TOP

Ku Mayaka 17 nali direkita wa Ssomero ate nga ndi muyizi

By Musasi Wa

Added 29th March 2015

ABAANA abatandika okukulembera amaka nga bakyali bato oluvan¬nyuma lwa bazadde baabwe okufa, bangi tebafuna mukisa kusoma era bafundikira basaddaase obulamu bwabwe basobole okukolerera bato baabwe be baba balabirira. Kyokka waliwo abatono ddala abayita mu mbeera eno ne bagivaamu n’obuwanguzi. Mu ba

2015 3largeimg229 mar 2015 140938193 703x422


Bya PROCOPIOS LUMU

ABAANA abatandika okukulembera amaka nga bakyali bato oluvan¬nyuma lwa bazadde baabwe okufa, bangi tebafuna mukisa kusoma era bafundikira basaddaase obulamu bwabwe basobole okukolerera bato baabwe be baba balabirira. Kyokka waliwo abatono ddala abayita mu mbeera eno ne bagivaamu n’obuwanguzi. Mu bano mwe muli Mike Kironde, dayirekita w’amasomero ga Janan.

Engeri Kironde, 35, gye yeeruse nga bw’alabirira bato be, bazadde be be baamulekekera aginyumya nga lutabaalo:
Maama yafa nnina emyaka 13 mu 1993 ate taata naye n’afa mu 1995 ne batuleka mu muzigo ne bato bange bataano nga nze taata era nze maama.

Kitange Fred Yiga abangi gwe baali bamanyi nga Nsambya ne maama Noeline Nakate bagalamidde ku kyalo Luvumbula ekisangibwa mu ggombolala y’e Kiringente mu disitulikiti y’e Mpigi.

Taata yali mutuuze w’e Nsambya Central nga yatuzaala abaana bataano nga nze mukulu. Yali musuubuzi wa byennyanja ku mwalo e Ggaba ng’abitundira mu katale e Nsambya era yalina amaato ku nnyanja Nalubaale.

Bwe waayitawo emyezi 4 nga maama amaze okufa, taata yah¬hamba ntandike okukola naye ogw’okutunda ebyennyanja buli lwe navanga ku ssomero. Mu kiseera ekyo nali nsoma P.6 mu 1993. Okukola ne taata nga ntunda ebyennyanja tekyansanyusa kuba nze nali nsinga kwagala kukuba bikonde bye nagendangamu buli lwaggulo. Kino kyali kizibu nnyo gyendi kubanga akatale kaali kumpi n’essomero nga nswala era okutandika okukola naye yasooka kunkuba miggo mingi ddala.

Yateekawo akakodyo nga takyampa ssente za kulya ku ssomero ate jjukira nali nkuba ebikonde kale nga kizibu okugenda okukuba ebikonde ng’enjala ennuma. Kino kyampaliriza okukola naye kuba bwe nakolanga naye olwo ng’enkya sikomawo nga hhenda mu bikonde kuba nalinga nfunye ez’okulya.

Yagenda mu maaso n’okunkuba kibooko okutuusa bwe namala gakkiriza embeera kuba nali sikyalina kyakukola ate nga sirina walala we nnyinza kufuna kyakulya.

Mu 1995, nga ndi mu S1, taata yal¬wala era obulwadde bwamweyongera n’agenda ng’agonda era nga takyasobola kugenda Ggaba kusuubula byennyanja ate n’akomawo n’abitunda.

Yeeyongera okugonda nga takyasobola na kutambula olwo n’antuma eri mikwano gye omwali muzeeyi Peter Ngondwe ne John (kati mugenzi), ne bamuguliza ebyennyanja ne mbitikka ku mmotoka ne mbitikkula ne mbitwala ku mudaala ne ntandika okubitema. Kino nakikolanga bwe ndabirira taata ne baganda bange era nga nakikolera ebbanga lya myezi munaana nga ndowooza taata agenda kussuuka kyokka eby’embi n’afa olwo ne tusigala ffekka mu muzigo.

Taata yazaala abaana bataano abasatu mu maama omu ababiri mu maama omulala. Taata teyazimba maka era bwe yafa, baganda baffe abalala baabaleeta mu muzigo we twali.

Kironde n’omukyala ku mbaga yaabwe.

Nga tumaze okuzi¬ika taata nneetikka obuvunaanyizibwa bw’okulabiria baganda bange omwali oku¬banoonyeza eky¬okulya, okubambaza, okusasula ennyumba, obujjanjabi n’ebisale by’amasomero. Emyezi etaano egyasooka nakola buli ekisoboka wabula oluvannyuma byagaana nga sisobola kukwataganya kusoma na kunoonya ssente zitulabirira ffenna.

Waliwo ssengaffe Nansamba abeera e Katende nze gwe mpita omuzirakisa eyantaasa mu kiseera ekizibu kuba ebintu byali binnyinze. Na¬musaba atwale baganda bange kuba baali bannemeredde naye nasigala mbayamba okusasula ebisale by’amasomero n’ebirala.

