TOP
  • Home
  • Bukedde Ku Ssande
  • Nnamwandu bamulekwa gwe babanja ebyobusika akalambidde: Abawendulidde poliisi n'ebakubamu ttiyaggaasi

Nnamwandu bamulekwa gwe babanja ebyobusika akalambidde: Abawendulidde poliisi n'ebakubamu ttiyaggaasi

By Musasi Wa

Added 17th May 2015

ENSONGA za Nnamwandu Janat Nsiko Nakamatte eyasibidde bamulekwa ebweru ne bamala ennaku munaana nga balemedde ku kikomera ziranze bw’abawendulidde poliisi ebakwate.

2015 5largeimg217 may 2015 121640100 703x422

 Bya MADINAH SEBYALA

ENSONGA za Nnamwandu Janat Nsiko Nakamatte eyasibidde bamulekwa ebweru ne bamala ennaku munaana nga balemedde ku kikomera ziranze bw’abawendulidde poliisi ebakwate.

Nnamwandu olulabye abaana nga balemeddeko okumala ennaku munaana, ku Lwokuna yalinnye ekikomera n’amalamu omusubi kyokka n’asinziira gye yeekukumye n’awendula poliisi okufuumuula abaana ba bba.

Bano baakwatiddwa ne babasibira mu kaduukulu ka poliisi y’e Kira.

Bino byabaddewo ku Lwokuna mu maka g’omugenzi, Haji Ali Nsiko mu Zooni ya Kireka B mu Kira Town Council oluvannyuma lw’abamu ku bamulekwa 26 ku abo 36 omugenzi be yazaala okugumba mu maka gaabwe nga bagamba nti bagenzeeyo kuteesa ku kwabya lumbe lwa kitaabwe olumaze emyaka 16 nga terwabizibwa.

Okukwata bamulekwa kwakulembeddwaamu akulira okunoonyereza ku misango mu Kampala East, Herbert Wanyoto eyazinze amaka ne bawa bamulekwa essaawa bbiri zokka nga baamuse ekifo kino.

Afande Wanyoto wakati ng’agenze okugumbulula bamulekwa.

Baabadde bakyabiyita bya lusaago poliisi n’ekozesa eryanyi okubagumbulula nga kw’etadde n’okukanyuga ebintu bye babadde bakozesa omwabadde emmere, engoye n’amaseppiki, ekikomera ne kiggalwa.

Wakati mu kubagumbulula bakira bamulekwa babuuza, ‘Lwaki mutugobaganya mu maka ga kitaffe? Era poliisi kyagitwalidde essaawa ttaano nga yeezooba nabo okutuusa bwe yabakubyemu ttiyagaasi eyabafulumizza ekikomera.

Baalayidde okusigala ebweru w’kikomera olutalo we lwavudde ne lubaamu okulwana n’okweyiira amazzi agookya wakati w’abaana naddala omujja na nnyina bakira gwe balumiriza okwegatta ne nnyina ne bagoba abaana abakulu.

Kino kyawalirizza poliisi bonna okubazingako n’ebatwala e Kira. Baalayidde okufaafaagana n’omuntu abalemesa okufuna ku byobugagga bwa kitaabwe.

POLIISI KY’EGAMBA

Eyakulidde okugumbulula bamulekwa, Herbert Wanyoto agamba: Tuzze wano okugumbulula bamulekwa kuba ensonga baazitutte mu kkooti nga bakulemberwa bannaabwe okuli Madinah Nsiko, Nakamya, Aisha Namulindwa ne Haruna Muddu.

Ebimu ku by’obugagga ebikaayanirwa, amayumba g’abapangisa e Kireka n’ebizimbe okuli amaduuka.

Ensonga ziri mu Kkooti Enkulu eya famire ku fayiro nnamba 33 /2015. Kkooti yabayise batuule ne Nnamwandu nga May 28 kati lwaki bagumba wano ng’ate baddukira mu kkooti.

Twagadde kutaasa bantu okubadde n’abaana abato ababadde bamaze wiiki nga beggalidde mu nju tebafuluma nga bakulu baabwe bagumbye wabweru. Tusaba bamulekwa baleke kkooti ekole ogwaayo.” 

