TOP

Baze baamusala enseke kyokka ne tuddamu okuzaala-Minisita Nankabirwa

By Musasi Wa

Added 22nd March 2015

MUKY. Ruth Nankabirwa Sseggujja ng’ono ye Nampala wa gavumeti, bangi bwe bamulaba beebuuza oba alina omwami anti tatera kumwogerako. Wuuno ayogera ku bufumbo bwe mw’alina abaana omukaaga. Bangi balowooza nti siri mufumbo naye nnina omusajja n’abaana mukaaga nga babiri ku bo bawala.

2015 3largeimg222 mar 2015 103641717 703x422

Bya Sarah Zawedde

MUKY. Ruth Nankabirwa Sseggujja ng’ono ye Nampala wa gavumeti, bangi bwe bamulaba beebuuza oba alina omwami anti tatera kumwogerako. Wuuno ayogera ku bufumbo bwe mw’alina abaana omukaaga. Bangi balowooza nti siri mufumbo naye nnina omusajja n’abaana mukaaga nga babiri ku bo bawala.

Omwami wange ye Mw. Fred Sseggujja nga musuubuzi. Ye nnannyini kkampuni y’abasaveya eya UGASURV era maneja wa bizinensi zaffe omuli ne faamu.

Twasisinkana ne baze era ne twagalana nga nkyasoma ku yunivasite e Makerere nga ndi mu mwaka gwakubiri nga ye akola mirimu gye. Bwe namaliriza okusoma ne mmwanjula mu bakadde bange ebyembi taata Yoweri Sentamu yali amaze okufa era maama Efransi Nakalundu ye yamwaniriza eky’ennaku nti naye kati mugenzi.

Omwami wange mulungi mu by’akola era nga buli mukyala yenna yandyagadde okubeera n’omusajja alina embeera ng’ezize.
Musajja atayagala kweteeka mu bu¬taala, mukozi, alina omukwano, afaayo n’okulumirirwa singa oba ofunye obuzibu.

Kye nsinga okumutenderezaako ekitali kyangu kwe kuba nga yeewaayo ne yeekomya okuzaala tuleme kuddamu kuzaala. Kino yakikola ku lwange kuba twali twagala kukoma ku baana omukaaga.

Omwami wange ono ambeereddewo mu mbeera yonna era akoze kinene ddala okulaba ng’emirimu gyange seekwasa ate ne famire yaffe ng’etambula bulungi era nga twekulaakulanya.

ASALAWO OKWEKOMYA OKUZAALA
Olwava e Makerere, natandikirawo ebyobufuzi nga natandikira mu byabakyala abampeereza ku disitulikiti e Kiboga era ebiseera ebyo we nazaalira. Ekiseera kyatuuka nga nfuuse minisita kyokka nga nnina abaana abato abeetaaga okuyamba. Nali nkyazaala era oluusi nagendanga ku paleedi z’ekijaasi nga ndi muzito. Mu kubeera omuzito bannange banjereganga nti, minisita w’ebyokwerinda saasobodde kweziyiza ne bankuba bbuleti.

Waliwo ekiseera bwe kyatuuka nga nteekeddwa okuba awaka n’abaana bange kyokka ng’emirimu gimmalawo. Baze yas¬alawo okuva ku mirimu egigye n’ambeera awaka ku lwa famire. Yalabirira abaana ng’abasomba okubatwala ku ssomero, okubalabirira awaka oba balidde n’ebirala. Kuno yagattangako okulabirira bizinensi zaffe omuli ennimiro n’ebisolo.

Ba sseggujja famire

Bwe twaweza abaana mukaaga, twasalawo okwekomya okuzaala. Mu 2004, yansaba mu kifo ky’onkunkomya ye y’aba agenda bamusale enseke tuleme kuddamu kuzaala. Yagenda okumukomya kyokka aba yaakakimaliriza eky’ennaku ne tufiirwa omwana omuwala ne ndowooza nti nkomye.