EMIKWANO GYA TAATA GITWESAMBA

Taata ng’afudde, nalowooza nti egyali mikwano gye bagenda kutuyamba era natandika okubayitamu nga nsaba obuyambi naye tewali yannyamba. Natuula wansi ne ndow¬ooza omulimu mwe nsobola okufuna ssente ezituyimirizaawo nga si kutema byannyanja nga sigulaba olwo ensonyi ne nzisiba ku mpagi ne ntandika okusuubula ebyennyanja nga nneeweerera n’okuyamba bato bange.

Nalayira obutasula njala n’obutangoba mu muzigo era kino nakisobola nze sig¬obwangako mu nnyumba wadde okusula enjala.

Okutunda ebyennyanja nakifuula kitundu ku nze era ne nkyagala nnyo. Ntunze ebyennyanja okuva mu 1994 okutuuka mu 2012 lwe mmalirizza emisomo gyange.

NTANDIKA AMASOMERO
Mu 1997 nali nsomera mu Kansanga High School waaliwo obwegugungo ng’abasomesa ku ssomero lino bagamba nti omukulu w’essomero yali akwana abayizi ekintu dayirekita ky’ataawuliriza era okukkakkana ng’abasomesa musanvu bagobeddwa.

Abasomesa bano baatukunga tuleme okuddayo ku ssomero lino era ffenna abayizi 280 twakuhhaanira mu nny-umba y’omusomesa ayitibwa Jamil Mutebi okumala ennaku ssatu nga tetusoma nga tutaayaaya kubanga twali bangi ate nga tewaaliwo nteekateeka emala kutusomesa nga n’ebikozesebwa tewali.

Ng’abasomesa bamaze okulaba nti balina abayizi abamala okutandika essomero kyokka nga tebalina ssente, waaliwo eyabab¬birako nti nnina ssente ne bampita ne bambuuza oba nnina ssente emitwalo 80 tupangise ekizimbe tuteekemu essomero. Nabaddamu nti nninako emitwalo 60 ne basanyuka.

Twapangisa ennyumba ey’ekikomera e Nabutitti emitwalo10 buli mwezi ekitegeeza nti twasasula emyezi esatu nga zino ze nabawaako ng’endala za kusuubula byannyanja. Mu kiseera kino nalina emyaka 17 nga ndi mu S3 ne tutandika essomero lya Kansanga Standard Academy era bankakasa nti hhenda kubeera omu ku badayirekita.

Essomero lyatandika okukola mu lusoma olwokusatu olwo bannannyini ssomero liri gye twava ne batuwendulira KCC n’etuggalawo olwo abayizi ne batugabanya mu masomero agaliraanyeewo era abayizi bonna ne bakola ebigezo byabwe omwaka ne guggwaako bulungi. Ku myaka 17 nali nfuuse dayirekita, nga ndi muyizi ate ng’eno bwe ntunda n’ebyennyanja.

Mu 1999 omukulu w’essomero yafuna ekifo ekigazi kuba twali tufunye abayizi 550 ng’ekifo tekikyatumala n’atugamba nti kyali kya mitwalo 50 buli mwezi era n’atugamba tusasule naye nga yali atulimbye kuba oluvannyuma twakizuula nga nnannyini kifo yali asaba akakadde kamu n’emitwalo nkaaga. Twasengula essomero, emirimu ne gigenda mu maaso.

NKYUSA ESSOMERO KU HAAYA
Bwe namaliriza S.4 ne hhenda e Luzira SSS naye nga nkomawo nga dayirekita era mu kiseera ekyo nali nguzeeyo ne pikipiki. Essomero lino lyatulema kubanga omukulu w’essomero yali atulimbye nti buli mwezi emitwalo 10 so nga gyali 50 era mu kiseera kino yali atubanja obukadde mukaaga era nga nnannyini kizimbe ayagala kutusiba. Namwegayirira era ne mmusaba aleme kutusiba wabula essomero alitwale nti ssente z’atubanja tagenda kuzijjukira kubanga yali agenda kufuna ssente n’akkiriza.

Ekirala kye namugamba nti okusigaza abayizi bano b’alina okukola ebigezo na kino n’akikkiriza era ne tukyusa n’erinnya okuva ku Kansanga High School okudda ku Kansanga SSS.

Essomero nga likyuse tebampa mukisa kubeera dayirekita era nange ne nzikkiriza nti ensimbi zange zaafa naye ng’ansasula emitwalo 20 buli mwezi. Nayiga ebintu bingi kuba omwami ono yali mulungi mu kubala ebitabo mu bbanga ery’emyaka ebiri. Oluvannyuma omwami ono yangoba ng’agamba nti takyasobola kunsasula. Jjukira nti nali nkola bino byonna naye saalekayo mulimu gwange ogw’okutunda ebyennyanja.

