TOP

Mukyala wange nnamukwanira emyaka 10 - Dr. Jack Jagwe

By Musasi Wa

Added 30th August 2015

DR. Jack Ganaafa Musoke Jagwe y’omu ku basawo abaasooka okufuna ddiguli mu busawo wano mu Uganda. NgaAugust 21, 2015 yajaguzza okuweza emyaka 50 mu bufumbo ne mukyala we Berry Nansimbi Jagwe gwe yamala emyaka 10 ng’amukwana okutuusa lwe yamutengula omutima n’amukuba empeta nga August 21, 1965. Oku

2015 8largeimg230 aug 2015 155310583 703x422

 Bya VIVIEN NAKITENDE

DR. Jack Ganaafa Musoke Jagwe y’omu ku basawo abaasooka okufuna ddiguli mu busawo wano mu Uganda.
NgaAugust 21, 2015 yajaguzza okuweza emyaka 50 mu bufumbo ne mukyala we Berry Nansimbi Jagwe gwe yamala emyaka 10 ng’amukwana okutuusa lwe yamutengula omutima n’amukuba empeta nga August 21, 1965. Okuva olwo agamba nti babadde mu ssanyu eritagambika.
 Obulamu bwabwe okuva lwe baasisinkana babunyumya bwe bati;

OKUSISINKANA E KINGS COLLEGE BUDO

BWE nnali nsoma mu Kings College Budo mu 1956 nga ndi mu S.4 ne wajjawo omuwala eyali omuto era ng’alabika bulungi.
Ono teyali mulala wabula ye mukyala wange Berry Nansimbi gwe ndi naye olwaleero lwe tujaguzza emyaka 50 mu bufumbo obutukuvu.
Mukyala wange yajja e Budo ng’ali mu S.2 era nze nnali nkulira abayizi e Budo nga buli muyizi anzisaamu ekitiibwa. Kale nnafuna akakisa ako okutandika okusonseka Nansimbi obugambo wabula mu bubba kuba e Budo baalinga batukuuma nnyo.

Dr. Jagwe ne mukyala we ku kabaga k’okujaguza emyaka 50.

EMBEERA BWE YALI E BUDO

Amateeka gaalinga mangi ku ssomero bwe zaaweranga essaawa 12 ez’olweggulo nga buli muyizi adda mu kisulo kye. Kale nnatumanga babaka nga mpandiika obubaluwa ne babutwalira Nansimbi okumulaga nti mwetaaga era mufaako ate ne be nnatumanga nga tebantenguwa.

Ebiseera ebyo okusoma kw’abaana abawala kwalinga kutono ddala. Abawala ngatulina batono ku ssomero kale nga bw’obaako gw’ofunye olina okumunyweza ate n’ofuba okulaba ng’abasomesa tebamanya.

Ebiseera ebyo abasomesa abasinga baabanga Bazungu.
Nansimbi nnamala emyaka 10 nga muperereza okutuuka lwe twagattibwa mu bufumbo obutukuvu nga August 21, 1965. Bwe
nnatuula S.6 ye nnamulekayo e Budo. Nneegatta ku ttendekero e Makerere okusoma obusawo. 

Wabula olw’okuba nnakimanya nti abawala e Budo batono ate nga mukyala wange yali muwala mubalagavu, kumpi buli lunaku naweerezanga ebbaluwa mu posita oluusi n’okutuma omubaka okumutegeeza nti nkyamwetaaga.

Dr. Jagwe ne mukyala we (mu maaso) n’abaanabaabwe lwe baajaguza emyaka 25 mu bufumbo.

JAGWE ANG’AMBA EKIGAMBO KY’OMUKWANO EKISOOKA

BERRY Nansimbi Jagwe agamba: Nga April 18, 1956, Jagwe lwe yasooka okunjatulira ekigambo nti “Mukwano, nkwagala
n’omutima gwange gwonna” era kino yaking’amba maaso ku maaso. Bannange kyampitirirako kubanga ebiseera ebyo ye yali
akulira abayizi ku King’s College Budo nga buli muyizi amutya.

Nnasooka kwewuunya kiki kye nsinza abawala abalala abaali e Budo ekimuwalirizza okung’amba nti anjagala. Ebiseera ebyo waaliyo abavubuka abalala bangi abaali banneegwanyiza naye bonna nnabayimiriza ne nsalawo ng’ende ne Jagwe kuba nnalaba nga n’obukulembeze bwe ku ssomero bulungi nga kale ndaba nange yali ajja kumpisa bulungi.

