TOP

Omuyimbi Livingstone Kasozi azuukiridde mu mutabani we

By Musasi Wa

Added 30th March 2015

ERA ddala abafu tebafa kuba nze kamwakoogera kitange omuyimbi Livingstone Kasozi agenda okufa nga sitegeera bulungi kuba yandeka nnina emyaka ebiri.

2015 3largeimg230 mar 2015 100246483 703x422

Bya HASIFAH NAAVA

ERA ddala abafu tebafa kuba nze kamwakoogera kitange omuyimbi Livingstone Kasozi agenda okufa nga sitegeera bulungi kuba yandeka nnina emyaka ebiri.

Ng'enda okutegeera nga bang'amba yafa naye ate yadda n’abaako by’antegeeza olwo nga nkuze: Reagan Ssematimba Kasozi, 20, ow’e Kabowa emboozi ye ku kitaawe omugenzi Kasozi eyafa mu 1997, agikunyumiza otudde wamu.

“Bwe nali mu S.6 mu 2012 nga ndiku Seroma Christian School e Mukono omuzimu gwa taata gwatandika okunzijira. Natuukanga ekiseera ne mbeera nga saagala kusoma ekintu ekyali kitabangawo mu biseera bye nali mmaze nga nsoma. Essaawa ey’okusoma bwe yatuukanga ng’ amaanyi ganzigwamu bwe mba ng’eyeewunzika mu ntebe kwe ntudde okuzibiriza bwenti nga ndaba ekifaananyi kya taata.

Bantwalako mu kkanisa ez’enjawulo ne bansabira naye byagaana olaba bantuusa ne mu basawo b’ekinnansi abategeeza nti lyali ddogo! Mu kutambula kuno kwonna nga sikyuka omuntu gwe nalabanga mu kifaananyi yatandika okwogera.

Omuzimu bwe gwajja gwahhamba nti gwagala kunnunula waliwo omuntu bwe baali batakolagana ng’ensonga zaabwe azitadde ne ku nze omwana gwe yaleka nga ndi bbujje ate atalina kye mmanyi.

Yatulagira tusigale nga tusabira ewa paasita w’e Kawuku ebinteganya ebisinga bijja kugenda.’ Kino naffe kye twakola ne nzirayo ne ntuula n’ebibuuzo bya S.6 nga sizzeemu kufuna kizibu kyonna.

Bwe nali mu luwummula lwa S.6 taata yakomawo ng’agamba nti, “Ennyimba zange zifudde kyokka Reagan yagaana okuyimba”. Awo we yatandikira okujjanga n’ankwata nga muli mpulira ng’eyeebase hhenda okuwulira nga nnyimba ennyimba ze ne ze simanyiiko yadde.

Ekiseera kyatuuka ng’ekiro nsula nnyimba nnyimba ze nga ndoota ndaba ndi ku siteegi.

Waliwo lwe gwankwata ne gulagira maama akubire Micheal Kinene ali mu Golden Band essimu ajje nti alina ky’amugamba. Kinene bwe yajja ne gugobawo abantu ne wasigalawo maama ne Kinene nga gukaaba.

Gwagamba Kinene nti , ‘Kinene okuze wali mwana muto we nakulekera, naye ekirungi kati oli musajja mukulu, era ekikumpisizza njagala onnyambe muddemu ennyimba zange. Ekirala njagala Reagan atandike okuziyimba.’ Kino Kinene yakikkiriza era olwavaawo n’agenda ayogerako ne Mesarch Ssemakula eyanzikiriza okukozesa situdiyo ye ku bwereere nsobole okuziddamu.

Bwe nagendayo nasookera ku kuddamu luyimba lwe olwa Night era nga lwaggwa okukwatibwa. Kuno nazzaako ezange okuli ‘Ye ggwe’ nga luno lwa mukwano kuno kwe nagasse Ava wa?

Eza taata ze ng'enda okuddamu kuliko: Okuwola n’okubanja, Omusajja asajjalaata, Ggwe Musika, Nalweyiso, Muka Kitange, Nababi w’e Mbikko, abaana b’e Uganda, Nkaabira mabujje n’endala.

Okuva bwe natandika okuyimba nga taata bwe yali ayagala siddangamu kufuna buzibu bwonna sikyalwalalwala, ate kati mpulira n’okuyimba kundi ku mutima era nkwagalira ddala.

MICHEAL KINENE AYOGEDDE:

Omugenzi Kasozi yankwatako nga nkyali muto ddala era yampeererako.

