TOP
  • Home
  • Gallery
  • Ssaabalabirizi Ntagali alambuzza olukiiko lw’abalabirizi lutikko gaggadde ezimbibwa e Nakasero

Ssaabalabirizi Ntagali alambuzza olukiiko lw’abalabirizi lutikko gaggadde ezimbibwa e Nakasero,

by Henry Nsubuga

Added 26th August 2018

Ng’afundikira olukiiko lw’obusaabalabirizi (provincial assembly) olw’omulundi ogwa 24, Ssabalabirizi w’ekkanisa ya Uganda, Stanley Ntagali yasitudde olukiiko lw’abalabirizi n’abatwala e Nakasero okubalambuza lutikko ya All Saints Nakasero empya ey’eby’ewuunyo gy’ali mu kuzimba mu bulabirizi bwa Kampala.

Ntagali mu kulambuza bano ku Lwokutaano yabategeezezza nti obutafaanana ne lutikko ya All Saints enkadde eriwo ng’etuuza abantu 500, lutikko empya gye bali mu kuzimba yaakutuuzanga abantu 5000.

Ssaabalabirizi yabategeezezza nti lutikko eno okuleka okuba ekitebe ekikulu eky’obulabirizi bwa Kampala ye kenyini bw’akulembera, naye era ekola ng’ekkanisa y’obusaabalabirizi bwonna ng’abalabirizi bangi n’abakulisitaayo okuva mu bulabirizi obulala bagendayo okusaba n’okukolerayo emikolo byabwe omuli okugatta abagole, okusabira abagenzi, okwebaza Katonda olw’ebirungi n’ebirala.

Ye amyuka omulabirizi wa Kampala, Hannington Mutebi yalambuludde ku mulimu guno gwe yagambye nti gwatandikibwa mu mwaka gwa 2010 nga gwabalirirwa okuwemmenta bbiriyono 36.

Mutebi yagambye nti ekkanisa eno bw’eneggwa egenda kuba nga y’esinga obunene mu East ne Central Africa.

Yategeezezza nti cathedral enkadde ebadde ntono nnyo ng’etuuza abantu bitaano (500) bokka ng’abasinga babadde basabira bweru mu ziweema essatu ezateekebwawo. Yagambye nti ekkanisa eno ebadde eggya emenyebwa nga bw’egaziyizibwa okumala enfunda 3 okutuusa lwe baalaba nga kino tekikyakola ne basalawo okuzimba empya.

“Obulabirizi bwa Kampala mu kiiseera kino bulina abakulisitaayo 6000 nga kuno kw’ogatta abalambuzi n’abakungu abava mu mawanga g’ebweru n’abakulisitaayo abava mu bulabirizi obulala okukyalako e Kampala n’abo abakolerayo nga bonna wano we beeyunira,” Mutebi bwe yalabuludde.

Yagambye nti ekkanisa eno eri ku mutendera ogw’okubiri yakawemmenta obuwumbi bw’ensimbi obusoba mu 10 nga zino zonna zibadde ziva mu bakulisitaayo b’e Kampala n’emikwano gy’obulabirizi buno okuva mu Uganda n’ebweru w’eggwanga.

Ye yinginiya Richard Mugisa omu ku bali ku lukiiko oluzimbi yagambye nti ekkanisa eno yazimbiddwa mu mitendera esatu okuli ogwasooka nga baazimba omwaliiro gwa wansi ewasimba emmotoka ssaako woofiisi nga kati bali ku mutendera ogw’okubiri ogulimu okuzimba ekifo ew’okusabira, okuli ebikono bibiri eby’okutuuza abantu ebiri ku myaliiro ebiri ssaako okuzimba omunaala ogugenda okuyitamu nga gwa myaliiro 12.

Mugisa yagambye nti era Lutikko eno eggya kubeeramu ne lifuti eggya okwambusanga abantu okuli n’abaliko obulemu baleme kusanga buzibu. Ekkanisa eno yagambye nti egenda kubeera n’ekituuti nga kituuza abaweereza gamba ng’abalabirizi n’abasumba abalala 100 mu maaso awo.

Ye Ssabalabirizi Ntagali yategeezezza nti mu kiseera kino bakola kyonna ekisoboka okukungaanya ensimbi abazimbi basobole okukola ogwabwe ng’ayagala ekkanisa eno mwe baba basabira ku ssekukkulu mu December nga 25.

Provincial assembly ey’omulundi ogwa 24 yatudde ku yunivasite ya UCU e Mukono okumala ennaku 3 nga lwafundikiddwa ku Lwokutaano.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Isco 220x290

Isco agenda ku 'kiso'

Abakungu ba Real Madrid baategeezezza nti abasawo beekebezze Isco, ne basanga ng'alina okulongoosebwa mu bwangu...

Mic3webuse1 220x290

Bayiiyizza sigiri eneetaasa obutonde...

Obutonde bw'ensi busaanyiziddwaawo abantu mu kwokya amanda, okutema enku n'ebirala ng'obwetaavu bw'okuyiiya ebintu...

Butwa2 220x290

Babateze obutwa mu busera, omu...

EKIKANGABWA kigudde ku kyalo Katuulo mu ggombolola y'e Kyazanga mu disitulikiti y'e Lwengo omuntu atanamanyika...

Nakiwala 220x290

Nakiwala avuddeyo ku mwana omubaka...

Minisita Nakiwala Kiyingi waakukaka omubaka Onyango okulabirira omwana gwe yasuulawo.

Kambale1 220x290

KCCA etandika ne Soana, Villa ne...

Okusinziira ku nsengeka ya liigi eno eyafulumiziddwa Bernard Bainamani agikulira eggulo, bakyamipiyoni ba sizoni...