NZIRAMU NATE OKUZAALA
Ekyatutabula kwe kuba nti baze baali bamusaze enseke ate ne nziramu okufuna olubuto nga wayise ekiseera kitono nga baakamusala. Mukama yatukubagiza n’azzaawo omwana omuwala ng’ono ye Daniela Ruth Nantambi nga kati asoma P3.

Ate laba omwana ono bw’afaananira ddala mukulu we eyafa, era byonna bintu bya Mukama.
Omwana ono kuviira ddala mabega yali wa byewuunyo. Ebiseera we nafunira olubuto nali nnina okukola ebigezo kuba nali nzizeeyo Makerere kusoma kkoosi y’engeri y’okukuumamu obutebenkevu n’emirembe.

Eno nagenda okusoma nga sisabye mu butongole mu bakama bange, ebibuuzo we byatuukira twalina okugenda ne Pulezidenti e Libya awo ne gujabagira nalina kugenda na mukama wange.

Bwe nadda ne njogera ne ku yunivasite ne banzikiriza okubikola omulundi oguddako.
Olunaku lwe nalina okukola ekigezo, nasooka mu ddwaaliro e Mulago nga seewulira bulungi, omusawo olwankebera n’ansaba nneme kugenda kuba nali mu mbeera ya kuteekateeka kuzaala.

Nalemerako omusawo ne mmusaba hhende nkole ebibuuzo ku ssaawa nga 5.00 ez’oku makya oluvannyuma nkomewo nzaale kuba nali siyinza butabikola mulundi gwa kubiri.

Nankabirwa ne batabanibe okuva ku (kkono) Victor Tendo ate ku (ddyo) Solomon Ssesanga, Moses Kakembo ne Abraham Ntambi ne muganda wabwe omulala

Nagenda e Makerere ne nnyinyonnyola abaayo embeera gye ndimu kyokka baali bagaanyi okumpa ebibuuzo nga bahhamba nsooke nzaale. Nalemer¬ako ne bakimpa wabula nakikola nnyimiridde anti ebisa nga binsimbye. Olwokuba nali nnoonya makisi 50 nakola nnamba ssatu ku ttaano ne mmanya nti mpise ne mbivaako olwo ne banzirusa e Mulago ne nzaala ku ssaawa nga 8.00 ez’emisana.

Wabula nayisibwa bubi era kata nfe .
Omwana waffe ono tumutwala ng’ekisa ekyava ewa Mukama nga yali atukubagiza oluvannyuma lw’okufiirwa omulala. Era buli lwe mmutunulako ndaba omukisa oguva ewa Katonda.

KINO KISOBOKA KITYA, OMUSAWO ANNYONNYOLA
Dr. George William Bukenya omusawo w’abakyala mu ddwaaliro e Mengo agamba nti embeera eno eyinza okubeerawo okusinziira ku ngeri omuntu gye yakomezebwamu okuzaala.
“Bwe tuba tukomya omusajja oba omukazi tuzinga oluseke n’olusiba emirundi ebiri. Oluvannyuma osalawo ekituli obutakkiriza nkwanso kutambula.

Naye waliwo omusawo atasala luseke luno era wuuzi gye bakozesezza okusiba singa ekutuka oluseke luddamu ne lwegolola. Wano omusajja oba omukazi aba asobola okuddamu okuzaala. Kati okubeera ku ludda olukakasa nti takyaddamu kuzaala oluseke balusala.

GYE NVUDDE WA NANKABIRWA
Nzaalibwa Kiboga ku kyalo Kiwanguzi. Natandika okusoma mu Kiboga P/S
Nankabirwa ne bba Sseggujja.
Nankabirwa ne muwalawe Daniel Ruth Nantambi gwe yazaala nga bba Sseggujja bamukomeza.

gye namalira P7. Essomero lino liri ku musingi gwa ddiini y’Abakatoliki. Nagenda e Nabisunsa gye namalira S4 ne S6 nga nakola masomo ga ssaayansi naye ekibuuzo kyange ekimu ekya Physics tekyakomawo.

Nagenda e Makerere gye nakola essomo ly’ebifaananyi (Art in Fine art). Eno gye natandikira obukulembeze bwange nga nze nali minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’abayizi abawala mu ttendekero lino.

