TOP
  • Home
  • Gallery
  • Baggadde kkampuni egula ennuuni ne bakwata 2

Baggadde kkampuni egula ennuuni ne bakwata 2,

by Musasi wa Bukedde

Added 5th April 2019

KKAMPUNI y’Abachina esuubula ennuuni eggaddwa lwa bucaafu n’okutulugunya abakozi.

Kkampuni eno emanyiddwa nga Kitebi Enterprises esangibwa e Bukesa ku luguudo Sir Apollo Kaggwa okutuuka okuggalwa kyaddiridde abakozi abakazi 30 okwekubira enduulu mu ofiisi ya meeya wa Kampala Central Charles Musoke Sserunjogi nga beemulugunya ku bucaafu gattako okutulugunyizibwa nga bali ku mirimu.

Bano nga bakulembeddwaamu Olive Tuhaise, baasisinkanye Sserunjogi ku Lwokusatu mu ofiisi ye ne bamulombojjera ennaku gye bakoleramu.

Ensisinkano eno yeetabiddwaamu kansala atwala ekitundu kino n’akulira ebyobulamu ku munisipaali.

Sserunjogi yatadde Dr. Mark Obua akulira ebyobulamu ku nninga mu maaso g’abakyala bano annyonnyole ku nsonga zino.

Obua yagambye nti ekifo kino abadde akirambula kyokka abadde tafunangako kwemulugunya kwonna okuva mu bantu bano.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Plane22 220x290

Essanyu nga Uganda ekwasibwa ennyonyi...

Essanyu nga Uganda ekwasibwa ennyonyi

Ssaavanaluvule1 220x290

Pulomoota eyafeze abadigize abayimbi...

Pulomoota eyafeze abadigize abayimbi ne batalabikako alula!

Img2247 220x290

Eyatutte omwana okumutuuma amannya...

OMUWALA aludde ng'alimba omuvubuka nga bw'alina olubuto lwe aliko omwana gw'amutwalidde wabula ne gamwesiba bwe...

Throw 220x290

Abavubira ku nnyanja Kyoga basatira:...

ABAVUBI ku nnyanja Kyoga basattira olw’amagye okulangirira nti essaawa yonna gayingirawo okufuuza envuba embi....

Malemabiriizi9 220x290

Mabirizi azzeeyo mu kkooti ku bya...

MUNNAMATEEKA Male Mabiriizi azzeeyo ku kkooti Ensukkulumu n’ateekayo omusango ayagala esazeemu ensala y’Abalamuzi...