TOP

Ebyobugagga bya kitaabwe bibafuukidde ekikolimo

By Musasi Wa

Added 22nd February 2015

OMUGAGGA w’omu kibuga Masaka Paulo Luwaga Njawu¬kana ne bannyina bamulumiriza okwekomya ebyobugagga bya kitaabwe, omugenzi Yiraliyo Njawukana eyali omusuubuzi omututumufu mu kibuga Masaka ebibalirirwamu obuwumbi bw’ensimbi n’atabawaako.

2015 2largeimg222 feb 2015 151218580 703x422


Bya ANDREW MUGONZA

OMUGAGGA w’omu kibuga Masaka Paulo Luwaga Njawukana ne bannyina bamulumiriza okwekomya ebyobugagga bya kitaabwe, omugenzi Yiraliyo Njawukana eyali omusuubuzi omututumufu mu kibuga Masaka ebibalirirwamu obuwumbi bw’ensimbi n’atabawaako.

Abooluganda lw’omugenzi Njawukana bagamba nti omugenzi yazaala abaana mwenda mu bakazi babiri, abalenzi bataano n’abawala bana. Abalenzi yaba¬wasiza abakazi era n’abazimbira n’amaka buli omu n’abawala babiri baafumbirwa era nabo n’abazimbira ng’awaka waali wasigaddewo abatannafumbirwa babiri Margaret Nalwadda ne Regina Nakalema. Bano yaleka abakoledde bizinensi kyokka bagamba nti omusika gwe beerondera Paulo Luwaga yazibagobamu dda.

Bannyonnyodde nti, omugenzi Njawukana yafa mu 1982 ne balonda Paulo Luwaga okumusikira. Bagamba nti mu 1990 omusika yatandika okubagobaganya mu bintu kitaabwe bye yali abaleseemu ate nga ne bye yaleka tagabye tebyagabanyizibwa.

“Maama eyali mu maka Rosa Nabakooza bwe yafa mu 1988, omusika n’atandika okutwefuulira ng’atugobaganya mu bintu bya kitaffe.

Bamulekwa okuli Margaret Nalwadda ne Regina Nakalema bagamba nti baagenda mu kkooti etawulula enkaayana ku bintu by’abafu mu 1990 era omusango guli ku fayiro nnamba Masaka/AC/560/1990 kyokka ne batayambibwa olw’okubulwa ssente ezikola ku nsonga zino.

Omusika yagenda mu maaso n’okutunda ebintu bya kitaabwe bye yaleka n’okubyekomya ekyabawaliriza okugen¬da ku poliisi ne bamug¬gulako emisango okuli ogw’okujingirira ebi¬wandiiko by’omugenzi, ogw’okutunda ebintu bino mu bukyamu. Gino giri ku fayiro nnamba G/Msk/GER 126/204 gy’awerennemba nagyo era nga poliisi yamuk¬wata kyokka n’emuta ku kakalu kaayo.

Abagenzi Njawukana n’omukyala Rose Nabakooza bwe baali bafaanana

Omuduumizi wa poliisi mu Masaka (RPC) Maxwell Ogwal yategeezezza nti Paulo Luwaga yagguddwaako emisango gy’okujingirira ebiwandiiko n’okutunda ebintu bya bamulekwa mu bukyamu wabula n’atangaaza nti yateereddwa ku kakalu ka poliisi ng’omuntu omulala yenna.
Yategeezezza nti bakyagenda mu maaso n’okumunoonyereza ku misango egyamugguddwaako.

LUWAGGA AGAANYE OKUTEESA

Oluvannyuma lwa bamulekwa okwekubira enduulu ku poliisi nga tebayambibwa bazzeemu okugenda mu ofiisi y’avunaanyizibwa ku bintu by’abafu nga baagala abayambe bagabane ebintu kitabwe bye yaleka. “Twa-sisinkana Margaret
Kobusingye omukulu mu ofiisi eno n’alagira tutuule mu lukiiko ng’abennyumba nga January 30, 2015 kyokka omusika

Ekimu ku bizimbe omugenzi Njawukana ekisangibwa ku Edward Avenue mu kibuga Masaka, bye bagamba Luwaga okweza.

Luwaga n’ategeeza nga bwe yalina gy’alaga era n’asaba olukiiko lutuule nga January 29,2015 kye twakkiriza.
Nga January 29, 2015 twagenda mu lukiiko mu maka ga kitaffe ku kyalo Busaali mu Nyendo ne tusanga ng’amaka masibe era n’omukugu okuva mu ofiisi ekola ku nsonga z’abafu yali aweerezeddwa Robert Bogere twamutuuza bweru kyokka era

omusika teyalabikako yasindi¬ka mutabani we Tom Kateregga. Kateregga yatutegeeza nga kitaawe bw’amutumye okujja atugambe nti olukiiko luliwo mu bukyamu n’asaba twamuke awaka nti ebintu byagabanyizibwa dda ekitali kituufu.

Twaddayo mu ofiisi y’emu ne batuwa February 12, 2015 lwe tuba tutuula ng’abenju y’omugenzi. Olukiiko luno twa¬lubaddemu ng’abennyumba y’omugenzi Yiraliyo Njawukana naye omusika Luwaga teyazze yaweerezza ekiwandiiko ng’ayita mu balooya be aba Ayigihugu & CO. Advocates and Solicitors.

Amaka g’omugenzi Njawukana omusika Luwaga ge yagobyemu abooluganda

Ekiwandiiko kinnyonnyola nti Luwagga yaweebwa obuyinza ku bintu by’omugenzi era n’abigabanya bulungi nga tasobola kutuula mu lukiiko lwonna olugenderera okuteesa ku buyinza obwamuweebwa okuddukanya ebintu by’omugenzi.

Yagasseeko nti abooluganda lwe abatono ennyo ab’omululu bagezaako okukozesa ofiisi ekola ku nsonga z’abafu okuddamu ate okugabanya mu bintu ebyagabanyizibwa edda, era n’asaba abataamatira okugenda mu mbuga z’amateeka baggulewo omusango.
Bino twabiwakanyizza ne tusaba ofiisi eno eyite Luwaga n’ebiwandiiko by’ebintu

 

Ebyobugagga bya kitaabwe bibafuukidde ekikolimo

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Annotation20190718192802 220x290

Okwogera kwa Pulezidenti Museveni...

Okwogera kwa Pulezidenti Musevebni eri eggwanga. Tuli mu maka g'Obwapulezidenti e Nakasero

Massagebeingdonewebuse 220x290

By'olina okutunuulira nga tonnakola...

Nakola masaagi ne ntemwako okugulu era ntambulira mu kagaali - Dr. Karuhanga

Omukubayizingalikobyanyonyolawebuse 220x290

Abawala abazaddeko mubazze mu masomero...

Abawala abazaddeko okudda mu masomero kyakuyigiriza abalala obutakola nsobi n'okubudaabuda abafunye obuzibu bwe...

Teekawo1 220x290

Akakiiko ka bannamateeka kasazizzaamu...

OLUKIIKO olufuzi olwa bannamateeka ba Uganda Law Society olukwasisa empisa lusazizzaamu ekibonerezo ky'emyaka ebiri...

Club 220x290

Vipers bagitutte mu kkooti lwa...

KIRAABU ya Vipers bagitutte mu kkooti lwa kukozesa akabonero kaayo (logo) nga tebasasudde yakakola. Era eyabawawaabidde...