Ye yanjigiriza n’okusuna ggita olwo nga ndi mu P.4 kuba yankimanga ku ssomero n’antwala gye batendekebwa.

Nali mmuyita muzeeyi naye bwe yafa mukyala we ne Reagan bambulako era okuddamu okubawuliza nga bankubira ssimu okumpita.

Nali ndi awo, maama n’ankubira essimu n’ambuuza nti, ‘Kinene oli ludda wa?” Olwamubuulira n’ahhmba ng'ende ewuwe twogere ku bya Reagan kuba ayagala mmuwandiikire ennyimba.

Olw’ensonga nti tekyali kya mangu nnyo nayisaawo wiiki nnamba nga sigenzeeyo, nali ndi awo ng’azzeemu okunkubira nti Kinene byonna by’oliko sooka obireke ojje bino bya mangu.

Navuga ne ng'enda e Kabowa gye babeera, okutuukayo nga Reagan atudde mu ntebe nga tayogera naye ng’avaamu amaziga mu maaso.

Maama bwe yandaba n’agamba nti mwana wange ggwe osobola okunnyamba, n’ang'amba nti awo w’olaba Reagan atudde amazeewo ekiseera.

Bw’aba ng’ayogera ayogera ekigambo kimu nti muleke Reagan ayimbe mw’ajja okufunira emirembe, kye yava ambuuza nti oluyimba nduwandiikira ssente mmeka?

Namuddamu nti oluyimba nja kulumuwandiikira ku bwereere, mmutwale ne mu situdiyo tulukole ku bwereere.

Olwamala bino ne mbasiibula,waayita ennaku bbiri n’addamu n’ankubira nti Reagan atabuse, bwe natuukayo Reagan kennyini n’agobawo abantu bonna n’ahhamba nti, ‘Mutabani wange njagala onkwatire ku mutabani atandike okuyimba ate kati’.

Byansobera ne mbirowooza nga sibitegeera kwe kukwata Reagan ku mukono ne mmutuuza mu mmotoka ne tugenda ku Calendar era awo we twatandikira eby’okuyimba.

MAAMA WE OMUTO AYOGEDDE

Josephine Kamya ng’ono maama wa Reagan omuto agamba:

Omuzimu gw’omugenzi Kasozi bwe guba gujja omwana asooka n’akaaba nnyo era olumubuuza nti kiki nga gwogera.

Gwalinga gugamba nti, ‘Reagan ne bw’anaafuna diguli mmeka kye njagala kimu ayimbe asitule erinnya lyange abantu baleme kunneerabira.

Nabagamba mwagaana kati kammutwale gye njagala.” Ate bw’ajja omwana ayogerera ddala mu ddoboozi ng’ery’omugenzi.

Olwasooka yali mu kisenge kye ng’ayimba ennyimba ze ez’edda ng’ afuuwa n’oluwa olw’oluyimba Okuwola n’okubanja era nga bw’aba ayimba ogamba kitaawe y’ayimba.

Ng'enda okutuukayo ng’amaaso agakanudde bwe yandaba n’amwenya kwe kumubuuza nti kiki, n’ahhamba nti naawe bwotyo bw’ohhambye.

Waliwo Reagan lwe yagenda e Canada omuzimu ne gujja ne gugamba nti gwagala akomewo kuno ayimbe era twali tuli awo ng’akomyewo kuno.

Omuyimbi Livingstone Kasozi azuukiridde mu mutabani we

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lab2 220x290

Engeri gy’olina okwewala okuferebwa...

Engeri gy’olina okwewala okuferebwa ku ttaka n’okufi irwa ebyobugagga byo

Hab1 220x290

Taata n’omwana bafudde lumu;Omu...

Taata n’omwana bafudde lumu;Omu bamuziise mu ntaana ya People power omulala mu ya NRM

Kab1 220x290

Dokita eyabuze akwasizza omusawo...

Dokita eyabuze akwasizza omusawo

Broronnie1 220x290

Bro. `Ronnie Mabakai alagudde bannabyabufuzi:...

OMUSUMBA Ronnie Mabakai owa ETM Church esangibwa ku Salama Road e Makindye ne Holy City e Bwerenga azzeemu okulagula...

Komerera4webuse 220x290

Abaana bazannye okufa kwa Yesu...

Abaana bazannya olugendo lw'okufa kwa Yesu ne beewuunyisa abantu e Masajja