Abakungubazi okuva mu mbeera kyavudde ku bubaka bakira obusomebwa ne batawuliramu bwa bakamaabe gy'abadde akolera okumala emyaka egisukka mu 10 so nga yo minisitule y’eby’amazzi n’obutonde bw’ensi gye yamala omwaka gumu ng'atendekebwa bwe yali akyasoma ( Internship ) baabaddewo obubaka bwabwe ne busomwa era ne bayitibwa okussaako ekimuli ku keesi.
Wabula bwe kyatuuse ku kuyita aba UBA nga tebalaba avaayo oluvannyuma ne wajja omuvubuka omu n’assaako ekimuli ku lwa UBA nga tewali bubaka busomeddwa.
Omukolo gw’okussaako ekimuli nga guwedde eyabadde kalabaalaba w’omukolo yeetondedde abakungubazi nti wadde essaawa yaakugenda ku Ntaana kuziika naye abaabadde bazimba entaana basabye baweebweyo eddakiika 40 bamalirize n’asaba ekiseera ekiddako abantu bagabulwe emmere oluva e Magombe buli omu akwate lirye.
Ebisingawo bisange mu Bukedde w'olwa Mmande nga 15/10/2018.