TOP

Abayimbi abakubye ennyimba ne zibatuukirako

By Musasi Wa

Added 10th May 2015

AKYOGERAKO si y’akireeta naye n’abayimbi baffe bangi abayimbye ennyimba kyokka bye bayimbye ne bibatuukako ekirowoozesa abantu nti balina olulimi olulanzi olulanga ebinaabatuukako nga tebinnabaawo. Bukedde Ku Ssande akutuusaako abayimbi abayimbye ebintu ne bibatuukako:

2015 5largeimg210 may 2015 100528433 703x422

AKYOGERAKO si y’akireeta naye n’abayimbi baffe bangi abayimbye ennyimba kyokka bye bayimbye ne bibatuukako ekirowoozesa abantu nti balina olulimi olulanzi olulanga ebinaabatuukako  nga tebinnabaawo. Bukedde Ku Ssande akutuusaako abayimbi abayimbye ebintu ne bibatuukako:

Stecia Mayanja: Naye ayimbira mu “Golden Band’ kyokka oluyimba olumutuukirako mu nnyimba ze lwe lwa ‘Laavu entawaanya.’ Mu luyimba luno, alaajana ng’akaabira laavu era waliwo w’atuuka n’agamba nti, ‘omutima gwange gulina akajanja, bwe ndaba gwe njagala nzenna nzigwamu.” Bwe wekkaanya by’ayiseemu mu laavu, olabira ddala nti by’ayimba bimutuukirako. Anti yayagalanako ne Charles Ssekyewa, n’adda ewa Kitaka kati ali wa Mubiru eyamukubye empeta. Kale bw’akugamba nti laavu emutawaanya towakana.

 

Mariam Ndagire: Oluyimba lwe ‘Nsibidde ku ggwe” ddala wamma kituufu yasibira wamu. Okufulumya oluyimba luno, yali mu mukwano omuzibu ne munnakatemba John Ssegawa wadde tebaagenda mu bufumbo butukuvu. Ndagire yacankalana ne Ssegawa ne baawukana naye n’okutuusa leero bwe bakubuuza bba gwe yazzaawo oyinza okwogeza ekirimi anti teri amumanyi. Kino kikakasa oluyimba lwa ‘Nsibidde ku ggwe’ engeri gye lumutuukiddeko mu bulamu bwe, nti ye w’asibira w’asibira.

 

Maureen Nantume: Ayimbira mu Golden Band ng’ayimbye ennyimba nnyingi naye olwa “Kiyungu” lumutuukirako mu kaseera kano. Mu luyimba luno, abuulirira abakyala okugumira mu bufumbo ne bwe basangayo ebizibu ebyenkana bitya. Agamba, ‘Kino ky’oyingidde kiringa kiyungu, ogenze kufumba. Omukka ne bwe gweyongera ogumiramu muli, tokifulumanga...’  

Kyokka lumutuukiddeko ddala oluvannyuma lw’okufumbirwa omusajja alina omukyala gw’alinamu n’abaana kyokka ng’omukyala ono (mukyalamukulu) agamba omusajja muzibu era yamusuulawo. Bangi bagamba nti yayingidde ekiyungu ekijjudde erikka!

 

 

Hajati Madina Bibuuza: Yakuba oluyimba ‘Bibuuza’ olukwata ku musajja eyamulekawo n’asigala mu kiwuubaalo. Mu luyimba luno, agamba nti buli kintu awaka kibuuza wa nnyinimu gye yagenda. Naye bw’obuuza bba wa Bibuuza olwaleero, oyinza obutamumanya ne kirabika nga bye yayimba bye bimulondoola.

 

Hajati Sophie Nantongo: Ono ensi y’omukwano emukaabya lulwe anti buli ekizze kimutuukako yali yakiyimbako dda okuviira ddala nga yaakayingira ekisaawe ky’okuyimba. Mu luyimba lwe ‘Amaggwa’ alaajana nga bw’alina obulumi ku mutima olw’omukwano ogutateredde.   Luno lumutukirako anti bwe yafumbirwa Kagoma teyalwayo, kyokka ewa Sam Ssimbwa azze abeera mu ntalo ne muggya we. N’ewa Kagoma yalwana entalo ne baggya be ekintu ekirese amaggwa amasongovu ku mmeeme ye.

Alina omukwano mungi naye gujjudde amaggwa agakendeeza ku ssanyu lye.

 

Bebe Cool: Oluyimba lwe ‘Byansi’ lwe yafulumya nga yaakatutumuka mu kuyimba lwalanga obulamu bwe bw’anaab-utambuza. Mu luyimba luno yagamba nti eby’ensi bya kufa kuleka, kale omuntu tasaanidde kwerumya okuggyako  okweyagalira mu ssente z’akoze. Mu kiseera kino Bebe amaka ge g’azimba e Kiwaatule gaagaana okuggwa kyokka atera okusitula famire ye ne bagenda okuwummulako emitala w’amayanja ne balya ssente. Bwe bakubuuza ebyobugagga bye, oyinza okutakula omutwe naye nga ssente azikola. Kino kiragira ddala nti ebya Bebe bya nsi kuleka.

 

Jose Chameleone: Oluyimba lwe “moto moto” lulaga engeri ensi gy’etaamye n’ebizibu ebisusse. Eno y’embeera Chameleone gy’alimu leero olw’emisango gy’awerennemba nagyo egy’okulwana omuli n’ogw’omuntu eyafiira mu maka ge gye buvuddeko era kigambibwa nti n’amaka ge yagalekawo olw’ebizibu ebimusukkiridde. Bw’olaba bwe yakola lonki ya Wale wale eyasooka ku Serena omwoto gwayitirira abantu bwe baali abatono kwe kugiddamu wiiki ewedde. Ate lonki eno yagirabirawo  n’agituuma ‘Wale wale Double Trouble’.

 

 

Eno atawaana na gwa muntu eyattirwa ewuwe, eno King Saha amutaddeko akazito, ekyo bwe kitaba ‘double trouble‘  kiba ki?

Abayimbi abakubye ennyimba ne zibatuukirako

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

3f74e568a3684a1eac5d6d555644365318 220x290

Magufuli alagidde abaddukanya ekidyeri...

OMUWENDO gw’abantu abaafiiridde mu kidyeri mu nnyanja Nnalubaale gwongedde okulinnya! Pulezidenti wa Tanzania John...

Sevo 220x290

Ab'e Rubirizi basabye Museveni...

ABAKULEMBEZE b’omu disitulikiti y’e Rubiriizi basabye Pulezidenti Museveni okukoma ku bajaasi ba UPDF okukendeeza...

Budgetkasaijaweb 220x290

Bawera kusimbira kkuuli enteekateeka...

ABABAKA ku kakiiko ka palamenti akavunaanyizibwa ku byobulimi bawera kusimbira kkuuli enteekateeka z’okuyisa embalirira...

Kola 220x290

Mukolerere obukadde bwammwe - Minisita...

MINISITA omubeezi ow’ebyenguudo Gen. Edward Katumba Wamala akubirizza abantu okukolerera obukadde bwabwe nga bakyalina...

42312484102150760182472974931861717081653248n 220x290

Bobi Wine eby’okutulugunya abantu...

BOBI Wine ne banne eby’okubatulugunya babitutte mu kibiina ky’amawanga amagatte (UN ), era boongedde okukungaanya...