TOP

Taata alangidde abako obufere ku mbaga ya muwala we

By Musasi Wa

Added 10th May 2015

WAABADDEWO katemba mu kkanisa ya Laver Transformation Ministries e Wamala mu ggombola y’e Nabweru oluvannyuma lw’abagole okugattibwa nga kitaawe w’omuwala takkirizza.

2015 5largeimg210 may 2015 115345013 703x422

Bya SOFIA NALULE

WAABADDEWO katemba mu kkanisa ya Laver Transformation Ministries e Wamala mu ggom¬bola y’e Nabweru oluvannyuma lw’abagole okugattibwa nga kitaawe w’omuwala takkirizza.

Busingye Joseph ne Jacqline Mukisa baagatiddwa mu bufumbo Obutukuvu mu kkanisa eno ku Ssande ewedde Omusumba Ssande Muniina ng’ono ye yaleeteddwa munne Omusumba Milly Ssekakande asumba ekkanisa eno okukola omulimu guno.

Ng’abagole batuuse, omukolo gwatandise n’okutendereza oluvannyuma n’Omusumba eyabadde ow’okubagatta n’alinnya ku kituuti. Bino byonna okubaawo ng’ab’ehhanda bakubira kitaawe w’omugole omuwala Omusumba James Kizza Nambaale essimu ayanguwe okutuuka kubanga okugatta kwabadde kunaatera okubaawo ate nga ye yabadde alina okuyingiza muwalawe mu kkanisa.

Ssaawa bwe zaaweze omunaana Omusumba Nambaale nga tannatuuka Omusumba Milly Ssekakande nnannyini kkanisa n’alagira munne Ssande Miniina okutandika emikolo gy’okugatta abagole.

Eyabagasse yayise omuko eyategeerekeseeko erya Lubyayi era yavuddeyo n’agamba nti, “Ggwe mukoddomi wange nkukwasizza mwannyinaze Mukisa omuyise bulungi simwagalako wadde akamogo njagala nziremu okumulaba ng’atunula nga bwe mmukuwadde.”

Emikolo gy’okwenaanika empeta gyagenze mu maaso n’okussa omukono ku satifikeeti y’obufumbo. Olwagifunye ne bayisa ebivvulu mu kkanisa. Bino bibadde bikyagenda mu maaso kitaawe w’omuwala n’ayingirawo kyokka teyanyeze kantu n’ayolekera awaabadde aw’okusembeza abagenyi. Yalin¬nye mmotoka n’agenda ku Mulago Community Centre ewaatuuziddwa abagenyi.

Omusumba James Kizza Nambaale (kitaawe w’omuwala) ng’ono y’akulira Abasumba b’abalokole e Nsangi Central olwayitiddwa okubaako by’ayogera ng’omuzade yatandise bwati;

“Ndi munyiivu nnyo wabula abagole mbaagaliza obufumbo obulungi. Mugondere obufumbo bwammwe munywerere ne ku Yesu Kristo.

Mukulembeze eddiini n’essanyu mu bufumbo bwammwe. Wabula ndi munyiivu abakulembeze b’ekkanisa gye mugattiddwa okukola ekikolwa ekyo nga nze omuzadde siriiwo kikyamu. Ye omuko aliwo oyo gwe simanyi eyagabye omwana wange. Mmwe abakulembeze b’ekkanisa eyo mukomye obufere mukomye obuyinza ku baana abatali bammwe.”

TAATA BAMWANUKULA

Omusumba olumaze okwogera ebyo n’omusumba Milly Ssekakande n’ayimuka;
“Ssebo nze ndi Musumba w’abantu amanyiddwa okukola emirimu gya Katonda nzigya mu bafere b’olowooza ndi muntu

wa buvunaanyizibwa. Abaana baffe abo bagoberezi ba Yesu mu kkanisa yange? Ffe tuliwo kutuukiriza ba¬gole baffe kye baba batusabye. Nze ng’Omusumba saategedde nteekateeka zammwe”.

