TOP
  • Home
  • Gallery
  • Baminisita 2 babafulumizza mu kakiiko ka Palamenti lwa kutamwattamwa

Baminisita 2 babafulumizza mu kakiiko ka Palamenti lwa kutamwattamwa,

by Hannington Nkalubo

Added 11th October 2018

BAMINISITA babiri abaayitiddwa mu kakiiko ka Palamenti bannyonnyole ababaka omutendera disitulikiti empya n’ebibuga ebyatondebwawo we bituuse okutandika okukola n’ensimbi mmeka ze babiwadde batamyettamye ne babagoba.

Jennifer Namyangu [ wa gavumenti ez’ebitundu ] ne David Bahati [ minisita w'eggwanga ow'ebyensimbi) baasoose ne babawa omukisa ne bannyonnyola akakiiko akakubirizibwa Godfrey Onzima.

Namiyangu yategeezezza ababaka nti olw'obungi bw'abantu abeeyongera buli kiseera mu ggwanga, baasalawo ku bibuga mwenda bye baasumusa okutuuka ku ddaala ly’ebibuga nga Kampala , bagenda kubiwa ssente mu mitendera esatu.

“Buli mwaka gwa bya nsimbi tugenda kusasulira ebibuga bisatu era tusuubira nti mu myaka esatu tugenda kuba byonna tubimazeeyo okubiwa ssente,” Namiyangu bwe yagambye.

Ebibuga bye yayogeddeko mulimu Gulu , Mbale, Mbarara, Arua n’ebirala omuli Hoima olwa mafuta agagenda okusimibwa, Nakasongola kye bagenda okufuula eky'amakolero, Fort Portal , Tororo ne Moroto.

Baminisita baalemeddwa okunnyonnyola engeri ebibuga ebitondeddwawo ebipya ne disitulikiti ssaako amagombolola bagenda kugayimirizaawo batya era ssente bazifuna ddi kubanga ekiseera kigenda nga babitonzeewo.

Kino kitabudde ababaka ne bategeeza nti baminisita balufudde luyimba nti tewali ssente ate nga baabitandikawo nga bakimanyi nti tewali ssente.

'Mutulage ssente mmeka ze mugenda okukozesa era mugenda kuziggya wa era ebibuga bitandika ddi tulyoke tugende mu maaso'.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

She1 220x290

Abaafunye akabenje mu Ambulance...

Abaafunye akabenje mu Ambulance baziikiddwa

Rak1 220x290

Ssentebe w'ekyalo Laddu emukubye...

Ssentebe w'ekyalo Laddu emukubye n'afiirawo e Rakai

Gat2 220x290

Asangiddwa ng'agenda okukwata abaana...

Asangiddwa ng'agenda okukwata abaana akkiriza omusango n'asaba ekisonyiwo

Mut1 220x290

Ssaabasajja aggaddewo ekisaakaate...

Ssaabasajja aggaddewo ekisaakaate kya Maama Nnabagereka

Mala1 220x290

BUKEDDE W’OLWOMUKAAGA AFULUMYE...

Mulimu abayizi 5 abasinze mu buli ssomero mu disitulikiti ez’enjawulo. Tukugattiddeko n’ebifaananyi byabwe nga...