TOP
  • Home
  • Gallery
  • Muwala wa Katikkiro Mayiga agattiddwa ne kabiite we mu kitiibwa

Muwala wa Katikkiro Mayiga agattiddwa ne kabiite we mu kitiibwa,

by Dickson Kulumba

Added 21st October 2018

OMUMYUKA w'omukulembeze w'eggwanga agambye nti gavumenti eyagala nnyo abavubuka okukola amaka kubanga guno gwe musingi gw'ensi ng'era kino kyakubakuuma nga balamu.

Bino yabyogeredde mu lutikko e Lubaga ku mukolo muwala wa Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga nga ye Gabriella Namata kw'agatiddwa ne munne Arnold Bigabwa olweggulo lwa leero Ku Lwomukaaga.

Ye Katikkiro Mayiga yeebazizza abagole bano olw'okusalawo okufuna obufumbo obutukuvu bw'atyo n'abasabira emikisa nabo bakuze abaana nga bbo abazadde bwe babakuzizza ne babaleeta mu Klezia okugattibwa.

Abagole baagattiddwa Omusumba w'e Masaka, John Baptist Kaggwa ng'ono abasabye bulk omu okuwa munne ekitiibwa n'okuba abeetowaaze lwe banaawangula mu bulamu obuggya bwe bagenzeemu.

Omukolo gwetabiddwaako ebikonge okuva mu nzikiriza zonna, Obwakabaka ne gavumenti.

Oluvannyuma baasembezza abagenyi baabwe ku Serena Hotel mu Kampala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fot2 220x290

Omucuula guyamba ku lubuto olwesibye...

Omucuula guyamba ku lubuto olwesibye

Kab3 220x290

Owoolubuto weekwate ekiyondo okutereeza...

Owoolubuto weekwate ekiyondo okutereeza emmeeme

Gat2 220x290

Abayizi n’abaana nabo basobola...

Abayizi n’abaana nabo basobola okulumirirwa abalala mu kisiibo

Wab2 220x290

Nja kufiira ku babba eddagala -...

Nja kufiira ku babba eddagala - Ssentebe

Fut2 220x290

Omusawo bamukutte kufera bantu...

Omusawo bamukutte kufera bantu