TOP

Ruth Katemba yamusingira okubalirira ebitabo

By Musasi Wa

Added 10th May 2015

“KATEMBA kitone ate omulimu gwe nasomerera gwa bubalirizi bwa bitabo era gyombi ngiddukanya bulungi”, Bwatyo Ruth Nalubiri, amanyiddwa nga Hajati lye yaggya mu muzannyo ‘Byansi’ ogwalagibwanga ku Bukedde ttivvi bw’annyonnyola engeri gy’akolamu emirimu ebiri, gwe yasomerera ne gw’alinamu ekitone.

2015 5largeimg210 may 2015 163833867 703x422


Bya HAFSWA NANKANJA

“KATEMBA kitone ate omulimu gwe nasomerera gwa bubalirizi bwa bitabo era gyombi ngiddukanya bulungi”, Bwatyo Ruth Nalubiri, amanyiddwa nga Hajati lye yaggya mu muzannyo ‘Byansi’ ogwalagibwanga ku Bukedde ttivvi bw’annyonnyola engeri gy’akolamu emirimu ebiri, gwe yasomerera ne gw’alinamu ekitone.

Agamba nti, “Emabegako nga sinnadda mu katemba, nali muk¬kakkamu, abasinga nga bandaba ng’omukyala omukambwe ddala lwa nsonga nti ebigambo byange byalinga bitono nnyo. Muno nno mwe nasirikiranga ndowooza ng’ekitambo kya

katemba kiri mu kikula kinzisizza kasiiso. Lwakya olunaku lumu ne kimbagula era bye bino bye mundaba nzannya nga n’ebimu bye nzannya nange waliwo lwe nneebuuza oba ddala ye nze abizannya, enjogera enny¬angu eri nti ‘olumu nange nneetya ku kye mba nkoze.

HAJAT (NALUBIRI) Y’ANI?
Nzaalibwa abagenzi omwami Eri¬yasaf Kasozi Kabenge n’omukyala Florence Namale Kasozi e Ky¬engera mu ggombolola y’e Nsangi mu Wakiso disitulikiti. Ndi mwana waakutaano mu famire ey’abaana 10 ng’eno mwe muli n’omubaka Mike

Kennedy Ssebalu, omuki¬ise mu lukiiko lwa Palamenti y’obuvanjuba bwa Afrika.
Nasomera Kawempe Muslim Pri¬mary School, Gayaza High School, n’e Trinity College Nabbingo gye nasomera taamu bbiri zokka ez¬isembayo mu S.6 ng’eno bantwa¬layo oluvannyuma lw’abasawo okusaba bazadde bange banfunire essomero ly’okumpi olw’okuba nali ntandise okulwalalwala.

Nayita bulungi ddala era ne mpeebwa essomo lya BA Social Sciences/ Economics ku yunivasite e Makerere. Era olwantikkira saa¬tuula, nneeyongerayo e Nakawa gye nasoma emyaka ebiri nga nkuguka mu byobusuubuzi.
Nneegata ku ttendekero lya In¬stitute of Bankers eryali lisangibwa ku U.C.B mu kiseera ekyo era eno nasomanga bwe nkola mu U.C.B kati Stanbic bank.

ATANDIKA DDI KATEMBA?
Okuzannya emizannyo kitone kizaale kye nazuula nga nkyasoma mu pulayimale. Nze eyakulem¬beranga ennyimba z’essomero ku nnaku z’abazadde. Bwe nagenda e Gayaza, nafuukira ddala kafulu mu kkwaaya y’essomero era nga ne mmala nnyega ekigambo nti nalwadde nga tuliko em¬paka z’okuyimba ze twabanga tu-gendamu, ng’ondabira abayizi bwe bawotoka bonna ne baggwaamu n’essuubi ly’obuwanguzi.

Ye nga bakuleka batya! Ha kale nga bako¬la ekisoboka kyonna okulaba nga nkulembera ennyimba ezaabanga zimpeereddwa.

E Gayaza nawangulirayo ebi¬rabo ebiwerako. Okuyimba ne katemba byali kitundu ku nze kwe kusalawo ne ku haaya (S.5-S.6) okubigatta ku masomo ge nali nkola. Nzijukira e Nabbingo twali abayizi babiri ffekka abaakola essomo lino ery’okuyimba kuba nali nkola HEL(History, Economics Literature) naye tekyammalaamu maanyi kuba kye nali nkola nga nkyagala.

Nalubiri azannya nga Hajati mu Byansi lwe baamutikkira e Makerere

Mu kiseera kino, mwannyinaze Mike Ssebalu ye yali asoma ku King’s College e Budo kyokka nga naye era muzannyi wa katemba n’okuyimba nga tutera n’okusisinkana mu ku¬vuganya okw’enjawulo.

Bwe twali tulindiri¬ra ebigezo bya S.6, waliwo omwami George Kayovu (kati mugenzi) eyali omusomesa e Budo, Mike gye yali asomera. Ono ye yatukwatako nga beegasse n’omwami omulala Steven Rwangyezi eyali asomesa ku Lubiri SS ne batandika okututendekera ddala.

