TOP

Bakazibaggya batutte bbaabwe ku poliisi-atutamizza obwenzi

By Musasi Wa

Added 19th April 2015

MAAMA Ivan (mukyalamukulu) ne Nnaalongo Rodah Nakiwala bakazi ba Ssaalongo Frank Kiyimba bamuwaddeko obujulizi mu ofiisi ekola ku nsonga z’amaka n’asoberwa ate nga ye yasoose ku poliisi okuloopa Nnaalongo okusuulawo abaana.

2015 4largeimg219 apr 2015 111913223 703x422


Bya SSENNABULYA BAGALAYINA

MAAMA Ivan (mukyalamukulu) ne Nnaalongo Rodah Nakiwala bakazi ba Ssaalongo Frank Kiyimba bamuwaddeko obujulizi mu ofiisi ekola ku nsonga z’amaka n’asoberwa ate nga ye yasoose ku poliisi okuloopa Nnaalongo okusuulawo abaana.

Kiyimba yagenze ku poliisi e Lukaya - Kalungu n’aggula ku Nakiwala omusango gw’okuggalira Babirye Nassuuna ne Nakato Nabadda ab’omwaka ogumu mu nju ne basiibamu n’okusulamu.
Poliisi ng’ekulembeddwa AIP Francis Asiimwe baakutte Nnaalongo n’agenda ng’akaaba n’abaana be.

Ku poliisi, Nnaalongo yeegattiddwaako muggyawe Maama Ivan (mukyalamukulu) ne boogerera bbaabwe amafuukuule nti abazaalamu buzaazi tabafaako.
Baamulangidde omusawo gwe yakwanye nga kati gw’atiitiibya kyokka ng’abaana be tebasoma wadde okulya obulungi.

Maama Ivan yagambye nti, “Ssaalongo obwenzi bwamusukka! Mmulinamu abaana babiri naye tampa buyambi ewange emuwunyira ziizi.”
Ye Nnaalongo yeewolerezza nti, busoberwa bwe bumutuusa okusibira abaana mu nnyumba ng’agenze okubanoonyeza ekibabeezaawo.

Agamba nti, Nakato yakenena olw’okulya obubi yalwala era gye bamujjanjabira bakyamubanja omutwalo gumu ate Ssaalongo amutunuulira kyamuli.

Ssaalongo ng’akuba essimu okufuna obuyambi

Abapoliisi bwe baatunuulidde endabika y’abalongo bano kitaabwe b’agamba nti abalabirira bulungi kwe baasinzidde okumutabukira ne bamuggalira.

Ensonga bwe zaakyukidde Ssaalongo yakubye amasimu ag’okumukumu ng’ayita mmwan¬nyina Teddy Nakalema amutaase atwale abaana kyokka naye olwatuuse Nnaalongo n’amulumiriza okumubadala ng’amuloopedde enneeyisa ya Kiyimba.

Oluvannyuma Ssaalongo yaggaliddwa olw’okulagajjalira abaana be ng’omusango guli ku fayiro nnamba SD30/12/04/2015.

Ne Naalongo Nakiwala alina omusango gw’okuggalira abaana mu nnyumba oguli ku fayiro nnamba SD25/12/04/2015 naye olw’endaika y’abaana yateereddwa ku kakalu ka poliisi.

Maama Ivan yasekeredde omusawo nti, azimbe mpola ne Ssaalongo kubanga amaziga ge bakaaba naye ajja kugakaaba kasita anaakwanayo omulala kubanga naye bwe yamuyisa ng’akwanye Nakiwala n’amwerabiza amakaage agali e Kalungi.

 

Bakazibaggya batutte bbaabwe ku poliisi-atutamizza obwenzi

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

3f74e568a3684a1eac5d6d555644365318 220x290

Magufuli alagidde abaddukanya ekidyeri...

OMUWENDO gw’abantu abaafiiridde mu kidyeri mu nnyanja Nnalubaale gwongedde okulinnya! Pulezidenti wa Tanzania John...

Sevo 220x290

Ab'e Rubirizi basabye Museveni...

ABAKULEMBEZE b’omu disitulikiti y’e Rubiriizi basabye Pulezidenti Museveni okukoma ku bajaasi ba UPDF okukendeeza...

Budgetkasaijaweb 220x290

Bawera kusimbira kkuuli enteekateeka...

ABABAKA ku kakiiko ka palamenti akavunaanyizibwa ku byobulimi bawera kusimbira kkuuli enteekateeka z’okuyisa embalirira...

Kola 220x290

Mukolerere obukadde bwammwe - Minisita...

MINISITA omubeezi ow’ebyenguudo Gen. Edward Katumba Wamala akubirizza abantu okukolerera obukadde bwabwe nga bakyalina...

42312484102150760182472974931861717081653248n 220x290

Bobi Wine eby’okutulugunya abantu...

BOBI Wine ne banne eby’okubatulugunya babitutte mu kibiina ky’amawanga amagatte (UN ), era boongedde okukungaanya...