Ng’Abasumba bamalirizza okulaga buli omu eryaanyi, Omugole Mukisa yasituse n’atandika okuyimba nga bw’ajaganya nga bw’ayingidde obufumbo obutukuvu. Yayambid¬dwaako okusaakaanya kw’abantu okuyitiridde mu maaso ga kitaawe James Nambaale.

TUTUUKIRIDDE TAATA

Omusumba James Nambaale ki¬taawe wa Mukisa ategeezezza bino;
“Jackline yayanjudde bba mu maka gange e Nsangi era ye y’ahhambye nnoonye mmotoka etu¬tuusa ku mbaga ajja kutusindikira ssente era ne nkikola. Emmotoka yasimba mu luggya okuva ku makya bwe zaawera esssaawa nnya nga sinnafuna kasimu ne nkuba essimu wabula tebaazikwata.

Mukulu wange yankubira essimu nti, abagole bali mu kugattibwa ne mbasaba bagumiikirizeemu nga nsobeddwa. Yansindikira mmotoka kyoka hhenda okutuuka ku kkanisa ng’abagole ne bandaga nti, tebandi¬iko era bamalirizza okugattibwa.

Nagenda e Mulago ku Com¬munity Centre awaali ebyokunywa kwe kubuuza Omusumba Milly Ssekakande ani yagasse omwana wange era ani yamuyingizza mu kkanisa n’anziramu nti, hhenda kubamalira obudde.

Nneebuuza ani oyo eyakeera oku¬munzaalira eyayimirira mu kugatta nti ye muzadde we? N’omuko eya¬waayo muwala wange simumayi. Ye ebbaluwa eva ewange ng’omuzadde ekkiriza emikolo okugenda mu maaso ani yagibawa?

N’eyagatta talina bukugu kubanga ogatta otya abagole nga tomaze kukakasa bazadde baabwe?
Kye simanyi oba ekkanisa eyo esookedde ku mwana wange oku¬gatta kubanga singa ebadde egatta teyandikoze bya kifere.

Naye omusajja oyo eyawasizza muwala wange mmujjukira mu kwanjulwa ebintu bye yandeetera byali bya kunjooga kyokka ebyo byonna nali mbigmidde.

Naye okunsuubiza ne balemererwa okutuukiriza ate omwana n’alemwa okuntegeeza nti ebintu bigaanyi ne banfuula omusiru kyantabude.

Tebyakomye awo muwala wange yannyimye ne keeki y’embaga! Yandayiridde obutadda wange nti navumye Omusumba we. Kye mmanyi obufumbo bwa Jacqline ne Busingye bwa kifere.”

 

Taata alangidde abako obufere ku mbaga ya muwala we

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

3f74e568a3684a1eac5d6d555644365318 220x290

Magufuli alagidde abaddukanya ekidyeri...

OMUWENDO gw’abantu abaafiiridde mu kidyeri mu nnyanja Nnalubaale gwongedde okulinnya! Pulezidenti wa Tanzania John...

Sevo 220x290

Ab'e Rubirizi basabye Museveni...

ABAKULEMBEZE b’omu disitulikiti y’e Rubiriizi basabye Pulezidenti Museveni okukoma ku bajaasi ba UPDF okukendeeza...

Budgetkasaijaweb 220x290

Bawera kusimbira kkuuli enteekateeka...

ABABAKA ku kakiiko ka palamenti akavunaanyizibwa ku byobulimi bawera kusimbira kkuuli enteekateeka z’okuyisa embalirira...

Kola 220x290

Mukolerere obukadde bwammwe - Minisita...

MINISITA omubeezi ow’ebyenguudo Gen. Edward Katumba Wamala akubirizza abantu okukolerera obukadde bwabwe nga bakyalina...

42312484102150760182472974931861717081653248n 220x290

Bobi Wine eby’okutulugunya abantu...

BOBI Wine ne banne eby’okubatulugunya babitutte mu kibiina ky’amawanga amagatte (UN ), era boongedde okukungaanya...