TOP

Omusajja olumaze okumwanjula n’atundira mukazi we mu nju

By Musasi Wa

Added 4th October 2015

OMUSAJJA abadde yaakanjulwa, atabudde abooluganda bw’asuulidde mukyala we ebintu wabweru n’amugamba nti amaka yagatunda dda.

Bya JOSEPH MAKUMBI

OMUSAJJA abadde yaakanjulwa, atabudde abooluganda bw’asuulidde mukyala we ebintu wabweru n’amugamba nti amaka yagatunda dda.

Isaac Menya Nalugoda, nnannyini kkampuni enzimbi eya Bageya Construction Company esangibwa e Kamuli Kireka yasuulidde mukyalawe Prossy Nansamba gwe yayanjula mu September w’omwaka oguwedde ebintu wabweru n’amulagira okugenda abeere mu muzigo kubanga ennyumba yagitunze.

Nansamba annyonnyola bwati; “Maze ne Nalugoda emyaka mwenda ng’omwana waffe omukulu wa myaka musanvu era bulijjo abadde mwami eyeeyagaza okutuusa mu July w’omwaka guno embeera ye bweyakyuka.

Alina omukazi Omutanzania gwe manyi nga maama Anna gwe yaleeta awaka n’amulambuza ennyumba ne kkalina gye tuzimba n’amugamba nti mwe tugenda okusengukira.

Okuva omukyala ono bwe yajja awaka omusajja yakyuka, emirembe ne gituggwaako.
Buli kiro twazuukukanga ne tusaba naye bwe nnamuzuukusanga ng’agaana. Lumu yansanga nga nsaba n’ankuba nga kwatadde n’okunnangira nti musabira afe.

Omukozi w’awaka Fiina Nabirye agamba nti: Nnagenda okujja awaka wano ng’omwami alina obutakkaanya n’omukazi ng’olumu yabazuukusa mu kiro n’abagamba nti bajje bawulire ng’omukazi amusabira afe.

Olunaku olumu omwami yangoba awaka nti muviire era nnasula wa Kojja wange e Kireka. Omukyala yampita era bwe yansangawo n’ambuuza ekinkomezaawo kwe kumugamba nti omukyala yampise muyambe ku mwana.

Amaka ga Nalugoda agaatundiddwa

Waliwo bwe yajja n’aggalawo ennyumba nga yasooka ku nziggyako ssimu era olwamala okussaako amakufulu n’anziriza essimu nga bw’agamnba nti kalabe omukazi bwanaayingira ennyumba.

Poliisi tennyambye: Nansamba agamba nti agenze ku poliisi y’e Kira enfunda eziwerako kyokka n,atayambibwa. era yasaba
n’omusirikale amukuume olw’okutya omusajja okumutuusaako obulabe ne bamumuma.

Ku Lwokutaano, Nalugoda yapangisizza bakanyama ne balumba amaka banfulumye n’ebintu ebyabadde bisigadde mu nnyumba babitwale mu kazigo e Bweyogerere gye baatwala ebyasooka kyokka baganda be abaakulembeddwa mwannyina
Charles Buyinza ne babalemesa okubitwala.

Mu kulwanagana kuno Buyinza yakubiddwa n’afuna ebisago ku mukono ne baguyuza kyokka poliisi n’emuggulako omusango
ogw’okukuba mukodomiwe Menya nga guli ku fayiro nnamba SD: 14/25/09/2015 .

Kyendowooza omusajja annimba kubanga mu bbanga lya myezi mukaaga okuva bwe yanziggyako emmotoka gye yampa mu kwanjula yakaleeta abantu mukaaga nga bonna bagamba nti yabaguza ennyumba eno era ng’endagaano gye baleeta teyawuka kubanga omuntu gw’agamba nti ye yagula y’omu. Nsaba abakulu mu poliisi banyambe 

Omusajja olumaze okumwanjula n’atundira mukazi we mu nju

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

No Matching Document

Emboozi endala

Youngmulo 220x290

Akabinja ka Young Mulo kabadde...

AKABINJA ka Young Mulo, mu myezi mukaaga gyokka kabadde kaakatta abantu 11 mu Makindye ne Lubaga wokka!

Siiga 220x290

Boogedde ebifo gye batunda pikipiki...

Omwogezi wa Poliisi mu ggwanga, Fred Enanga yagambye nti Mulo ne banne baabagambye nti pikipiki ze babadde babba...

Yomba1 220x290

Aba Flying Squad bakutte omulala...

AB’EKITONGOLE kya poliisi ekya Flying Squad Unit bongedde okukwata abagambibwa okutta ababodaboda n’okubabba. Ku...

Dybala 220x290

Juventus etaddewo obukwakkulizo...

ManU eyagala kugula Dybala wabula Juventus egamba nti erina okutuukiriza obukwakkulizo bwonna bw'eba yaakumutwala....

Temu 220x290

Alondodde mukazi we gye yanobera...

OMUSAJJA alondodde mukyala we gye yanobera n’amusala obulago n’amutta ng’amulanga kumukyawa.