TOP
  • Home
  • Famire
  • Abantu 15 babuziddwawo mu famire emu

Abantu 15 babuziddwawo mu famire emu

By Vivien Nakitende

Added 13th March 2016

Abantu 15 babuziddwawo mu famire emu

Hd1 703x422

David Sserunga (ku kkono) ng’ali ne mukyala we Hadijah Nakabugo bwe yali tannagenda Dubai n’omwana waabwe Mukisa David Sserunga (mu kifaananyi) n’aba famire ye abalala.

ABANTU 15 abaabuzibwawo nti bagenze Dubai, beeraliikiriza aba famire zaabwe, kyokka ng’eyabatwala bwe bamukubira essimu, akakasa nti bali bulungi, wadde bo bennyini buli agenda tadda wadde okukuba essimu!

David Sserunga ow’e Kyengera, ebizze bibeerawo bimusobedde kubanga mukoddomi we Wahab Ssali, eyali akola mu katale ka St. Balikuddembe, yasooka kumutegeeza nti afunye mukwano gwe amutwala e Dubai kyokka bwe yatuuka okugenda yabula bubuzi.

Ssali okugenda mu 2011 yalekawo mukyala we Hajara Nabukenya n’abaana baabwe bana okuli; Ryan, Latif, Wahab ne Wahid. Waayitawo omwaka gumu olwo mu 2012 omuntu agambibwa nti ye yatwala Ssali n’anona omukyala (owa Ssali) n’abaana be.

Sserunga agamba nti eyabakubira essimu nti abatwala Dubai, ennamba y’essimu gye yakubirako y’e Kenya. “Nali nkyalowooza ku baagenda be twali tetuwuliza, mukyala wange Hadijah Nakabugo n’antegeeza nti mukulu we Ssali yali akubidde mukulu we (owa Nakabugo) nti bakuhhaanye aba famire bagende e Dubai, nti kuba yabafunidde emirimu egifuna ekiralu.

Nasooka ne mmugaana naye n’alema ng’agamba nti tayinza kusubwa mukisa. Yagenda mu 2013 n’omwana waffe David Mukisa Serunga.” Nakabugo n’abooluganda lwe baasimbula we baali bakuhhaanidde ewaabwe e Kinaawa nga August 8, 2013 ku ssaawa 11:00 ez’oku makya nga batambulira mu mmotoka mpangise, gye baagamba nti yabatwala e Ntebe ku kisaawe.

“Nasemba okuwuliziganya ne mukyala wange (Nakabugo) ng’agamba nti batuuse ku kisaawe e Ntebe kyokka oluvannyuma lw’essaawa ng’emu, essimu zaabwe zonna zaali zivuddeko n’okutuusa kati!” Sserunga bw’agattako mu nnaku ennyingi. “Abalala abaagenda kuliko baganda ba mukyala wange abaava gye baali bafumbiddwa.

 nnyumba ya ahab sali gye yaleka e inaawa Ennyumba ya Wahab Ssali, gye yaleka e Kinaawa.

 Kuliko; Nakato, Madinah ne Amina. Ye mukoddomi wange Umar Kiwanuka yagenda n’abaana be babiri; Arafa, 10 ne Sarah, ow’emyaka omusanvu (7). Omukadde anzaalira omukyala naye baamutwala olwo ne baweza omuwendo gwa bantu 15 abatalabikako.”

Sserunga yeekengedde nti lino lyandiba ettemu, ng’abantu bano baabuzibwawo oba waliwo ekintu kye baabayingizaamu ekitategeerekeka! Emyaka gigenda mw’esatu tabawuliza. Bagamba baagenda Dubai naye bonna abaagenda tekuli yali alina paasipooti!

Polii si ky’ega mba Sserunga bwe yatwala ensonga ku poliisi e Nateete, baamusindika ku poliisi y’e Kyengera (gy’abeera). Yagambye nti omuserikale gwe yasangayo olwabimunyumiza, yamusekerera nti ensonga ze teziriimu mulamwa.

Moses Binoga, akulira okulwanyisa okukukusa n’okusaddaaka abantu mu Poliisi ya Uganda, yagambye nti ensonga zino yabadde aziwulira mulundi gusooka kuba tafunangako lipooti bw’eti.Yasuubizza okuzikolako okuzuula ekituufu.

‘MAAMA AFUDDE OMUTIMA GW’ABAANA GUMULUMA

’Angel Kalungi, muto wa Hajarah Nabukenya (eyabula) yannyonnyodde engeri nnyaabwe, Amina Mbabazi, gye yafa ng’omutima gw’omwana we ne bazzukulu be gumuluma: “Maama yawerekera ku muwala we n’abaana be nga bagenda.

Bwe yakomawo, n’atutegeeza nti okusinziira ku bwe yalabye omusajja abatwala, yeekengedde. Oluvannyuma yakiddihhananga nti okusinziira ku ntegeera ye ne bw’awulira munda, omwoyo gumugamba nti abantu bano bandiba nga battibwa!

Yatwala akaseera nga yeeraliikirira era yafa kibwatukira nga wayise emyezi nga munaana mu 2014.” Isma Kalule, eyasigala ng’akuuma ennyumba ya Umar Kiwanuka, yagambye nti, “Waayitawo wiiki bbiri nga bagenze, omusajja n’ankubira essimu nga yeeyise Kiwanuka n’ahhamba nti baatuuka bulungi era nti nange neeteeketeeke bagenda kunnona. Wabula eddoboozi nalyekengera nga mpulira ng’eritali lya Kiwanuka kennyini lye nali mmanyi!”

AB’OLUGANDA BEERALIIKIRIVU

Safina Nabuuma muto wa Nabukenya agamba nti, “Bandeka mu nnyumba ngikuume naye siddangamu kubawuliza. Nnyaffe yafa mweraliikirivu olw’abaana be era bwe baba nga bakyaliyo, kirabika tebakimanyi nti maama yafa. Tetwekakasa oba gyebali bakyali balamu.”

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

6 220x290

Yiga bwe bafumba enkoko erimu enniimu...

Yiga bwe bafumba enkoko erimu enniimu

Omumyuka 220x290

Pulezidenti Museveni teyeeyibaala...

OMUBAKA wa Busiro East mu palamenti, Medard Lubega Sseggona ategeezezza Pulezidenti Museveni nti teyeeyibaala nti,...

Kutte1 220x290

Nakibinge akunyizza Haruna Kitooke...

JJAJJA w’Obusiraamu, Omulangira Kassim Nakibinge, Omulangira Kakungulu Kalifaani, Sheikh Nuuhu Muzaata ne bamaseeka...

And 220x290

Tondaba akanyiriro embeera mbi...

HARUNA alombojjedde Sipapa ebizibu by’ensimbi byatubiddemu olw’okwenyigira mu by’obufuzi.

7900135314007387300859518542802200714280960n 220x290

Gravity Omutujju amaze n’alaga...

KYADDAAKI Gravity Omutujju alaze mukyala we mu lujjudde n’ategeeza nga bwe bagenda okwanjula mu January wa 2020...