Ensonga zino twasalawo okuzikuuma nga za kyama tusooke tumalirize emisomo gyaffe wabula nga mu mitima gyaffe tweyagala era nga twewandiikira obubaluwa buli omu n’ategeeza munne engeri gy’amwagalamu.

Abaana ba Dr. Jagwe ku mukolo gw’okujaguza emyaka 50.

‘Twagattibwa Kampala abagenyi ne tubasembereza e Masaka’

JAGWE agamba nti, “nga mmalirizza okusoma diguli yange esooka mu busawo mu 1965 bampa omulimu okukola mu ddwaaliro lya Gavumenti e Mbale ne bampa ennyumba y’okusulamu eyali ennene naye nga nneebakamu nzekka. 

Olw’ekiwuubaalo nnasalawo tugattibwe ne Nansimbi. Ebiseera ebyo naye yali amalirizza obusomesa ku Buloba Junior Teachers Training College era olumu nnakeera ku makya ne ng’enda gye yali asomesa ne mmusaba anfumbirwe era naye n’akkiriza ne tugenda mu bazadde be ne tweyanjula era ne mmuwasa.

Ebiseera ebyo nga tewali bya kusondera mbaga nga bwe guli kati. Ssente zange ez’okukuba Nansimbi empeta nnali nnazisonda dda kuba nnamala emyaka 10 nga nkimanyi nti nnina okumuwasa. Twagattibwa mu Lutikko
e Namirembe nga August 21, 1965 ng’omusumba Rev. Benon Lwanga Kaggwa ye yatugatta.

Abagenyi twabasembeza ku Queens Court e Makerere ne tumala ne tugenda mu kyalo e Mpugwe mu bazadde bange nayo ne tuddamu embaga, Honeymoon twagimalirako mu Tropical Hotel e Masaka.

Pulezidenti Museveni (ku ddyo) ng’akwasa Dr. Jagwe omudaali.

LAAVU YAFFE NZUNGU

Olw’okuba ffenna twasomera mu masomero ga baloodi e Kings College Budo ebiseera ebyo ng’abaana ba baloodi bokka be basomerayo ate nga n’abasomesa abasinga obungi Bazungu kale twakula n’enkula ya Kizungu era mu maka gaffe tweyisa Kizungu ne laavu yaffe nzungu era etunyumira.

Abagamba nti obufumbo buba bwa mbirigo mbeewuunya kuba obwange bunnyumidde ate bukyannyumira.
Sirabanga ku nnaku kuba nnabutandika na mmotoka baze gye yampa nga yaakampasa ate nga buli kye
nsongako omwami ng’aleeta kale mbusanzeeemu ssanyu jjereere kuba situukangako ku mbeera endowoozesa nti oba
nnobe nve mu maka gange 

Pulezidenti yasiima Dr. Jagwe okuweereza 

DR. Jack Jagwe Ganaafa Musoke y’ani? Mutuuze w’e Bunga, ye mutabani w’abagenzi Eriya Ganaafa ne Asinansi Nanziri ab’e Mpugwe mu disitulikiti y’e Masaka.

Yasomerako mu Kigwanyizi pulayimale gye yatuulira ebigezo bya P.6. Oluvannyuma yeegatta ku Kako Junior SS n’atuulirayo Junior eyookusatu gye yava ne yeegatta ku Kings College Budo mu 1954.

Eno gye yatuulira siniya eyoomukaaga. Yeegatta ku ttendekero ly’e Makerere mu1957 n’asoma diguli mu busawo gye yafuna
mu 1964. Y’omu ku baasooka okufuna diguli mu busawo ng’Abazungu bokka be bakkirizibwa nga okufuna diguli mu busawo.

Abamu ku bazzukulu ba Bajagwe

Yagenda e Bungereza mu 1967 n’asoma dipulooma mu busawo okujjanjaba obulwadde bw’ensusu (Dermatology)
ne dipuloma mu MRCP-UK (Diploma of the Royal college of Physician of the United Kingdom).

Yakolera mu ddwaaliro ekkulu e Mulago okumala emyaka 50 okuva 1970 ng’ajjanjaba endwadde ez’enjawulo (Physician) era ye yali akulira woodi ya 4B e Mulago.

Yakulirako eddwaaliro ly’e Mulago (Medical Director) emyaka 15 okuva 1971 -1986.

Yaweebwa ekitiibwa kya Fellow of Royal College of Physician of London okuva e Bungereza, yafuna ekitiibwa kya Fellow
of Royal College of Physician okuva e Edinburg.

Mu 1987-1992 yeegatta ku minisitule y’ebyobulamu nga y’avunaanyizibwa ku kugaba abasawo gye balina okukolera
n’okulambula emirimu gye bakola.