Nankabirwa mu nnimiro ye mu biseera bye ebyeddembe

Bwe natikkirwa, omu ku baali bannuhhamya mu byobufuzi eyaliko Town Clerk w’e Kiboga, John Gashenyi yansaba hhende mu maaso n’ebyobufuzi byange. Nasooka kubeera mukulembeze ku bukiiko bwa bakyala ne ban¬nonda ne nkiika ku disitulikiti.

Muky. Mary Margaret Sekiziyivu Nalugo yeesimbawo mu CA ne bansaba mmulekere. Ekisanja ekyaddako twavuganya ffembi ne mmuwangula ne nnyingira Palamenti mu 1996. Ekyannyamba nti famire yange y’amaanyi mu kitundu era ya ddiini nnyo ng’abantu bali batuwuliriramu wadde nali nkyali mwana muto.

Mu Palamenti natandikirawo okuteesezza abantu bange era wano Pulezidenti Museveni we yandabiramu omulamwa n’ampa obwaminisita avunaanyizibwa ku kanyigo k’e Luweero mu 1998.

Kye nneenyumiriza mu bukulembeze bwange nga ndi e Luweero abaazirwanako na bakwattirira ne bakoma en-kola y’okwekalakaasa. Nakola bulungi, Pulezidenti mu 2008 n’ampa ekifo kya minisita avu¬naanyizibwa ku byokwerinda era nakimalamu emyaka ena.

Mu 2011 bampa ekya minisita avunaanyizibwa ku byennyanja n’obuvubi nga nkimazeemu emyaka ena era jjolyabalamu naweereddwa eky’okuba nampala wa gavumenti mu Palamenti. Ekifo kino kinene ddala nga kibeeramu omuntu akuguse mu byobufuzi. Nange kati nneekakasa obukulembeze bwange nti bubadde bulungi era ekifo kino nkyenyumirizaamu .

Wadde wano mba nkola naye nsaaliddwa eky’okubeera mu bantu babulijjo. Embeera zange nnyumirwa nnyo okubeera n’abantu ne mpulirizza ebizibu byabwe ate ne tubigonjoola. Mu bifo bye nsokeddemu mbadde nsisinkaana abantu bonna okuva ku bawansi ddala okutuka ku bawaggulu, kati ensonga nkola ku za bali mu bifo ebya waggulu.

Nkomawo okwesimbaawo mu kitundu kyange kuba nina bingi bye sinnamaliriza nga nina okubikolako.
Nkubiriza abakyala okubeera n’obuvumu mu bye bakola lwe bajja okubeera abawanguzi kuba nange kye kinfudde omuwanguzi

 

Baze baamusala enseke kyokka ne tuddamu okuzaala-Minisita Nankabirwa

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nant 220x290

Oluyimba ‘Tukigale’ lutabudde Carol...

Omuyimbi Carol Nantongo atabukidde Rachael Namiiro okuyimba oluyimba lwe olwa 'Tukigale' nga tamuwadde lukusa....

Dha 220x290

Embeera y’omubaka Dhamuzungu yeetaga...

Omubaka Dhamuzungu asimattuse okufiira mu kabenje k’e mmotoka, embeera ye yeetaga kusabira.

Aidslogo 220x290

Najeemera ebiragiro by’abasawo...

Asiah Tusingwire mulwadde wamukenenya. Yejjusa lwaki teyagoberera basawo kye baamugamba eky’okumira eddagala okusobola...

Muddo1 220x290

Okulunda kugatteko okulima omuddo...

Asiimwe ye nnannyini ffaamu ya Itungo Farm esan­gibwa ku kyalo Kyoga mu Wakiso ng’etudde ku yiika ssatu n’ekitundu...

Lusuku1 220x290

Endabirira y’olusuku mu biseera...

OLUVANNYUMA lw’okukozesebwa ebbanga eriwerako nga sirina kye nganyuddwaamu nabivaako ne mpangisa ekibanja ne nnima...