TOP
  • Home
  • Gallery
  • Ogwa Seeta High Green ne Seroma guggweredde mu ssaala-Baguyombeddemu n’okwesongamu ennwe

Ogwa Seeta High Green ne Seroma guggweredde mu ssaala-Baguyombeddemu n’okwesongamu ennwe,

by Henry Nsubuga

Added 16th April 2019

Omuzannyo gw’ensero (basketball) ogw’akamalirizo wakatai w’amasomero okuli Seeta High Green Campus ne Seroma Christian High School kaabuze kate gugaane okuggwa ng’aba Seeta High balumiriza aba Seroma okuzannyisa abazannyi abatalina bisaanyizo era abakulu ennyo.

Bino byabadde mu mpaka z’akamalirizo mwe baabadde banoonyeza omuwanguzi mu basketball mu disitulikiti y’e Mukono ng’empaka zaabadde ku St. Micheal High School e Ssonde mu munisipaali y’e Mukono.

Wakati ng’omuzannyo gugenda mu maaso ng’aba Seroma bakulembeddemu, omusomesa wa Seeta High ow’eby’emizannyo, Hakim Wassajja yalumbye emmeeza y’abasazi n’alaga obutali bumativu ku bazannyi okuli Amin Juma Seyid ne Hamis Seyid nga bano bannansi ba Tanzania nti baabadde tebalina bisaanyizo bibakkiriza kuzannya mu mapaka zino kuba baabadde bakulu nnyo nga n’omu ku bano omwaka oguwedde yagaanibwa okuzannya olw’ensonga ze zimu.

Wassajja agamba nti bano emyaka gyabwe gyasukka dda kw’egyo egikkirizibwa okuzannya omuzannyo guno mbu n’ebiwandiiko bye balina ng’obujulizi bibalaga nga bano n’okusoma tebasoma basajja bafumbo ate nga gino mizannyo gya baana.

Embiranye zino zaatutte akaseera akawerako n’omuzannyo ne guyimirira wakati mu kuwaanyisiganya ebisongovu n’okwesongamu ennwe wadde nga omuzannyo gwamaze ne guddamu era Seroma n’ewangula Seeta High Green ku nsero 48 ku 36.

Omuzannyo gwagenze okuggwa nga Wassajja omusomesa wa Seeta High yamaze dda okubaga ebbaluwa ejulira ng’awakanya obuwanguzi bwa Seroma era ng’ayagala esazibwemu babawe ttiimu endala bazannye nayo ‘finals’ kuba Seroma yamenye amateeka ng’ezannyisa abazannyi abatakkirizibwa mu mateeka.

Ye Alex Onen akulira emizannyo ku Seroma yawakanyizza ebigambibwa aba Seeta High Green n’agamba nti abazannyi be beemulugunyaako baayita mu mitendera era balina ebiwandiiko byonna ebibalaga nti bali mu mateeka.

Akulira Basketball mu disitulikiti y’e Mukono, Geoffrey Namisi yakakasizza nga bwe baafunye okwemulugunya kw’aba Seeta High Green n’agamba nti baakukutunulamu bawe ensala yaabwe mu bwangu.

Bbo aba Seroma ebyo tebyabagaanyi kujaganya na kulaga ssanyu n’okucacanca mu ngeri esoomooza bannaabwe aba Seeta High.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Katikkiromayigangaalinaboogezibokumikoloabeetabyekumukologwoluwalokubulanekulwokubiri002webusenu 220x290

Katikkiro Mayiga abakubirizza okunnyikiza...

Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga akubirizza Ab'e Buluuli ne Ssese okunnyikiza obulimi kubanga teri mulimu...

Manya 220x290

Abakazi abasinga tebamalaamu kagoba...

Abakazi emirundi 6 ku 10 gye beegatta mu kaboozi tebatuuka ku ntikko. Wabula babuulire kwekoza nga abamazeemu akagoba....

Saalwa703422 220x290

Teddy ayanukudde Bugingo ku bya...

TEDDY Naluswa Bugingo ayanukudde bba Paasita Aloysius Bugingo ku kya ffiizi z’abaana ne ssente.

Florencekiberunabalongowebuse 220x290

Alina olubuto lw'abalongo ne by'olina...

Abasawo balaze abalina olubuto olulimu omwana asukka mu omu bye balina okukola obutabafiirwa nga tebannazaalibwa...

Research1 220x290

Ebizibu ebibeera mu kutambuliza...

ABATANDIKA omukwano ekimu ku birina okwewalibwa ku kugutambuliza mu kweteeka mu butaala ate nga si bwoli.