TOP
  • Home
  • Gallery
  • Kabaka agabudde abantu be ababeera ebweru

Kabaka agabudde abantu be ababeera ebweru,

by Dickson Kulumba

Added 29th December 2018

KABAKA Mutebi II alagidde abavubuka okwagala eggwanga lyabwe n’ensi yaabwe. Era abajjukizza nti buvunaanyizibwa bwabwe okulumirwa awamu ne bannaabwe abatulugunyizibwa kyokka n’abalagira okwewala okwetaba mu bikolwa ebisiga obukyayi n’okusosola mu bantu.

Bino yabyogeredde ku mukolo ‘Buganda Kwe Kwaffe 2018’ kwe yasisinkanidde abantu be ababeera ebweru wa Uganda ogwabadde mu Lubiri e Mmengo ku Lwokutaano.

“Twagala abavubuka ba Buganda bakule nga bakimanyi nti mulimu gwabwe okwagala eggwanga lyabwe n’ensi yaabwe. Mulimu gwabwe okulumirirwa bannaabwe, obutasiga nsigo ez’obukyayi mu bantu n’okwekengera omuntu yenna alinnyirira eddembe ly’obuntu,” Kabaka bwe yagambye.

Ku mukolo guno Kabaka yakwasiddwa ambyulensi ey’omulembe okuva mu bantu be ababeera mu Amerika nga yaakuyamba abantu naddala mu byalo.

Kabaka eyabadde ne Nnabagereka Sylvia Nagginda yasiimye enteekateeka z’abantu be bano ez’okusomesa abaana baabwe olulimi Oluganda, empisa n’ennono za Buganda.

Yakubirizza abantu okuwandiika ebitabo mu Luganda olulimi lweyongere okukula.

Ye Katikkiro Charles Peter Mayiga yasabye abantu bano okusaka amagezi amalungi eyo mu mawanga gye babeera.

Mayiga yategeezezza nti gavumenti ya Kabaka egenda kutandika okuwa obubonero enkola y’emirimu mu masaza ge ag’ebweru gano 16 okulaba abasinze okukumaakuma abantu ba Kabaka n’okussa mu nkola enteekateeka z’Obwakabaka.

Minisita w’amawulire e Mmengo, Noah Kiyimba eyabadde ssentebe w’olukiiko olutegesi yategeezezza Kabaka nti ebibala bitandise okweyoleka mu nsisinkano bwe ziti kubanga abaana abato batandise okwogerera ddala Oluganda.

Abaana Denise Nanyanzi (Sweden) ne Connie Namujju (Toronto Canada) baatontomye ekitontome ekikwata ku Jubireewo y’emyaka 25 egya Kabaka Mutebi II ng’alamula Obuganda.

Ate ye omwana Nicole Birabwa yasomye alipoota ey’ebyo ebyava mu nsisinkano y’abavubuka ababeera wano mu Buganda n’abo ababeera ebweru eyali ku Buganda Royal Institute nga December 27, 2018.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abataka1webuse 220x290

Tetugenda kusirika ng'ebika bisereba...

Bakatikkiro b'ebika balayidde obutaleka bika kusereba ne basalawo okwegatta bakolere wamu okubitumbula

Muzaata 220x290

Ebyabadde mu nsisinkano ya Museveni...

Pulezidenti Museveni asisinkanye akakiiko ka poliisi akafuzi n’alagira abaserikale essira balisse ku kulwanyisa...

Lim21webuse 220x290

Engeri gy'olimira mu kkutiya okufuna...

Omusomesa akulaga bw'akozesa ebikutiya okukola ssente mu kulima enva endiirwa

Bebi 220x290

Aba Ghetto Kids bafunye ku kamwenyumwenyu...

Aba Ghetto Kids bafunye ku kamwenyumwenyu

Pawa4 220x290

Gav't etongozza enteekateeka ya...

MINISITA w'eby’amasanyalaze n’obugagga bw’omuttaka Eng. Irene Muloni atongoza entekateeka empya gavumenti mwegenda...