. Omusawo ono naye abaana be abakulu bantabukira ne bangoba ne mu nnyumba gye yali ampadde okubeeramu ne nzira mu muzigo.

ABALONGO B’E BUKOJJA
Jjajja azaala maama eyali ayitibwa Bitaminsi naye yazaala abalongo emirun¬di ena kwe yakoma era ne mmange naye Mulongo ye Babirye Nangoma yadde ye teyazaala ba¬longo. Ndabika nasika akasaayi ka Jjajja era eky’okubazaala buli luzaalo sikiri¬naako buzibu bwonna.

ENGERI GYE MBAAWULA
Olw’okuba abalongo nnina bangi buli omu alina erinnya ery’enjawulo lye namwongerako kwe mmwawulira okugeza nnina Wasswa Mukulu, Wasswa Bbiri, Wasswa Mutono, Nakato Mukulu, Kato Mukulu era gano ge nsinga okukozesa okwawula ani gwe mpita.

NGOBAGANYIZIBWA KU NJU LWA BAANA
Obuzibu bwe mpitamu bungi okukuza abaana bange omunaana kuba kati sikyakola wabula ndiwo ku lwa bazirakisa anti abaana sirina gwe nsobola kubalekera. Bannannyini mayumba bannangira buli kakedde ng’abaana bwe bajjuza kaabuyonjo zaabwe era kati we nsula kaabuyonjo baagihhaana, napangisa ya mu katale k’abaazirwanako e Wakaliga gye tugenda okweyamba n’abaana bange.

Charles Ssebusolo omusawo w’ekinnansi Taata w'abalongo abasembyeyo

Abaana bange okugezaako okubatangira okubabba nnabagulira engoye nga zifaanagana ze bambala kwegamba

.Olumu waaliwo omukazi eyali abbye abaana basatu ng’abateeka mu mmotoka agenda nabo wabula abantu olwalengera yunifoomu ne bamulemesa nga bategedde nti eyo yunifoomu y’abaana bange. 

Essaawa eno nnina obuzibu nti ku mayumba kwe mbeera bangobaganya olw’okubeera n’abaana abangi ate ennyumba yange gye nali ntandise okuzimbako nayo yasigala awo kuba sikyalina kye nkola. Nze taata nze maama, abalongo abakulu babadde basoma mu kibiina kyakusatu wabula sinnafuna ssente zibazzaayo ku ssomero era bali waka batudde. Ekyokulya nakyo kizibu kuba kati mbeerawo ku lwa bazirakisa abampa ng’abasinga ba mizikiti be bannyamba okumbeezaawo.

OMUSAJJA ANTADDE  KU BUNKENKE
Ekinneeraliikiriza, waliwo abantu abatandise okunnondoola be nteebereza okuba nti basindikibwa eyali baze. Oluusi nfuna abankubira essimu nti bampadde obuyambi bw’abaana hhende mbunone wabula hhenda okutuukayo nga tewali muntu ate bwe nziramu okukuba essimu eyo eba teriiko ekitadde obulamu bwange mu matigga.

Omwami wange bwe yamala okunzibako ebyange byonna yagezaako okunzita ng’ayagala kunjokera mu nnyumba, ssente zonna ze yabba nazivaako njagala kukuza baana bange era namwesonyiwa simanyi ate lwaki annondoola.

Enju ya Nakanwagi gye yali azimbye e Sumbwe yamulema okumaliriza.

ABASAWO KYE BAGAMBA
Dr. Othniel Musana omusawo w’abakyala ku ddwaaliro e Nsambya agamba: Omukyala okuzaala aba¬longo buli luzaalo kitegeeza nti akola amagi mangi nga buli mwezi afulumya eggi erisukka mu limu. Omukyala ow’ekikula kino kizibu okuzaala omwana omu, wabula ate era nga kisobo¬ka naye kirwawo olw’obungi bw’amagi g’alina. Omukyala bulijjo afulumya eggi limu buli mwezi naye ono ow’ekikula kino afulumya amagi mangi.

Omukyala ow’engeri eno ayinza okuba ng’embeera gy’alimu ya nsikirano ng’obutonde bwe bulina omuntu gwe bugoberera mu kika naddala ku ludda lwa maama we kale nakyo kireetera embeera eyo.”

Ate Sahaban Waibango. ssentebe w’abasawo b’ekinnansi mu munisi¬paali y’e Lubaga agamba: Okuzaala abalongo emirundi emingi kya mirundi ebiri okufuna emikisa oba ebisiraani, okugaggawala oba okwavuwala. Abalongo kintu kizibu nnyo era balina emizizo mingi, mu nkola y’ekinnansi abalongo balina eddagala lye banaaba ne bakolebwako emizizo ne batereera.
 

 

Eyakazaala abalongo emirundi 5 omusajja amudduseeko nebimusobera ne kumizigo tebamwetaaga

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Wab1 220x290

Obukodyo bw’okozesa okulwanyisa...

Obukodyo bw’okozesa okulwanyisa obuggya mu baana

Mal1 220x290

Malokweza ayogedde ebimuwangaazizza...

Malokweza ayogedde ebimuwangaazizza emyaka 90

Kad1 220x290

Maama wa Patrick Kaddu musanyufu...

Maama wa Patrick Kaddu musanyufu olw'omwana we okuteeba ggoolo eyatutte Cranes mu AFCON

Ken1 220x290

Ssentebe w'ekinnawattaka agobeddwa...

Ssentebe w'ekinnawattaka agobeddwa ku bukulembeze mu bunnambiro!

Seb2 220x290

Ababaka bakomezzaawo eby'enfa ya...

Ababaka bakomezzaawo eby'enfa ya Nebanda