TOP
  • Home
  • Bukedde Ku Ssande
  • Omukyala agambibwa okuzaala abalongo emirundi 5 bba abisambazze; Nakanwagi yali ayagala kunzita nenjawukana naye nga muzaddemu abaana 6 tekuli mulongo

Omukyala agambibwa okuzaala abalongo emirundi 5 bba abisambazze; Nakanwagi yali ayagala kunzita nenjawukana naye nga muzaddemu abaana 6 tekuli mulongo

By Musasi Wa

Added 22nd February 2015

EBY’OMUKAZI eyavuddeyo n’ategeeza nga bwe yaakazaala abalongo emirundi etaano miramba bifuuse bya mpuna, omusajja gw’ayita Ssaalongowe, bw’avuddeyo n’ategeeza nga bw’atazaalanga ku balongo era ekitiibwa kya Nnaalongo akikozesa kwefunira nsimbi.

2015 2largeimg222 feb 2015 120343177 703x422

Bya Margaret Ziribaggwa

EBY’OMUKAZI eyavuddeyo n’ategeeza nga bwe yaakazaala abalongo emirundi etaano miramba bifuuse bya mpuna, omusajja gw’ayita Ssaalongowe, bw’avuddeyo n’ategeeza nga bw’atazaalanga ku balongo era ekitiibwa kya Nnaalongo akikozesa kwefunira nsimbi.

Sumayiya Nakanwagi abeera e Nateete yafulumidde mu Bukedde ku Ssande ewedde ng’asaba abazirakisa bamuyambe olw’okubulwa w’asula kubanga bannyini mayumba bamugoba olw’okubeera n’abaana abangi. Ayagala bamuyambe amalirize amakaage mw’asobola okukuumira abaana be, oluvannyuma lw’omusajja okumusuulawo.

Batte agamba;
Nakanwagi yali mukyala wange era nga tubeera ffembi nga twazaala abaana mukaaga. Kyokka yali mukyala mukambwe atayagala kugambwako era ng’obusungu alina bwa ttumbiizi.

Abaana omukaaga be namuzaalamu tekuliiko mulongo yenna wabula yabazzangako buli mwaka era bw’obatunuulira amangu osobola okubayita abalongo. Ekirungi abaana yabazaalira mu malwaliro agamanyiddwa ng’asooka yamuzaalira Lubaga ate abataano abasembayo yagenda mu ddwaaliro e Mulago.

Nali nsuubula ngatto mu Owino nga ye asigala waka kulabirira baana. Nakuhhaanya ssente ne nzimuwa asuubule amatooke ng’agaggya ewaabwe e Mbarara n’agaleeta mu Kampala.

Batte ng’ajjanjabwa mu ddwaaliro e Mulago mu 2012, Nakanwagi lwe yamwokya butto.

Ebintu byatambula bulungi ne tugula poloti tuzimbemu amaka mwe tunaakuliza abaana baffe. Mukazi wange yalina obuggya bungi nga bwe ndwawo okudda awaka alowooza ndi mu bakazi balala. Lumu nakomawo ku ssaawa nga 3.00 ez’ekiro maama w’abaana teyannyega kyokka enkeera bwe nakebera mu ssaati mwe nnali ndese ssente zange nga teziriimu. Namubuuza gye ziri nantegeeza nti azikwese nsobole okusiibako awaka abaana bandabeko.

Namwegayirira okunziriza ssente n’agaana era saakola. Enkeera ku ssaawa nga 4.00 ez’oku makya nga nneebase ku buliri nneekanga okulaba ng’anjiira butto ayokya ku lubuto. Wakati mu kwerwanako, omulala yanjiikira mu maaso ne nfuluma nga nkuba enduulu. Abantu banziruukirira ne bantwala mu ddwaaliro e Mulago ng’okuva mu July 2012 bwe yanjiira butto siddangamu kumulaba.

Waliwo mukulu wange eyakubira mwannyinaze eyali anzijanjaba e Mulago n’amutegeeza ng’abaana bwe babamusuulidde e Nateete ne mmulagira okubatwala ewa kitaange Haji Swaliki Ssesanga mu Ng’ando- Butambala era n’abatwala. Kyokka oluvannyuma omukazi yagenda n’abaggyayo n’abatwala ng’okuva olwo siddangayo kumuwuliza.
Omukazi namukyawa lwa kunjiira butto naye abaana bange bannuma okulaba nga tebasoma, abawuunyeeza kyalo ku kyalo.

Eggulire Batte mwe yafulumira mu 2012 ng’ayokeddwa butto

Njagala akwate abaana bange abampe. Abatwale ewa taata e Butambala gye yabaggya era akomye okulimba abantu nti yafiirwako ku baana kubanga abaana bonna weebali. Ekirungi tulina ebiggya abatwale abalage abaana bano we twabaziika. Ave mu kusabiriza ampe abaana bange.

Nakanwagi ayogedde:

Agamba nti abaana be balongo era yabazaalira mu bamulerwa. Abalongo abasatu yabazaalira wa mulerwa kyokka yafa ate abalala yabazaalira wa mukwano gwe eyali abeera e Nateete kyokka mu kiseera kino tamanyi gy’ali. Ye teyazaalirako mu ddwaaliro era talina kiwandiiko kyonna.
(Bino yabyogedde nga tategedde nti tumaze okuzuula kitaawe w’abaana.)
 

Omukyala agambibwa okuzaala abalongo emirundi 5 bba abisambazze; Nakanwagi yali ayagala kunzita nenjawukana naye nga muzaddemu abaana 6 tekuli mulongo

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Annotation20190722170617 220x290

Omwana eyattibwa aziikuddwa: Eyamutta...

Omwana eyattibwa aziikuddwa: Eyamutta abadde yamuziika mu nju

Annotation20190722170129 220x290

Ssentebe asobezza ku bazukulu be...

Ssentebe asobezza ku bazukulu be 2: Poliisi eyazizza amakaage ng'adduse

Dem2 220x290

Omukazi atuludde abasajja entuuyo...

Omukazi atuludde abasajja entuuyo

Hit2 220x290

Champion bagenze bakolima

Champion bagenze bakolima

Hat2 220x290

Abazadde bakubiriziddwa okutwala...

Abazadde bakubiriziddwa okutwala abaana mu matendekero g'ebyemikono