TOP
  • Home
  • Bukedde Ku Ssande
  • Abooluganda gwe baakomeredde emisumaali mu ngalo takyebaka: 'Buli lwe ngwawo ngugumaka otulo ne tumbula"

Abooluganda gwe baakomeredde emisumaali mu ngalo takyebaka: 'Buli lwe ngwawo ngugumaka otulo ne tumbula"

By Musasi Wa

Added 7th June 2015

Omuntu bw’atulugunyizibwa ennyo, wadde enkovu eziri ku mubiri kungulu ziyinza okuwona n’okubula ne zibula, naye eziri ku mutima zirwawo okuwona oluusi n’obutawonera ddala! Abantu bano basigala bafuna ebirooto ebitiisa, bakyawa abantu nabo ne beekyawa.

2015 6largeimg207 jun 2015 142923817 703x422

 Bya Vivien Nakitende

Omuntu bw’atulugunyizibwa ennyo, wadde enkovu eziri ku mubiri kungulu ziyinza okuwona n’okubula ne zibula, naye eziri ku mutima zirwawo okuwona oluusi n’obutawonera ddala! Abantu bano basigala bafuna ebirooto ebitiisa, bakyawa abantu nabo ne beekyawa.

Omu ku baatulugunyiziddwa mu ngeri embi nga ye ebiwundu eby’oku mubiri kungulu n’ebiri munda mu mutima bikyali bibisi ddala ye Sylivia Nakyeyune.

Omukazi Sylvia Nakyeyune abooluganda lwe gwe baakomeredde emisumaali mu ngalo nga bagamba nti abaloga atwaliddwa mu kitongole ekibudaabuda abantu abatulugunyiziddwa, ekya African Center for Treatment and Rehabilitation of Torture Victims (ACTV)  ayongere okujjanjabwa n’okubudaabudibwa.  

Nakyeyune agamba nti baganda be baamufumita emisumaali  nga bamulumiriza nti abaloga okubabuza emirembe nti kale kwe kumukomerera  engalo  ezireeta eddagala aleme kuddayo kuloga. 

Agamba nti, kye yayiseemu kimulemesezza okwebaka nga buli lw’agwawo, awawamuka n’okugugumuka. 

Annet Nantume amujjanjaba agamba: “Nakyeyune tugenda kumujjanjabira bwereere okutuusa ng’awonye n’okumubudaabuda asobole  okwerabira ebyamutuusiddwaako. Bw’anaawona olwo tugenda mu kkooti okuvunaana abaamukozeeko ekikolwa kino.” 

Ekitongole kino ekisangibwa e Kamwokya kigamba nti kijjanjabye n’okubudaabuda abantu abatali bamu abatulugunyizibwa. Waliwo bano ng’enkovu z’okungulu ku mubiri zaawona dda, naye ng’ebiwundu ebiri ku mutima bikyagaanyi okuwona. Mu bano mwe muli Steven Ssentamu.

Abatulugunyiziddwa battottola

Steven Ssentamu mutuuze w’e Ntinda agamba: Mu 2000 mu biseera bya Wembley, nali ndi Nsambya mu ddwaaliro nga hhenze kulaba ku mwannyinaze eyali azadde, mba nva mu ddwaaliro aba Wembley abaali bakulembeddwamu omugenzi Kiwana bannyimiriza ne bankuba nga bwe bansaba emmundu ekyasasamaza abantu era oluvannyuma bampalula ne banteeka  mu mmotoka yaabwe ne bantwala.

Bantwala mu kifo ekimu mu Ndeeba ne bandaga ekitaba ky’omusaayi ne bantegeeza nti singa sibawa ssente ze baali baagala obukadde butaano nange nnali ndi wa kuttibwa ng’abalala. Banzigyako essimu ne batandika okukubira abantu bange amasimu nga babasaba ssente.

Ebiseera ebyo nnali mbeera Maganjo twagenda awaka okwaza emmundu etaaliyo olwo ne banyagako doola 3000 ezaaliyo ne batwala n’ezimu ku ngoye ze baagala.    

Nga tuvudde awaka bantwala mu nnyumba ya Clement House ku Clement Hill mu kibuga aba Wembely gye baatuulanga ne bantulugunya, bampakira ebigoye mu kamwa era nga nsiiba ku miggo.

Mu kiyumba  ekyo twasulanga  n’emirambo gy’abantu abattibwanga. Olw’okutulugunyizibwa n’emiggo nazirika, nagenda okudda engulu nga ndi mu ddwaaliro lya Mbuya Miltary Hospital e Mbuya gye banzigya ne bantwala mu kkomera e Kigo. 

Banteekako emisango gye simanyi nti ndi mubbi wa mmotoka wabula kkooti ne nnejeereza.

Oluvannyuma lwa bino nagenda  mu kitongole kya ACTV abannyamba okunzijanjaba ne mpona ebisago bye nnali nfunye.

Wadde nawona naye ebirooto eby’entiisa  bijjudde mu bulamu bwange olw’ebikolobero ebyankolebwako era buli bwe nzijukira mpawamuka mu tulo ne ndekaana.

Sylvia Nakyeyune abooluganda lwe gwe baakuba emisumaali mu ngalo ng’ajjajabibwa. 

Bano era bannyamba ne tugenda mu kkooti ne mpaabira gavumenti era omusango ne ngusinga omwaka oguwedde. Bandiyirira obusente butono obukadde munaana naye n’okutuusa kati sinnazifuna.