Bano ababiri be baatandikawo ekibiina kya Ndere Troupe nga ffe bayimbi era abazinnyi be batandika nabo mu kibiina.
Bwe nali e Gayaza, Bakayimbira bajja ne batuzannyira akatabo ‘A man for all seasons’ guno gwe gwali omulundi gwange ogwa¬sooka okubalaba era omuzannyo guno gwannyumira nnyo nange ne nkubamu akafaananyi nga ntu¬uzizza abantu ndi mu kugabana nabo kitone kyange.

Okuva olwo natandika okuyingira emizannyo gyabwe nga buli luwummula bw’ojja eka kyabanga kizibu okunsangayo era ng’abannoonya babasindika ku Pride Theatre gye baali bazanny¬ira mu kiseera ekyo.

Ebigezo bya S.6 bwe byadda nga mpeereddwa ekifo okusoma e Makerere nali nnina okusooka okwesonyiwa katemba mmalir¬ize ebitabo. Nabimaliriza mu 1997 lwe bantikkira ne mpeebwa omulimu gw’okubala ebitabo mu U.C.B kati Stanbic bank.

Nzijukira mu 1998, Mw. Matovu ne mukyala we bajja butereevu awaka e Kyengera ne bansaba okubeegattako mbayambe oku¬batereerezaako ebitabo byabwe lwa nsonga nti mu kiseera ekyo baalinamu obuzibuzibu mu bitabo bino.
Bano baali ng’abazadde gyendi era saalina we hhaanira okug

okwegoba mu bbanka ne ntandika okukolera Bakayimbira ku Pride Theatre okutuuka kati era omulimu guno nze ngukola mu kibiina kino.

Lumu nze nga ndowooza sikyalina kye nsobola kukola ku siteegi, Mw. Charles James Ssenkubuge yajja n’ahhamba nti ogenda ku¬zannya ekifo kya kansala (abuulirira n’okubudaabuda abayizi) mu muzannyo ‘School canteen’.
Omuzannyo guno gwatambuzibwa mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo era nalabanga abantu nga buli lwe nalinyanga ku siteegi nga bankubira enduulu ey’okusaakaanya ne bwe nabanga sinnanyegayo kigambo wadde ekimu.
Okuva kw’olwo siddanga mabega.

Nalubiri mu kiragala azannya nga Hajati mu Byansi

Omuzannyo omulala ogumpadde ettutumu gwa ‘Byansi” ogwala¬gibwanga ku Bukedde ttivvi mwe nnazanyanga nga Hajati omu ku baka Haji Bumaali. Muno mwe mwava n’erinnya abantu lye bam¬batizaako erya ‘Hajati’ wadde nga nze Ruth.
EBIRUNGI BY’AFUNYEEMU:

Ettutumu, kinnyambye okutam¬bulako mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo.

Nfunye ebirabo okuva mu bantu abanyumirwa bye nzannya okugeza waliwo lwe nagenda ewa Hajati Nuulu Mpungu okugula gomesi z’omugole mu Byansi, olwandabako yambuuza kimu nti ‘ate kati ggwe ogula otya gomesi nga wendi?’ wano we yampeera gomesi, ekitambaala nga kw’agasse n’okubintungira nze ne nkola gwa kwambala bwambazi. 

OBUZIBU: Eddembe lyange ng’omuntu sikyalirina lwa nsonga nti ne bwe mbaako kye njagala okukola ku lwange sirina bwe nkikola.
Abasajja bantawaanya nga bankubira amasimu agatalina mu¬lamwa ne mu matumbibudde.

Buli lwe ndabikako ku kkubo, abantu bampogganira nnyo ekim¬malako emirembe.
Nsaba abasajja bonna aban¬tawaanya ku masimu okunneeso¬nyiwa kuba tebalina bye njagala ate sinoonya, nze nnina omusajja wange alimu buli kyonna kye nneetaaga mu musajja.

Okwekuuma nga ndi fiiti ate omulamu obulungi buli ku makya nziruka okwetooloola enju yaffe emirundi etaano. Bwe mba siri mu katemba nkola gwa kubala bitabo bya Bakayimbira Dramactors

 

Ruth Katemba yamusingira okubalirira ebitabo

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Wab1 220x290

Obukodyo bw’okozesa okulwanyisa...

Obukodyo bw’okozesa okulwanyisa obuggya mu baana

Mal1 220x290

Malokweza ayogedde ebimuwangaazizza...

Malokweza ayogedde ebimuwangaazizza emyaka 90

Kad1 220x290

Maama wa Patrick Kaddu musanyufu...

Maama wa Patrick Kaddu musanyufu olw'omwana we okuteeba ggoolo eyatutte Cranes mu AFCON

Ken1 220x290

Ssentebe w'ekinnawattaka agobeddwa...

Ssentebe w'ekinnawattaka agobeddwa ku bukulembeze mu bunnambiro!

Seb2 220x290

Ababaka bakomezzaawo eby'enfa ya...

Ababaka bakomezzaawo eby'enfa ya Nebanda