TOP
  • Home
  • Gallery
  • Eyali ssita wa Arsenal, Emmanuel Ebue mutaka mu Uganda

Eyali ssita wa Arsenal, Emmanuel Ebue mutaka mu Uganda,

by Musasi wa Bukedde

Added 19th June 2018

Bya Fred Kisekka

Eyaliko ssita wa Arsenal ne ttiimu y’eggwanga eya Ivory Coast, Emmanuel Eboue w'osomera bino mutaka mu ggwanga era ayaniriziddwa ssita wa Senegal, Ibrahima Sonko ku kisaawe ky'ennyonyi e Ntebe.

Eboue okukyala mu Uganda ali mu kaweefube wa kulung'amya abazannyi ba Uganda n’abaana abato ku ngeri gye bayinza okukulaakulannya ebitone byabwe basobole okufuna omukisa oguzannyirako mu liigi z’abakirimaanyi ku lukalu lwa Bulaaya.

Nga yaakatuuka ku kisaawe Entebbe Eboue yakuutidde Bannayuganda okwekkirirzaamu n’okukola nga tebeesaasira basobole okutuukiriza ebirooto byabwe okufuna kiraabu ennene nga Arsenal, Liverpool, ManU n’endala era lwe banaasobola okuyamba Uganda okukiika mu World Cup.

Yaleeteddwa kampuni ya BungaBet era waakutandika n’okwogerera emipiira gya World Cup ku ttivvi ez’enjawulo mu ggwanga n’okukyalirako abaana abataliiko mwasirizi.

Ng’oggyeeko Arsenal, Eboue yazannyirako ne Asec, Mimossas, Beveren eya Bubirigi, Galatasary ne Sunderland.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Funayo 220x290

Abantu 15,000 basuliridde kusengulwa...

ABATUUZE basoba mu 15,000, abali ku ttaka eririko enkaayana mu munisipaali y’e Njeru e Buikwe emitima gikyabeewanise...

Talingirizakakozibakolanebesasulawebuse 220x290

Gwe ayagala okulekulila omulimu,...

By'olina okutegeka nga tonnalekulira mulimu oleme okwejjusa ng'otuuse mu nsi

Bugingo 220x290

Bugingo bamuyise ku poliisi ne...

PAASITA Aloysius Bugingo avudde ku poliisi ya CPS mu Kampala nga bimusobedde olw’obukwakkulizo poliisi bwe yamutaddeko...

Linda 220x290

Paasita Serebe aleppuka na bbanja...

OMUSUMBA w’Abalokole Bp. Stuart Serebe owa Christian Heritage Church esangibwa e Mbuya yattulukuse entuuyo nga...

Anita 220x290

Bebe Cool aleese amaanyi: Atuusizza...

OMUYIMBI Bebe Cool aleese amaanyi!, Nga yaakamala okutuusa kapyata ekika kya Land Cruiser V.* ZX Model 2019 gy’agamba...