TOP

Omusango gw’abakazi 2 abakaayanira omwana gutuuse mu kkooti

By Musasi Wa

Added 12th April 2015

Ku Lwokuna nga April 2, 2015 omulamuzi eyabadde alina okuwulira omusango gw’abakazi ababiri abakaayanira omwana, teyalabiseeko mu kkooti e Mubende era ne gwongezebwayo okutuusa ku Lwokuna lwa wiiki eno nga April 16.

2015 4largeimg212 apr 2015 145406850 703x422

Bya VIVIEN NAKITENDE

Ku Lwokuna nga April 2, 2015 omulamuzi eyabadde alina okuwulira omusango gw’abakazi ababiri abakaayanira omwana, teyalabiseeko mu kkooti e Mubende era ne gwongezebwayo okutuusa ku Lwokuna lwa wiiki eno nga April 16.

Ekibobbya buli omu omutwe kiri nti, abakazi ababiri basobola okuzaala omwana omu? Bombi bwe bannyonnyola ensonga zaabwe bakuleka okakasizza nti ddala akunnyonnyodde ye kazaala mwana.

Nga March,15 abakyala babiri e Kitebi baavaayo ne bakaayanira omwana. Barbara Atuhiirwe, 24 omutuuze w'e Sheema Masheruka ne Nuluh Mbabazi, 23 ow'e Kitebi baakaayanira omwana era Atuhiirwe n’atwala Mbabazi ku poliisi e Kitebi ng'agamba nti yamumubbako. Omwana ono omuwala ali mu myaka ena, buli omu amuyita erinnya lirye.

Atuhiirwe yategeeza ng'omwana we bwe baamubba nga Decem¬ber 24, 2014 bwe yali agenze e Mubende mu bbaalakisi y'e Kabamba okulya Ssekukkulu ne taata w'omwana ono omujaasi Bosco Odoch. Agamba nti omwana ono gwe yatuuma Florence Atim yamuzaalira mu ddwaaliro lya Patong Health Center mu distulikiti y’e Agago nga July 8, 2011 era n’aleeta ebiwandiiko kwe yamuzaalira ne satifikeeti kw’abadde amugemera.

Agamba baggulawo omusango gw'okubula kw'omwana waabwe ku poliisi y'e Kasambya e Mubende ku fayiro SD: 26/24/12/2014 nti wabula nga March 16, 2015 muganda we ayitibwa Tumuhiirwe Florence yamukubira essimu nga bw’alabye ku mwanawe naye kwe kujja n’akakasa nti ye ye. Ensonga baazitwala ku poliisi e Kitebi eyabasindika ku poliisi e Kasambya gye baggulirawo omusango gw'okubula kw'omwana waabwe.

Wabula eno Mbabazi baamusiba mu kkomera n'omwana ne bamumuggyako okutuusa ng'ensonga zigonjoddwa.
“Tunoonyezza omwana ono mu bulungi ne mu bubi, tetulina gye tutatuuse. Tugenze mu masabo, amakanisa na buli wamu okutuusa Mukama bw’amututuusi-zzaako,” Atuhiirwe bw’agamba.

Ekifaananyi Atuhiirwe kye yaleese ekiraga omwana gwe bakaayanira (mu maaso).

OMWANA NZE NAMUZAALA
Ye Nuluh Mbabazi eyasangibwa n'omwana agamba, omwana wuwe era tamuvangako era yeewuunya nnyo okulaba nga Atuhiirwe akaayanira omwanawe.

“Ono omwana wange era tanvangako. Bulijjo mbeera naye era ne baliraanwa baffe bamumanyi. Namuzaala wakati wa 22-23 mu January 2011, e Kammengo nga n'eddagala nalinywera mu ddwaaliro e Kammengo kyokka nazaalira mu ddwaliro lya Ggoli Health Center. Omwana wange ono ye Joyce Mukisa ate kitaawe ye Abu George Mukisa .