Bamulekwa oluvannyuma baayimbuddwa kuba tebaasuzeeyo ne bawera okulemera ku nsonga okutuusa ng’olumbe lwabiziddwa nga n’ebyobugagga bigabanyiziddwa era bateekateeka kuddayo bagumbe mu maka gaabwe.

EBYOBUGAGGA EBIBATABUDDE

Mutabani w’omugenzi omukulu, Badru Nsiko agamba: Waliwo amayumba g’abapangisa agasuka mu 200 e Kireka nga muno Nnamwandu buli mwezi asoloozaamu ssente eziwera obukadde 80, essomero lya Pioneer e Kireka saako n’ettaka kwe baazimba kiyosiki ne konteyina.

Ebimu ku by’obugagga ebikaayanirwa, amayumba g’abapangisa e Kireka n’ebizimbe okuli amaduuka.

Obuzibu ffe twagala buli mwana abeeko ky’afuna kuba ne Nnamwandu etteeka terimuwa buyinza ku byabugagga byaffe kuba yafumbirwa ew’omusajja omulala n’azaala n’abaana.”

NNAMWANDU JANAT NSIKO ANNYONNYOLA

Okusinziira ku byogeddwa bangi bansalidde omusango, bangi balowooza ndi mubbi. Naye ekiriwo, nze obutalabika nkikola kutaasa bulamu bwange kuba abaana abo banneewerera okunjiira asidi oba okuntema.

Okubeera mu bintu, baze ye yabimpa ate n’ekirala nange nalina ebyobugagga ebyange, balowooza nabifuna ntya nagenda wa muzimu ne gubimpa?

Ebyo bye bansibako nti nagaana okwabya olumbe, balimba baali balabye Nnamwandu eyeeyabyako olumbe wano mu Buganda?

Ebyo bye bagamba nti nafuna obuyinza obuddukanya ebintu by’omugenzi mu bukyamu balimba, nagoberera mateeka gonna era mu kiseera ekyo Omulangira Ndawula yampa ebbaluwa enkakasa Certificate of no Objection ne ntwalirako n’ekiraamo baali ludda wa emyaka gyonna?”

SSENTEBE WA LC1 KIREKA B SSAALONGO BWABYE BY’AGAMBA

Nze obuzibu bwonna mbuteeka ku baakika kya Mbwa. Bano be balina obuvunaanyizibwa okutuuza Nnamwandu ne bamulekwa bamanye obuzibu we buva basale amagezi.

Kirabika omugenzi yalemererwa okugatta ab’ekika ne famire ye kale bw’afudde ne baasigala nga tewali gwe bawuliriramu, ky’ova olaba ng’abaana be beefaako.

Ggwe ssebo okumala emyaka 16 gyonna ng’olumbe lw’omuntu Omuganda terwabizibwanga?

Nnamwandu bamulekwa gwe babanja ebyobusika akalambidde: Abawendulidde poliisi n''ebakubamu ttiyaggaasi

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nant 220x290

Oluyimba ‘Tukigale’ lutabudde Carol...

Omuyimbi Carol Nantongo atabukidde Rachael Namiiro okuyimba oluyimba lwe olwa 'Tukigale' nga tamuwadde lukusa....

Dha 220x290

Embeera y’omubaka Dhamuzungu yeetaga...

Omubaka Dhamuzungu asimattuse okufiira mu kabenje k’e mmotoka, embeera ye yeetaga kusabira.

Aidslogo 220x290

Najeemera ebiragiro by’abasawo...

Asiah Tusingwire mulwadde wamukenenya. Yejjusa lwaki teyagoberera basawo kye baamugamba eky’okumira eddagala okusobola...

Muddo1 220x290

Okulunda kugatteko okulima omuddo...

Asiimwe ye nnannyini ffaamu ya Itungo Farm esan­gibwa ku kyalo Kyoga mu Wakiso ng’etudde ku yiika ssatu n’ekitundu...

Lusuku1 220x290

Endabirira y’olusuku mu biseera...

OLUVANNYUMA lw’okukozesebwa ebbanga eriwerako nga sirina kye nganyuddwaamu nabivaako ne mpangisa ekibanja ne nnima...