TOP

Engeri mmange gye yafa ennemesezza okuzaala

By Musasi Wa

Added 17th August 2015

Emyezi omukaaga egyaddirira nga twakaziika mmange omugenzi Catherine Namuyanja Tomusange emyaka kkumi kati egiyise, nalaba ng’ensi etuuse ku nkomerero. Eyalina essanyu n’emirembe byonna byanzigwako, eyali asoma obulungi nga sirina lwe njosa ku ssomero natandiikiriza mpola okuyitangayo luwunguko.

2015 8largeimg217 aug 2015 093356090 703x422

Bya PAUL WAISWA

Emyezi  omukaaga egyaddirira nga twakaziika mmange omugenzi Catherine Namuyanja Tomusange emyaka kkumi kati egiyise, nalaba ng’ensi etuuse ku nkomerero. Eyalina essanyu n’emirembe byonna byanzigwako, eyali  asoma obulungi nga sirina lwe njosa ku ssomero natandiikiriza mpola okuyitangayo luwunguko.

Mu kibiina natuulangamu naye ng’ebirowoozo byonna biri ku mmange  nga buli kadde mbeera mu kweraliikirira. Engeri gye nali ntambuzaamu obulamu bwange ndowooza si bwe kyalina okubeera era nga nsuubira  kino kye kyatanula maama gy’ali n’adda ng’ankuutira obuteeraliikirira nnyo,” bwatyo Diana Tomusange  ow’e Najjanankumbi bw’atandika emboozi ye ku ngeri  nnyina gye yamukambuwaliramu ng’ali e magombe.

Nga bwe bagamba nti teri kisinga mukwano  gwa maama, omukwano gwe nalina ne mmange Namuyanja gukyatinta wadde emyaka gyekulungudde bukya atuva ku maaso.

Maama yafa March, 3, 2005 ng’atulese abaana munaana ne kitaffe Godfrey Tomusange. Nze ndi  waakutaano naye mu baana bonna nze gw’asinga okujjira.  

Yatukuliza mu ddiini etagambika nga singa sitaani yakukemanga n’otosaba ku sabbiiti, awo nga teri kulya mmere waka nga n’oluusi embooko enyooka.

Maama bwe yafa, teyandekerera, mu 2005 we yafiira nali mu S.2 yanzijira mu kirooto nga mmulaba era nga buli lw’ajja ahhamba nti, ‘Diana lwaki tolekera awo kweraliikirira wadde nabava ku maaso, osaana okimanye nkyali wamu nammwe baana bange,” olwamala ebyo n’abulawo.

Kino nalowooza nti kizze buzzi mu mutwe gwange engeri  gye nali mmulowozaako ennyo. Ng’ebbanga lyetoolodde nakogga omubiri ne gunzigwako muli nga mpulira sirina mirembe naye olw’okuba nali nsoma abasinga baalowooza nti nsoma nnyo era ebitabo bye binkozza.  

Akomawo n’ankuutira

Olumu nali ntudde mu kibiina akawungeezi, maama n’ajja ng’agamba nti, ‘Mwana wange lekera awo okulowooza kwo n’okweraliikirira ennyo, eno y’ensonga lwaki tokyalina mirembe’. Kino kyennyini ate kyannyongera kunneeraliikiriza kuba nafuluma ekibiina ne nzira ebweru ate ne ntandika okukaaba olwo nga n’emmere sirya.   

Mu kiseera kino nalaba ng’ebyange bikomye era nga mu ssaala ze nsoma nsaba kimu Omutonzi antwale gye yatwala mmange. 

Okujja kwa maama kwandowoozesa nti n’abalala yali abajjira kwe kubuuza ku baganda bange Irene Nazze ne Dora Nankomba abantegeeza nti mpawo kye baloota.  

