TOP

Taata yasinziira magombe n’ansindika mu magye

By Musasi Wa

Added 5th April 2015

WIIKI essatu ezaddirira nga twakaziika taata omugenzi Ying. David Nkoobe, emyaka mwenda egiyise, nalaba ng’ensi etuuse ku nkomerero. Eyalina essanyu n’emirembe byonna byanzigwako, eyali tasubwa kusaba ku Ssande natandiikiriza mpola okuddirira nga ku St. Stephen’s Church-Budondo mpitayo luwunguko.

2015 4largeimg205 apr 2015 160011637 703x422

Bya PAUL WAISWA

WIIKI essatu ezaddirira nga twakaziika taata omugenzi Ying. David Nkoobe, emyaka mwenda egiyise, nalaba ng’ensi etuuse ku nkomerero. Eyalina essanyu n’emirembe byonna byanzigwako, eyali tasubwa kusaba ku Ssande natandiikiriza mpola okuddirira nga ku St. Stephen’s Church-Budondo mpitayo luwunguko.

Buli kye nakolanga nga ndaba tekitambula ne ndaba ng’ensi enfundiridde nga buli kimu nkyekolera nga bwe njagadde. Mu kiseera kino nali mmalirizza S.6 nga nninda bigezo kudda kale nga waliwo ekitongole ky’ebyokuzimba ekya Soft Power gye nali nkola nga poota.

Engeri gye nali ntambuzaamu obulamu bwange ndowooza ye yatanula taata gy’ali n’adda nga mukambwe muzibu gyendi. Kitange teyali mwangu n’akamu ng’omugendako mpola,” bwatyo Lt. Eric Walusansa, 31, ow’e Matuga bw’atandika emboozi ku ngeri kitaawe gye yamukambu¬waliramu ng’ali magombe.

Nga bwe bagamba nti omwana omulenzi asera na kitaawe, omukwano gwe nalina ne kitange omugezi Ying. David Nkoobe eyali omutuuze ku kyalo Namizi- Budondo mu disitulikiti y’e Jinja, gukyatinta yadde emyaka gyeku¬lungudde bukya atuva ku maaso.

Taata yafa 2006 ng’atulese abaana 16 naye mu bonna nze gw’asinga okujjira. Yatukuza mu ddiini ete¬gambika nga bw’akimanya nti olina ssabiiti gy’otosabye ng’ojja kumubendegera. Kyatukuliramu nti tulina okuba abanyiikivu mu ddiini yaffe n’obutasubwa kusaba ku Ssande kuba ekyo yakisimbangako nnyo essira.

Taata bwe yafa, teyandekerera kuba bwe twamala okumugalamiza mu maka ge e Budondo mu Jinja, mba ndi awo ne mmulaba mu kirooto ng’azze mukambwe n’agamba nti, ‘Walusansa mwana wange, obutamenya bakulu bo ku kusomesa ku yunivasite lwaki togenda mu magye kuba kye nkwagaliza’, era olwamala kino n’abula.

Kino nalowooza nti kizze buzzi mu mutwe gwange engeri gye nali mmu¬lowozaako. Oluvannyuma lw’ebbanga, yadda n’ahhamba nti, ‘Mwana wange ensi onoogiyitamu otya ng’osuuliridde bye nkugamba?’. Kuno yayongerako nti, ‘Gamba ne muto wo Waiswa addeyo ku ssomero’, n’abula.

Nawawamuka nga ntidde naye era taata teyalekera awo kunzijira. Muli nalowooza nti oba ne baganda bange nabo abajjira! Natya ne mbuuzaako muto wange Waiswa eyantegeeza nti ye tamujjirangako era talina kirooto kyonna kye yali afunye. Oluvannyuma Waiswa namutegeeza kitaffe bye yali antumye okumugamba era teyank¬aluubiriza n’adda ku ssomero n’asoma okutuusa bwe yamaliriza ku yunivasite.

Mu 2008, nga ndi ku yunivasite yadda n’ambuuza nti, ‘Lwaki onje¬meera bye nkugamba’. Obukambwe bwe yandaga ku luno natya ne njagala okusoma nsooke nkuveeko hhende mu magye wabula bakulu bange ne bahhaana. Nagumiikiriza okusoma ne kuggwa bwentyo ne hhenda mu magye nga kadeeti era kati ndi ku ddaala lya luetenanti.

Ekisinze okunneewuunyisa kwe kuba nti ajja obw’olumu nga ku luno bw’aba azze, ahhamba nti mwana wange oli ku mulamwa era ojja kuwangula naye n’Omutonzi tomusuulirira. Taata yali mukwano gwange nnyo nga buli bwe mba nnina ekinkaluubiridde nzirukira wuwe n’ampabula n’okunnuhhamya naye kati emyaka mwenda bukya afa ndaba nga waliwo ekimbulako mu bulamu bw’ensi.

OKULWALA KWE
Taata yali musajja mugumu ate omu¬vumu. Okulwala yatandiikiriza mpola ng’agamba nti awulira omusujja. Yagula empeke wabula embeera n’egaana okudda mu nteeko. Yafuna obujjanjabi mu bulwaliro obw’enjawulo okutuusa lwe twalaba ng’embeera tekyukako nga yeeyongera kubijja bubizzi ne tumut¬wala mu ddwaaliro e Jinja ng’eno gye yassiza omukka gwe ogw’enkomerero.

BYE TUJJUKIRA KU MUGENZI
Taata yali muntu w’abantu ng’akitugamba lunye nti mu nju temuli kkubo. Yali asembeza buli omu mu kiti kye era kino yakitukuutiranga obutaso¬sola mu bantu, ekitufudde kyetuli kati.

Enneeyisa mu bantu ng’akisimbako nnyo essira nti y’engeri yokka gyetuyinza okuyita mu nsi munno. Eddiini n’empisa ze yatuyigiriza kwe tutambulira ffenna.

Engeri gye twabeeranga ne maama nga taata ali ku mulimu yatusuubizanga okutwala anaasoma obulungi mu bifo ebirungi okucakala. Kino kyatusoboz¬esa okusoma obulungi. Yali ayagala nnyo abaana era awaka twabeerangawo bangi n’abeemikwano gye.

 

Taata yasinziira magombe n’ansindika mu magye

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nyiga1 220x290

Ensi egudde eddalu: Abeebyokwerinda...

TWABADDE tukyewuunya abakulira ekitongole kya ISO okulemesa ababaka ba Palamenti okulambula amakomera ag’ekimpatiira,...

Kiwa 220x290

‘Omwana ayagala okutwala ebyange...

JORDAN Ssebuliba Kiwanuka 40, atabuse lwa byabugagga bya kitaawe Mohan Kiwanuka Musisi 69, n’atuuka n’okukimuteekako...

Kolayo1 220x290

Supreme Mufti avumiridde 'safe...

SUPREME Mufti, Sheikh Kasule Ndirangwa avumiridde ebifo ebitali mu mateeka omusibirwa abantu by’ayogeddeko ng’ebiwa...

Walk 220x290

Batankanye enfa ya Bannayuganda...

POLIISI ebakanye n’okunoonyereza ku gimu ku mirambo gya Bannayuganda egyakomezeddwaawo okuva mu Buwarabu gye bafi...

Title 220x290

Kayihura bamutaddeko nnatti obutalinnya...

GAVUMENTI ya Amerika eweze eyali omuduumizi wa poliisi, Gen. Edward Kale Kayihura okulinnya ekigere mu ggwanga...