TOP

Amaze emyaka 10 ng’anobye mu ddya akomeddewo mu ggiya n’agoba agabaddemu

By Musasi Wa

Added 15th February 2015

EBINTU by’omufu bitabudde bannamwandu ne mutabani waabwe era nga ye musika okukkakkana ng’omwana atutte omu ku bannamwandu ku poliisi e Nansana ng’amulanga kweddiza bintu bya kitaawe.

2015 2largeimg215 feb 2015 115322110 703x422

Bya JOB NANTAKIIKA

EBINTU by’omufu bitabudde bannamwandu ne mutabani waabwe era nga ye musika okukkakkana ng’omwana atutte omu ku bannamwandu ku poliisi e Nansana ng’amulanga kweddiza bintu bya kitaawe.

Andrew Kasumba 21, yatutte muka kitaawe Ruth Ninsiima ku poliisi nga kino kyaddiridde Ninsiima okugoba muggyawe Judith Nansubuga mu nju n’ateekamu abapangisa kubanga talian mwana mu bbaabwe.

Poliisi yayise Ninsiima agende ku poliisi n’agaana okulinnyayo era n’eragira Kasumba okuteeka kkufulu ku nnyumba Nansubuga kw’abadde asula ne bassaamu abapangisa. Oluvannyuma lw’abapangisa okutabukira Ninsiima, yagenze ku poliisi n’aggulwako omusango gw’okugezaako okubba ebintu by’omufu ku fayiro nnamba SD/48/06/02/15 kyokka n’ateebwa ku kakalu ka poliisi.

ANDREW KASUMBA ANNYONNYOLA
“Taata Richard Kimera yalwala ne tumutwala mu ddwaaliro e Mulago gye yafiira. Wabula yagenda okulwala nga maama Ninsiima yayawukana dda ne taata kati emyaka 10 nga tebali bonna.

Maama oyo Ninsiima okudda awaka yamalawo ennaku bbiri zokka taata n’afa ne tumutwala e Masaka okumuziika.
Ab’ekikka baatuuza olukiiko ne bampa obuyinza okulabirira ebintu bye naye olwava e Masaka, maama Ninsiima teyad¬dayo gye yali abeera n’atandika okusula ne muggyawe maama Judith Nansubuga.

Ekiseera kyatuuka nga Nansubuga bamuyigganya nnyo n’ava mu nju ennebe n’adda ku mizigo taata gye yaleka . Ekyanzigye enviiri ku mutwe kwe kuwulira nti maama Nansubuga ate ne mu muzigo agobeddwaamu kyokka nga ye yajjanjaba kitaffe.

Nansubuga abadde ne Kimera emyaka 10

Ninsiima yaleese bannyina ne bamenya ekisenge kya taata ne beegabira engoye ebintu byonna ebyabaddemu kyokka ng’abaana tubadde tetunnakola kintu nga kino.

Ekirala Ninsiima yagenda mu kkooti y’e Nabweru n’afuna empapula ezimuwa obuyinza okuddukanya ebintu bya kitaffe. Ekirungi ofiisi ekola ku nsonga z’ebintu by’abafu yalonda abaana basatu okuli Andrew Kasumba, Charity Nandawula ne mukulu Richard Kimera nga ffenna tuva mu bakazi ba njawulo.”

RUTH NINSIIMA YEEWOZEZZAAKO:
Nze mukyala ow’empeta era twakola ffenna okugula ekifo ekyo. Oyo omwana antambulirako baamuzaala bweru era mwana wa kibi. Nze nnina ebizibu bingi munveeko.”

JUDITH NANSUBUGA AJJA ATYA?

“Mmaze n’omugenzi emyaka 10 be ddu naye Katonda teyatuwa baana. Baze bwe yafa Ninsiima n’akomawo mu maka n’amala ebbanga nga tusula fenna mu nju naye yali tampa mirembe. Bwe nakyalako ewaffe okumala ennaku nga bbiri, nagenda okudda ng’amenye ekisenge ky’omugenzi ne beegabira ebintu by’omufu.

Nava mu nnyumba ne nzira mu gumu ku mizigo omugenzi gye yaleka naye ate nagenze okuva ku mulimu ng’akasuse ebintu byange ebweru ng’ataddemu omupangisa nange kwe kubuulirako omusika.”

Omuzigo (ogusooka ku ddyo) mwe baagobye Nansubuga

POLIISI EBIYINGIDDEMU:

Christine Gonza avunaanyizibwa ku nsonga z’amaka ku poliisi e Nansana agambye nti, Ninsiima yatwala empapula nga ziva mu kkooti y’e Nabweru nga zimuwa obuyinza okuddukannya ebintu by’omufu kyokka ne tuzeekengera era twamugguddeko omusango gw’okugezaako okubba ebintu by’omufu era fayiro egenda kuweerezebwa mu
 

Amaze emyaka 10 ng’anobye mu ddya akomeddewo mu ggiya n’agoba agabaddemu

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Afcon16 220x290

Olugendo lwa Uganda Cranes okugenda...

Olugendo lwa Uganda Cranes okugenda mu AFCON2018 e Cameroon.

Wab1 220x290

Obukodyo bw’okozesa okulwanyisa...

Obukodyo bw’okozesa okulwanyisa obuggya mu baana

Mal1 220x290

Malokweza ayogedde ebimuwangaazizza...

Malokweza ayogedde ebimuwangaazizza emyaka 90

Kad1 220x290

Maama wa Patrick Kaddu musanyufu...

Maama wa Patrick Kaddu musanyufu olw'omwana we okuteeba ggoolo eyatutte Cranes mu AFCON

Ken1 220x290

Ssentebe w'ekinnawattaka agobeddwa...

Ssentebe w'ekinnawattaka agobeddwa ku bukulembeze mu bunnambiro!