TOP

Ababbi b’e Mbuzi babakubye amasasi,

by Musasi wa Bukedde

Added 27th August 2018

Poliisi e Mpigi ekubye amasasi ababbi b’ebisolo ababadde babbira ente n’embuzi mu mmotoka n’ebasuuza embuzi bbiri ezibadde mu bbuutu y’emmotoka, kyokka abamu ne badduka n’enywezaako basatu.

Ababbi bano okukwatibwa kiddiridde omu ku batuuze okubawulira mu kiyumba ky’embuzi ze n’akuba enduulu, abatuuze ne babataayiza.

Bwe baasimbudde mmotoka yaabwe, baasanze poliisi y’e Jjeza yabateeze dda n’ekuba mmotoka amasasi agaakutteko omu n’atwalibwa mu ddwaaliro e Mityana. Abaakwatiddwa kuliko Deo Ssendawula 26 ng’azaalibwa Jjeza.

Ono abatuuze bamulumirizza okukolagana n’akabinja k’ababbi okuva e Bulenga n’e Kawempe.

Abalala kuliko, Abdu Mutebi 30, omuvuzi wa bodaboda e Kawempe gattako omulala akubiddwa amasasi ng’ono tannategeerekeka mannya.

Abatuuze b’e Jjeza beeyiye ku poliisi nga bagezaako okugajambula abakwate era omubbi omu ne bamusalako olugalo kyokka poliisi n’ebaggalira mu kaduukulu.

Mu mmotoka ey’ekika kya Toyota Premio nnamba UBD 146V gye basuuzizza ababbi bano baasanzeemu ebijambiya, kalifoomu, enjaga ne bijaketi ebyefaanaanyirizaako eby’amagye.

Okusinziira ku akulira poliisi y’e Jjeza, ababbi bano baabadde bangi kyokka mmotoka yaabwe bw’egudde mu luwonko nga poliisi ebakubyemu amasasi ne bavaamu ne badduka n’etaayizaako basatu.

Abatuuze baategeezezza nti ababbi bano baasookedde ku kyalo kye Buzimwa gye baabadde bagezaako okubba ente n’embuzi, abatuuze ne babagoba kwe kubakwatira e Jjeza. Sssentebe w’ekyalo kya Jjeza, Abas Bwanika yategeezezza nti ababbi bano babadde bamazeewo embuzi ezaabaweebwa mu nteekateeka za bonna bagaggawale, ente n’enkoko kyokka ne yennyamira ku bantu b’ekitundu abeekobaana n’ababbi ne babatigomya.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kit1 220x290

Abagambibwa okutta Bayinvesita...

Abagambibwa okutta Bayinvesita bakwatiddwa abalala babataddeko obukadde 10

Kam2 220x290

Abagambibwa okusanga akawanga ka...

Abagambibwa okusanga akawanga ka maama waabwe mu ssabo beebazizza Museveni okubayamba

Tip2 220x290

Ssemaka yecanze n'azaalukuka omwana...

Ssemaka yecanze n'azaalukuka omwana we

Tot1 220x290

Vision Group etandise enteekateeka...

Vision Group etandise enteekateeka y'ekivvulu kya Toto

Jose11 220x290

Abaggyeemu obwesige

ManU, eri bubi nga mu Premier eri mu kifo kyamunaana nga Man City ekulembedde ebasinza obubonero 12.