OMUJAASI AKA¬LAMBIDDE
Omujaasi Bosco Odoch bba wa Atuhiirwe agamba nti ye taata w'omwana akalam¬bira nti omwana y’oyo owuwe nti era omukazi Mbabazi eyasangibwa n'omwana yamulabako e Mubende nga kirabika ye yamub¬ba.
Kyokka ne George Abu Mukisa bba wa Mbabazi naye agamba nti ye taata w'omwana era naye yazze n’ategeeza nti wadde omwana ono tabeera naye, abaddenga agenda n’amulambula.

‘TETULI BAMATIVU’

Abooluganda lwa Mbabazi balaze obutali bumativu olwa poliisi y’e Mubende okusiba omuntu waabwe n'okumuteekako omusango gw'okubba omwana nga tebafunye bukakafu. Bano basaba poliisi etwale abakazi bano bombi ku musaayi olwo bamuvunaane nga bazudde amazima.

POLIISI ETANGAAZIZZA
Alan Twisiime atwala poliisi y'e Mubende agamba;
“Twali tetusobola kuta Mbabazi kubanga twali tetuli bakakafu nti ayinza okudda eno kwe kusalawo omwana bonna okumubaggyako era kati akuumirwa awakuumirwa baana abatalina mwasirizi e Mubende kubanga tetumanyi nnyini mwana mutuufu.

Abakyala bano bombi baaleeta ebbaluwa zaabwe kwe baagemera abaana wabula eya Mbabazi ng'eriko ebibulamu bingi nga n'amannya makuutize. Ate ne tufuna okuwabulwa okuva ew'omusawo omu nti ebbaluwa Mbabazi gye yalaga tekyakozesebwa, yakoma eyo mu 2,000 ne twongera okwekengera.

Mbabazi era yatulimba nti bba abeera Juba kyokka bwe yajja n’atutegeeza nti e Juba yavaayo dda abeera Kisoro nti era abadde yaakamala emyezi mukaaga gyokka nga talaba ku mwana we naye bwetwamuwa ekifaananyi ky'omwana ono nga kuliko n'abalala atulageko owuwe n’atutegeeza nti tamujjukira era tamanyi oba ye ye ekyayongera okutubuzaabuza. Kati naffe bikyatusobedde era ensonga ziri mu kkooti.

Omulamuzi yatutegeezezza nti kkooti y’ejja okusalawo ddi lwe bagenda ku musaayi okukebereb¬wa endagabutonde. Okwemulugu¬nya kwe tulina kati kuli nti ddala ono omwana bw’ataba wa Mbabazi owuwe gwe yazaala yamuteeka wa? Tulinda kkooti batwalibwe ku DNA bakebe

 

Omusango gw’abakazi 2 abakaayanira omwana gutuuse mu kkooti

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

A1 220x290

Ekyabadde mu ntujjo ya ‘Floral...

Ekyabadde mu ntujjo ya ‘Floral & Cocktail Party’ e Munyonyo ebyana gye byalagidde emisono n’emibiri nga bwe balya...

Afrigo 220x290

Lutalo ekintu akyekwatiddemu

OMUYIMBI w’ennyimba za laavu, David Lutalo (ku ddyo) kirabika akooye bapulomoota okumulyako ssente.

Tege 220x290

Kyokka mwana ggwe Lydia Jazmine!...

MWANAMUWALA Lydia Jazmine abamu gwe bayita muninkini wa gundi yamalayo. Akola bimusanyusa nga tafuddeyo ku bantu...

Kuba 220x290

Eyagaba abalongo bange yantamya...

NZE Charles Adwor, mbeera Mukono. Nasisinkana munnange mu 2014 nga nkyabeera e Jinja. Ebiseera ebyo nalina omulimu...

Melon1 220x290

Weyune enkola ya kontulakiti ofunemu...

OKUKOLA kontulakiti n’omuguzi y’emu ku ngeri omulimi n’omulunzi mw’asobola okuyita okufuna akatale k’ebintu bye...