Omusawo ayogedde

Omusawo Annet Nantume ow’ekitongole kya ACTV (African Center for Treatment and Rehabilitation of Torture Victims) agamba: Abantu be tusinga okufuna abamu bajja tebatambula olw’okutulugunyizibwa okungi abamu nga baamenyeka emikono n’amagulu. Ekizibu kye tusanga oluusi n’eno gye tubajjanjabira ate abamu ku bantu abaabatuusaako obulabe basigala babalondoola ssaako naffe okututiisatiisa kale ffenna bye tuyitamu si byangu.”

Ye Dr. Kenneth Bagonza owa ACTV agamba, omuwendo gw’abantu abatulugunyizibwa be tufuna buli wiiki guli wakati wa 30 ne 50 era bangi babeera bawawamuka olw’ebyo bye baayitamu ate abamu baafuna ne puleesa.

Samuel Hebert Nsubuga akulira ekitongole kino agamba: ACTV yatandika mu 1993 era ng’okutandika waaliwo abantu baali batulugunyizibwa naye nga tebafuna bwenkanya era nga tebafiibwako ekyaleeteranga abamu okwekyawa ne batuuka n’okwetta.

Ekitongole kino kya bwannakyewa era kikola ku kujjanjaba abantu abatulugunyizibwa mu ngeri zonna, okubabudaabuda n’okubayamba okukomawo mu mbeera zaabwe ez’obuntu nga bino byonna bya bwereere.

Emirimu gyakyo giri wansi w’ekitongole ekirwanirira ky’eddembe ly’obuntu ekya Uganda Human Rights Commission era oluusi be batuweereza abantu ne tubajjanjaba oluvannyuma netubayambako okugenda mu mbuga z’amateeka okufuna obwenkanya.

Tulina olukusa okuva mu gavumenti era tulambula amakomera ag’enjawulo mu ggwanga okulaba abantu abatulugunyizibwa embeera gye balimu ne tubayamba.

Okusinziira ku kunoonyereza kwaffe ebitongole ebikuumaddembe bye bikyasinze okutulugunya.  Buli mwaka tukola ku bantu abali wakati wa 1,500 ne 2,000. Abantu bangi abatulugunyizibwa batya okuvaayo nga batya nti bandiddamu okulumbibwa.

Obujjanjabi obugabibwa 

Tugaba obujjanjabi obusinga obukulu oba obusookerwako kuba eddwaaliro lye tulina lya Health Center II kale singa omuntu obulwadde bwe buba busukkako, tumwongerayo mu malwaliro amanene nga Mengo, Kadic,  Mulago n’amalala  era yonna ffe tumujjanjaba okutuusa ng’awonye olwo ne tugenda mu mbuga z’amateeka okufuna obwenkanya.

Omuntu atulugunyiziddwa ayita mu  bingi ebikosa obwongo n’omubiri  kale  eddwaaliro lyaffe lirina abakugu abajjanjaba ebintu ebyenjawulo n’okubudaabuda abalwadde okukomawo  mu mbeera zaabwe ez’obuntu.

Tulina abasawo abayamba abo ababeera bakoseddwa mu ntegeera yaabwe, abayunga amagumba kuba abamu tubafuna bamenyeddwa amagulu n’emikono nga tebasobola na kutambula n’ababudaabuda.

Etteeka ly’okutulugunya litambula kasoobo

Phillip Kateeba munnamateeka agamba: Mu 2012 olw’okuba eddembe ly’abantu lyali lisusse okulinnyirirwa, twaleeta ekiteeso ku tteeka ku kutulugunya abantu eriyitibwa The Prevention and Prohibition of Torture Act lyayisibwa  wabula ekyennyamiza etteeka lino okuliteeka mu nkola litambula kasoobo.

Emisango gye bavunaanibwa

“Okusinziira ku bantu  be tukolako abasinga baateekebwako emisango gy’okubba, okutta, ettaka, obuyeekera n’emiralala olwo ne batulugunyizibwa awatali ayamba.

Twagala abakuumaddembe abatulugunya abantu bavunaanibwe ssekinnoomu. Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Fred Enanga yategeezezza nti waliwo abaserikale baabwe abasiiwuufu b’empisa ng’ebikolwa ebyo babikola ssekinnoomu naye naffe tusaba abaserikale abo bavunaanibwe ssekinoomu era nze ndaba nga kino kijja kubakkakkanya era kikendeeze ebikolwa bino.”   Yenna atulugunyiziddwa asobola okutukubira ku nnamba ey’obwereere eri 0800202791 ng’eno ya kitongole kya actv.

Abooluganda gwe baakomeredde emisumaali mu ngalo takyebaka: ''Buli lwe ngwawo nguguma otulo ne tubula"

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pala0 220x290

Boogedde ebikankana mu kuziika...

DR. David Mugimu eyafudde ng’alumiriza abaserikale okumunyagako obulindo bw’ensimbi, eggulo yaziikiddwa e Kagganda...

Occc 220x290

Abagagga 36 baggyiddwaako abaserikale...

ABAGAGGA mu bitundu bya Kampala, Wakiso, Mukono, n’awalala baggyidwaako abaserikale abaabaweebwa eyali akulira...

Nyimba 220x290

Balaze embalirira y’ensimbi z’emisinde...

KATIKKIRO Charles Peter Mayiga yeebazizza minisitule y’ebyobulamu olw’okukwata obulungi ebintu Obwakabaka bye bwagiwa...

Mknsamia4 220x290

Omubaka gwe yazaalamu omwana n'agaana...

Omubaka wa palamenti agaanye okuwa obuyambi omuwala gwe yaggya mu bbaala n’amuzaalamu omwana-yeekubidde enduulu...

Bba 220x290

Bba w’omuserikale bamukwatidde...

BBA w'omuserikale wa Poliisi bamukwatidde mu bubbi ng’amenya edduuka abatuuze ne bamukuba ne bamwasa omutwe ne...