Mu 2007, nga ndi mu S.4 yadda naye ate ng’ayogera ebigambo by’ebimu ng’emabega nti, ‘Diana lekera awo okundowoozaako ennyo n’okweraliikirira. Bino bye nkugamba by’ebirina okukulaga nti ndi wamu naawe era na mwenna abaana bange. Si kibi okundowoozaako naye ate tekigasa nnyo. Njagala olowooze ku bulamu bwo  obw’omu maaso kuba  nkwagaliza na buwanguzi mu bigezo byo ebya S.4.’

Maama we yahhambira ebigambo by’okulowooza ku bulamu bwange obw’omu maaso nanyumizaako ku taata naye n’anzizaamu amaanyi n’okumpa ku magezi nti nneesonyiwe okubeera obw’omu era mbeere nnyo mu mikwano gyange n’okwenyigira mu bintu ebisobola okummalako ebirowozo nsobole okusoma ebitabo byange nga mpaawo kinzijjira, ekintu kye nakola. 

Taata bye yayogera n’ebyo maama bye yahhamba mu kiseera ekyo byalinga ebinsumulula kuba eby’okumulowooza nabivaako ne nsoma ebitabo byange era ebibuuzo bigenda okudda nga nkoze bulungi.

Nasobola okuyita  S.4 nga n’ekyasinga okunneewunyisa kwe kuba nti okuva lwe nagenda nga nkomya okumulowoozako ennyo n’okweraliikirira, natandika okufuna omubiri.

Ensangi zino singa maama mba mmuloose, tekikyankola bubi ate mbyerabira mangu okusinga luli.

OKULWALA KWE

Mmange engeri gye yafaamu n’okutuusa olwaleero ekyantiisa okuzaala. We yafiira yalina olubuto lwa myezi musanvu. Olunaku lwali Lwakutaano nga March 3, 2005, yatandika okusesema ne tulowooza nti musujja.

Engeri gye yali olubuto ate olukulu, yaddusibwa mangu mu ddwaaliro e Lubaga n’afuna obujjanjabi era ne tudda awaka e Najjanankumbi. Tuba twakatuuka awaka ate n’atabuka ng’akaaba obulumi obw’amaanyi mu lubuto. Twakyusa ne tudda e Lubaga ng’abakulu bagamba waakiri bamulongoose bamuggyemu omwana wabula Mukama ng’alina enteekateeka ze era bwatyo mmange n’afiira mu ssanya kyokka n’omwana tebaasobola kumuwonya. 

Wadde nga kati nkuze, buli lwe nzijukira engeri mmange gye yafaamu ntiira ddala eby’okuzaala.  

Waliwo lwe naloota nga nange nfa nzaala ne ntya nnyo era buli kirooto kino lwe nkijjukira eby’okufuna olubuto mbisenza luti. 

Engeri mmange gye yafa ennemesezza okuzaala

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Katikkiromayigangaalinaboogezibokumikoloabeetabyekumukologwoluwalokubulanekulwokubiri002webusenu 220x290

Katikkiro Mayiga abakubirizza okunnyikiza...

Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga akubirizza Ab'e Buluuli ne Ssese okunnyikiza obulimi kubanga teri mulimu...

Manya 220x290

Abakazi abasinga tebamalaamu kagoba...

Abakazi emirundi 6 ku 10 gye beegatta mu kaboozi tebatuuka ku ntikko. Wabula babuulire kwekoza nga abamazeemu akagoba....

Saalwa703422 220x290

Teddy ayanukudde Bugingo ku bya...

TEDDY Naluswa Bugingo ayanukudde bba Paasita Aloysius Bugingo ku kya ffiizi z’abaana ne ssente.

Florencekiberunabalongowebuse 220x290

Alina olubuto lw'abalongo ne by'olina...

Abasawo balaze abalina olubuto olulimu omwana asukka mu omu bye balina okukola obutabafiirwa nga tebannazaalibwa...

Research1 220x290

Ebizibu ebibeera mu kutambuliza...

ABATANDIKA omukwano ekimu ku birina okwewalibwa ku kugutambuliza mu kweteeka mu butaala ate nga si bwoli.