Mu 2014 Pulezidenti Museveni yamuwa omudaali gwa Zaabu okumwebaza okukolera ekitongole ky’ebyobulamu
okumala emyaka 50.

Era mubaka (trustee) Joint Medical Store (Protestant& Catholic).
Yaliko ssentebe wakakiiko akaddukanya eddwaaliro ly’e Mengo okuva mu 1981- 1997. Yaliko ssentebe w’akakiiko
akaateekawo; National Drug Policy formulation and Essential Drugs Programme era omu ku baatandika ekitongole ekivunaanyizibwa ku ddagala ekya National Medical Stores (NMS) and the National Drug Authority (NDA).

Muky. Jagwe ye mukulu w’essomero Omuddugavu eyasooka e Gayaza

Muky. Berry Nansimbi Jagwe y’ani?

Yasoma busomesa mu ttendekero lya Buloba TTC eryali ery’abawala bokka era yasomesaako ku Buloba Junior SS ne Kako Junior SS. Mu 1965 yeegatta ku Nabisunsa Girls School ng’asomesa essomo lya Economics eno gye yaggyibwa n’afuulibwa omukulu w’essomero lya Gayaza Junior School era ye mukyala Omuddugavu eyasooka okukulira essomero lino mu 1970-1975.
Yasomesaako ne ku Buganda Road Pulayimale eby’okusomesa n’abinnyuka mu 1980 awo ne yeegatta ku Uganda Commercial Bank ng’akola ku bantu abajjanga okutendekebwa mu bya bbanka.

Okutuuka mu 1992 awo nadda awaka okufumbira omwami.
Yaliko mmemba ku kibiina ky’abakyala ky’Abakulisitaayo ekya YWCA (Young Women Christian Association) era
yaliko Pulezidenti waakyo okumala emyaka esatu, atambudde amawanga mangi okuli Amerika, Sweden, China
n’amalala.

Dr. Jagwe ne mukyala we nga bavubuka

Kwe tutambulizza obufumbo emyaka 50

Ekisookera ddala kwagalana, nze ne baze Jagwe tulina omukwano ogutagambika era buli omu ayagala munne kyenkanyi. Kale olw’omukwano ogwo omungi omuntu ne bw’asobya munne kimwanguyira okumusonyiwa kuba twagalana.

 Ffenna tuva mu maka agalimu eddiini era naffe tulina eddiini nnyingi mu mitima gyaffe, kale amaka agalimu eddiini gawangaala era ne gaguma.

Obugumiikiriza kimu ku bituyambye okuvvuunuka ebyo ebiba bitukaluubiridde ne tutapapa kusalawo kubi ekituyambye okuwangaala n’okumanya nti ku nsi tekuli malayika kale omu bw’asobya omusonyiwa.

Omukwano gwaffe, ffe twesooka okweyagala kuba twayagalana tuli bato ne tubeera ba mukwano nnyo kale omukwano ogwo ogwava obuto ebadde mpagi luwaga nnyo mu maka gaffe okuwangaala.

Mu maka gaffe tetunywa mwenge era tolitusanga mu bbaala nti twagenze kunywamu naye tugulayo wayini ne tunywerako awaka waffe ne mukyala wange naye nga tetugenze mu bbaala

 

Mukyala wange nnamukwanira emyaka 10 - Dr. Jack Jagwe

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

No Matching Document

Emboozi endala

Nant 220x290

Oluyimba ‘Tukigale’ lutabudde Carol...

Omuyimbi Carol Nantongo atabukidde Rachael Namiiro okuyimba oluyimba lwe olwa 'Tukigale' nga tamuwadde lukusa....

Dha 220x290

Embeera y’omubaka Dhamuzungu yeetaga...

Omubaka Dhamuzungu asimattuse okufiira mu kabenje k’e mmotoka, embeera ye yeetaga kusabira.

Aidslogo 220x290

Najeemera ebiragiro by’abasawo...

Asiah Tusingwire mulwadde wamukenenya. Yejjusa lwaki teyagoberera basawo kye baamugamba eky’okumira eddagala okusobola...

Muddo1 220x290

Okulunda kugatteko okulima omuddo...

Asiimwe ye nnannyini ffaamu ya Itungo Farm esan­gibwa ku kyalo Kyoga mu Wakiso ng’etudde ku yiika ssatu n’ekitundu...

Lusuku1 220x290

Endabirira y’olusuku mu biseera...

OLUVANNYUMA lw’okukozesebwa ebbanga eriwerako nga sirina kye nganyuddwaamu nabivaako ne mpangisa ekibanja ne nnima...