TOP
  • Home
  • Gallery
  • Tuleera ya seminti egoyezza emmotoka 2 ku lw'e Masaka, abantu 5 bafiiriddewo

Tuleera ya seminti egoyezza emmotoka 2 ku lw'e Masaka, abantu 5 bafiiriddewo,

by Paddy Bukenya

Added 15th September 2018

TTULEERA ya seminti egoyezza mmotoka bbiri ku lw'e Masaka abantu bataano ne bafiirawo omu n'asimattuka.

Akabenje kano kaaguddewo ku ssaawa 11:00 ng'obudde busaasaana mu kitoogo kya Kibukuta wakati wa Buwama ne Kayabwe ku lw'e Masaka.

Ttuleera nnamba UAF 554J ebadde etisse seminti ng'eva Kampala okudda e Masaka etomedde Canta ya sikulaapu nnamba UAG 272U n'egisaanyaawo n'eyingira n'endala ey'omusenyu nnamba UBB 273E ebadde egivaako emabega zonna n'ezigoyaagoya era abaazibaddemu ne bafiirawo ne ddereeva wa ttuleera.

Abaafudde kuliko; Benon Tulyasingula 38, ow'e Rubaya Mbarara, Alex Bogere, Kabagambe 26, w'e Mbarara, Philip Kasule 23, omutuuze w'omu Nnyendo e Masaka ng’ono abadde ddereeva wa Canta ya sikulaapu.

Asimattuse akabenje kano ye Kamya Suubi ng'ono abadde mu tTuleera ya seminti era atwaliddwa mu ddwAaliro e Gombe okufuna obujJanjabi n'emirambo ena ne gitwalibwa mu ggwanika lw'eddwaliro lya Gombe.

Poliisi y'e Buwama n'ey'e Mpigi batuuse mu kifo kino kyokka baasanze akaseera akazibu okutema emirambo gy'abagenzi mu byuma mwe gibadde giwagamidde ekiviiriddeko akalipppagano ka mmotoka ku lw'e Masaka.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Laga 220x290

Aba NRM ababeera mu mawanga g'ebweru...

SSABAWANDIISI wa NRM Kasule Lumumba asabye Bannayuganda abali mu mawanga g’ebweru okukomya okusiiga ensi yabwe...

Pata 220x290

Babakutte balimira mu kibira ky’e...

OMULAMUZI akulira kkooti ento e Masaka, Deogratious Ssejjemba yeesitudde n’agenda e Kasanje mu ggombolola y’e Kyesiiga...

Mate 220x290

Babakutte balimira mu kibira ky’e...

POLIISI y’e Mpigi ngeri wamu n’abakulira ekitongole ky’eby’ebibira mu ggwanga ekya National Forest Authority (NFA)...

Gano 220x290

Omugagga asenze ebintu bya Klezia...

KLEZIA n’abatuuze abalina ebibanja ku kyalo Nkakwa mu ggombolola y’e Ssi - Bukunja mu disitulikiti y’e Buikwe,...

Wanga 220x290

Obwaddereeva buliko emyaka gy’otolina...

OLUVANNYUMA lw’Omulangira Phillip bba wa Kwiini wa Bungereza, Elizabeth okufuna akabenje ng’avuga mmotoka ku myaka...