TOP

Abazigu balumbye amaka ga AK47

By Musasi Wa

Added 22nd March 2015

ABANTU abatannategeerekeka bamenye amaka g’omuyimbi AK47 ne baggyamu kompyuta ye eriko ebintu bye eby’omugaso

2015 3largeimg222 mar 2015 101105603 703x422

Bya ERIA LUYIMBAZI  NE VALLY MUGWANYA

ABANTU abatannategeerekeka bamenye amaka g’omuyimbi AK47 ne baggyamu kompyuta ye eriko ebintu bye eby’omugaso. Abaawaka baabadde bagenze kukungubaga mu lumbe e Lweza mu maka ga kitaawe wa AK47, ne bamenya ennyumba y’omugenzi ne batwala kompyuta eriko ebintu bye eby’omugaso ng’abagitutte tebamanyiddwa. Amaka ga AK47 ge bamenye gasan¬gibwa ku luguudo lw’e Salaama mu ggombolola y’e Makindye.

N’okutuusa eggulo enfa ya Em¬manuel Mayanja (AK 47) yabadde ekyatankanibwa ng’abasinga bagamba nti yattiddwa okuva bwe yasangiddwa n’ekiwundu ekinene ate n’ekinaabiro mwe yagudde nga kifunda n’engeri gye yaguddemu nga si kyangu omuntu abadde omu¬lamu obulungi okumala gagwawo nga teyeerwanyeko.

Poliisi eyise muganda w’omugenzi, Pallaso (Pius Mayanja), nnannyini bbaala ya Dejavu Jeff Kiwanuka, DJ Bibie, Diamond Oscar ne Allan Kiiwa poliisi ebaggyeko sitetimenti. Omwogezi wa poliisi mu Kam¬pala n’emiriraano, Patrick Onyango agamba nti abantu bano be baali batudde ne AK47 ku lunaku lwe yafa nga poliisi eyagala bannyonnyole ebyaliwo, kibayambe mu kubuuli¬riza.

Omusajja ayitibwa Thoman Mwima eyeeyanjudde ku poliisi nga yeeyise kanyama, abamumannyi bagamba nti si ye kanyama ayogerwako era poliisi enoonyereza oku¬zuula ekituufu nga bw’abeera nga si ye ye, bajja kuzuula ekigendererwa ky’okulimba kubanga kizibu omuntu okwewaayo ku poliisi nga talina ky’azibikira

 

Abazigu balumbye amaka ga AK47

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lab2 220x290

Engeri gy’olina okwewala okuferebwa...

Engeri gy’olina okwewala okuferebwa ku ttaka n’okufi irwa ebyobugagga byo

Hab1 220x290

Taata n’omwana bafudde lumu;Omu...

Taata n’omwana bafudde lumu;Omu bamuziise mu ntaana ya People power omulala mu ya NRM

Kab1 220x290

Dokita eyabuze akwasizza omusawo...

Dokita eyabuze akwasizza omusawo

Broronnie1 220x290

Bro. `Ronnie Mabakai alagudde bannabyabufuzi:...

OMUSUMBA Ronnie Mabakai owa ETM Church esangibwa ku Salama Road e Makindye ne Holy City e Bwerenga azzeemu okulagula...

Komerera4webuse 220x290

Abaana bazannye okufa kwa Yesu...

Abaana bazannya olugendo lw'okufa kwa Yesu ne beewuunyisa abantu e Masajja