TOP

Ebyobugagga bitabudde bannamwandu ne beetwala ku poliisi e Ntinda

By Musasi Wa

Added 6th April 2015

BAKYALA b’omugenzi Haji Katende kata bakubaganire ku poliisi y'e Ntinda eyabayise ebatabaganye ng’entabwe eva ku byobugagga omugenzi bye yaleka.

2015 4largeimg206 apr 2015 102048497 703x422

Bya LAWRENCE KITATTA

BAKYALA b’omugenzi Haji Katende kata bakubaganire ku poliisi y'e Ntinda eyabayise ebatabaganye ng’entabwe eva ku byobugagga omugenzi bye yaleka.

Haji Katende yali omu ku bagagga ab’amaanyi mu Ntinda era ye yali nnannyini wooteeri ya Ntinda Forest Hotel eri emabega wa Capital Shoppers.

Yafa nga March 3, 2015 kyokka tannaweza mwezi mu ttaka, bakyala be bambalaganye lwa byamugagga bye yaleka.

Entabwe w’evudde ye mukyala mukulu Sarah Katende amaze emyaka 17 ng’anobye mu maka ga Haji Katende agasangibwa e Mpereerwe okudda ng’agamba nti naye alina omugabo ku byobugagga. Bino Namwandu Zaituni Katende yabiwakanyizza, poliisi y'e Ntinda n'ebayita ebatabaganye.

NNAMWANDU ZAITUNI ANNYONNYOLA

Muggya wange Sarah yanoba ng'omwami waffe yaakandeeta mu maka era namusanga talina wadde ekikumi. Byonna ebyobugagga by’alina tubikoze babiri.

Sarah bwe yava mu maka gano, yafuna omusajja omulala Paasita kyokka bwe yawulidde nga baze afudde kwe kudda mu maka.

Baze yalwalira ennaku bbiri n’afiira mu ddwaaliro lya International Hospital Kampala. Baatukolera ebbaluwa ekakasa nti afudde nga yatwalibwa omu ku balamu bange, Sande Ndugwa.

Nagezaako okusaba mulamu wange ayokese mu bbaluwa ampeeko kkopi n'atagimpa kwe kugeda ku poliisi ya Kira Raod ne bampa ebbaluwa ensindika e Namuwongo ku International Hospital Kampala okufuna kkopi endala.

Kyanneewuunyisizza okutuuka mu ddwaaliro nga Sarah yagenze n’omwana omukulu Isaac Katende ne bafuna ebbaluwa endala nga balimba nti ebbaluwa eyasooka yali yabula ate nga weeri.

Nasigadde nneebuuza nti kisoboka eddwaaliro okugaba ebbaluwa y'abafudde ng’agisaba talina bbaluwa ya poliisi ekakasa nti eri yabula?

Haji okugaggawala n’okuzimba wooteeri Sarah gy'akaayanira, tubadde ffenna era ssente gye tuziggye mmanyiiyo. Twatandikira mu kusuubula mafuta n'omugagga Beggary Kirumira.

Bwe twabivaamu ne tudda mu kusuubula ettaka eyo gye twava ne tuzimba Ntinda Hotel gye yakyusa erinnya n'agifuula Forest Hotel.

Haji yazaala abaana 12 mu bakyala ab'enjawulo. Bonna yabasomesa ate abamu bafumbo okuggyako abato abasatu be nnina okuli; owa S.1, P.3 ne P.1.

Haji bwe yafa, baali baagala kutundawo wabula mutabani wa Haji Katende omulenzi n'agaana nti abato balina kumala kukula.

OMWANA AYOGEDDE 

ISAAC KATENDE AGAMBA NTI:

Kitaffe yali mufumbo ne nnyaffe Sarah era baagattirwa wa 'State Attorney'. Ekifo taata we yafuula wooteeri, ge gaali amaka we twabeeranga.

Okufuulawo wooteeri kyali kirowoozo kya maama Sarah ne tusenguka n'amupangisiza awalala era wooteeri eno yasooka kutuumwa Ntinda Hotel oluvannyuma n'agifuula Ntinda Forest Hotel.

Olw'okutya obulwadde, maama yasalawo taata asigale ng'atuwa buyambi awaka kyokka nga tabeera naye. Taata yatuuka ekiseera nga takyatuwa buyambi era twagendako n'ewa Ssenga nga tunoonya kyakulya.

Ne baganda bange abaasembyeyo okumala yunivaasite babadde bava wange gye mbadde mpangisa.

Emyaka ebiri egiyise taata yali yasuulawo nnyaffe nga takyasobola na kufuna ssente zipangisa nju.

Yali yakyuka okuva lwe yali yafuna ssente nga ffe takyatuwulira nga waliwo n'abamu ku baganda bange abaakoma mu S.4 nga Taata yagaana okubaweerera ate nga ssente azirina.

POLIISI KY'EGAMBA

Akola ku kunoonyereza ku buzzi bw'emisingo ku poliisi e Ntinda, Steven Mugabi nga ye yayise bannamwandu bano, yawadde Isaac Katende amagezi, atuule nabo bakkaanye ku buli omu ky'alina okufuna ku byobugagga by'omugenzi.

Ebyobugagga bitabudde bannamwandu ne beetwala ku poliisi e Ntinda

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omwanangaluaekikajjyo11webuse 220x290

Endabirira y'amannyo g'omwana eneegakuuma...

Okuziyiza amannyo g'omwana okulwala mu bukulu otandika mu buto okugayonja n'okugajjanjaba.

Katereggangalagaapozatundawebuse 220x290

Okutunda apo nkuguzeemu embuzi...

Nasooka kusiika capati e Iganga ne nzija e Kampala okutunda apo mwe nfuna 200,000/- omwezi era nguzeemu embuzi...

Sserunkuuma2webuse 220x290

Ebbumba eryenyinyalwa abasinga...

Bulikye mmumba nkijjuukirirako maama eyambeererawo mu bulamu kyokka n'atabaawo kugabana ku ntuuyo ze.

Kap2 220x290

Agambibwa okusobya ku w’emyaka...

Agambibwa okusobya ku w’emyaka 78 bamulagidde yeewozeeko

Muv1 220x290

Ebizibu ebizze bigwa e Rakai ebitalyerabirwa...

Ebizibu ebizze bigwa e Rakai ebitalyerabirwa Kennedy Kyakuwa