Mu kiseera we yangobera nali nterese obusimbi bwange nga mpezezzaawo obukadde buna ne hhenda nzidaabiriza en¬nyumba eyali eya jajjange e Nsambya olwo ne nkolamu saluuni.

Ng’ovudde ku kya saluuni, nakwatagana n’omubaka Micheal Mabike ne mmuguza ekirowoozo ky’okuzimba essomero nti ligenda kumuyambako naddala ng’avudde mu Palamenti era ekirowoozo yakigula. Twali twagala siniya ne tutafuna kifo

olwo ne tukola Pulayimale. Twakola Makindye Community Primary School ne tufuna
abaana bangi ddala kyokka oluvan¬nyuma essomero lyafuna ebizibu by’ensimbi era ekirowoozo kyange okukola essomero lya siniya nga lisasuza ssente ntono ddala ne kikoma awo.

Nasituka wamu ne mukwano gwange Busuulwa ne tusisinkana Emma Emurut eyali omuwandiisi w’ekkanisa ya St. Janan Luwum ne tumutegeeza ekirowoozo kyange okuzimba essomero ku kkanisa n’ansuubiza okutegeeza abamusingako.

Ng’abakulembera ekkanisa tebannatuddamu, nalowooza ku makubo agasobola okuvaamu ssente nga sigalaba amangu ddala ne nfuna ekirowoozo ekinoonya abavubuka 20 abasobola okutuwa emitwalo 50 buli muntu. Nabukeereza nkokola nga nasookera Ggaba mu basuubuzi bannange kyokka ku 40 babiri bokka be baasobola okumpa. Na¬komawo nga mpeddemu amaanyi kuba nali nsuubira ssente nnyingi kyokka tekyanzigya ku mulamwa.

Nga bali ku mbaga yaabwe

Diriisa Walusimbi Gamwero agamba: “Natandika okusuubula wano mu 1995 nga mwana muto era nzijukira yansaba ku ssente emitwalo 50 ng’ayagala kutandika ssomero. Saamuwa kuba nalaba ng’ali mu kusaaga ku myaka gye nti ayagala kutandika ssomero ate nali nninawo ku ssente naye ebya Mukama bizibu, Kironde kati muzadde wa ggwanga. Ate teyeerabira gye yava na kati atuyambira abaana baffe awatali kwekuluntaza.”

Kironde ayongerako nti, “Sagwaamu maanyi ne ngenda ewa mukwano gwange John Rendel Omungereza naye ne mmuguza ekirowoozo n’akyagala era kwe kusuubiza okwogerako ne mikwano gye e Bungereza.

Waliwo Simon Mukasa eyali mukwano gwange ne mmuyita ne mmubuuza oba asobola okuzimba ekizimbe nga kya bukadde10 naye nga nsooka kumuwaako kitundu yakkiriza kyokka n’ahhamba tusooke tukole endagaano.
Rendel bwe yaddayo e Bungereza yatunoonyeza abantu mwenda nga bonna beetegefu okutuyamba n’emitwalo 50

Nga mmaze okufuna amakubo omugenda okuva ensimbi ate abatwala ekkanisa ne bagaana nga bandaba ng’omwana omuto okuzimba essomero kyokka ne bateekawo akakwakkulizo nti nsooke nzimbe olukomera balabe oba nsobola, guno gwali mwaka gwa 2002.

Nayita Mukasa omuzimbi ne ntoola ku z’ebyennyanja emitwalo 30 ne ngula omusenyu n’amataffaali era amangu ddala ng’okuzimba kutandise banzikiriza okuzimba essomero kati ye
St. Janan SSS Kabalagala

 

Ku Mayaka 17 nali direkita wa Ssomero ate nga ndi muyizi

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Grav 220x290

Mujje mbalage ekitone ly’okuyimba...

Oluvannyuma lw’emyezi ebiri ng’ali mu kutendekebwa okwa kasammeme n'okugoggola eddoboozi, Gravity Omutujju ayise...

Uni 220x290

BUKEDDE W’OLWOKUNA AKULEETEDDE...

Bobi Wine olusimbudde okuva mu Amerika, abawagizi be ne batandikirawo okujeemera poliisi. Amagye gakutte owa Flying...

Banyarwanda2 220x290

Abanyarwanda basabye Kabaka ettaka,...

ABANYARWANDA ababeera mu Uganda basabye Kabaka asiime abawe ettaka Ssekabaka Muteesa II lyeyali abawadde e Kibuye...

Fortunessentamu2 220x290

Abagwira 6 bakuvuganya ne Bannayuganda...

Laawundi y'empaka za ddigi eyoomukaaga ku kalenda ya Uganda yakwetabwaamu abagwira 6.

Courtgavelscales1024683 220x290

Kkooti zonna zaakujjukira Benedicto...

Mu 1972 abajaasi ba Amin baalumba Benedicto Kiwanuka mu ofiisi ye ku Kkooti Enkulu ne bamuwalawala mu kifo ekitaategeerekeka...